Nakumu Chapter 2

For English

Read Nakumu Chapter 2 Online

Read Nakumu Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Nakumu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Nakumu and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Nakumu 2

Essuula 2

1. Oyo atandaggira ayambuse mu maaso go; kuuma ekigo, tunuulira ekkubo, nyweza ekiwato kyo, beera n'amaanyi agatasingika.

2. Kubanga Mukama azzaawo ekitiibwa ekingi ekya Yakobo, ng'ekitiibwa ekingi ekya Isiraeri; kubanga abattuluzi babattuludde ne baaya amatabi g'emizabbibu gyabwe.

3. Engazo z'abazira be zisiigibwako gerenge; abantu ab'amaanyi bambadde engoye entwakaavu; ebyuma by'amagaali bimasamasa ku lunaku lw'ateekateeka, era amafumu gagalulwa n'entiisa.

4. Amagaali gatayira mu nguudo mbiro, ganyigana mu nguudo engazi; gafaanana ng'emimuli, gabuukabuuka ng'emyansa.

5. Ajjukira ab'ekitiibwa ababe; beesittala nga bagenda; banguwa okutuuka ku bbugwe ow'ekigo, ogugabo ne guteekebwateekebwa.

6. Enzigi ez'oku migga zigguddwawo, ennyumba ya kabaka ne bagisaanyaawo.

7. Kuzzabu n'avumbuka, n'atwalibwa, abazaana be ne bakaaba nga n'eddoboozi ly'amayiba nga bakuba mu bifuba byabwe.

8. Naye Nineeve kibaddewo okuva mu nnaku ez'edda ng'ekidiba ky'amazzi; naye badduka; Muyimirire, muyimirire, bwe bakoowoola; naye tewali atunuulira ennyuma.

9. Munyage effeeza, munyage ezaabu; ebiterekebwa tebiriiko we bikoma, omuwendo ogw'ebintu byonna ebyegombebwa.

10. Kiri busa, kiri bwereere, kizise: tewali aguma omwoyo, amaviivi gakubagana, okulumizibwa kuli mu biwato byonna, era abantu bonna batukulatukula mu maaso olw'entiisa.

11. Empuku y'empologoma eri ludda wa, n'eddiiro ly'empologoma ento, empologoma ensajja n'enduusi we zaatambuliranga, omwana gw'empologoma, so tewali azitiisa?

12. Empologoma yataagulataagula eky'okumala abaana baayo, n'etugira empologoma zaayo enduusi, n'ejjuza empuku zaayo omuyiggo n'ebisulo byayo ebitaagulwa.

13. Laba, ndi mulabe wo, bw'ayogera Mukama w'eggye; nange ndyokya amagaali gaakyo mu mukka, n'ekitala kirizikiriza empologoma zaakyo ento; era ndiggya ku nsi ky'otaagula, n'eddoboozi ly'ababaka bo teriiwulirwenga nate.

About Nakumu Chapter 2

Read Nakumu Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Nakumu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Nakumu
Chapter: 2
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Nakumu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Nakumu Chapter 2 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Nakumu Chapter 2?

Nakumu Chapter 2 is part of the Book of Nakumu in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Nakumu Chapter 2 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 14
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 28
  7. Engero Chapter 25

Explore More from Nakumu

  1. Nakumu Chapter 3
  2. Nakumu Chapter 1

Related Chapters & Readings

  1. Isaaya Chapter 45
  2. Engero Chapter 14
  3. Nekkemiya Chapter 5
  4. Zabbuli Chapter 145
  5. Zabbuli Chapter 55
  6. Olubereberye Chapter 42
  7. Yoswa Chapter 3
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *