Matayo Chapter 25

For English

Read Matayo Chapter 25 Online

Read Matayo Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Matayo and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Matayo 25

Essuula 25

1. Mu biro ebyo obwakabaka obw'omu ggulu bulifaananyizibwa abawala ekkumi, abaatwala ettabaaza zaabwe, ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole.

2. Naye bannaabwe abataano baali basirusiru, n'abataano be baalina amagezi.

3. Kubanga abasirusiru, bwe baatwala ettabaaza zaabwe, ne bateetwalira mafuta:

4. naye abalina amagezi ne batwala amafuta mu macupa gaabwe wamu n'ettabaaza zaabwe.

5. Naye anaawasa omugole bwe yalwayo, bonna ne babongoota ne beebaka.

6. Naye ekiro mu ttumbi ne waba oluyoogaano nti Laba, anaawasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana.

7. Abawala bali bonna ne balyoka bagolokoka, ne balongoosa ettabaaza zaabwe.

8. Abasirusiru ne bagamba abalina amagezi nti Mutuwe ku mafuta gammwe; kubanga ettabaaza zaffe ziggweerera.

9. Naye abaalina amagezi ne baddamu, ne bagamba nti Wozzi tegaatumale fenna nammwe: waakiri mugende eri abatunda, mwegulire.

10. Bwe baali bagenda okugula, anaawasa omugole n'ajja: n'abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey'obugole: oluggi ne luggalwawo.

11. Oluvannyuma abawala bali abalala nabo ne bajja, ne bagamba nti Mukama waffe, mukama waffe, tuggulirewo.

12. Naye n'addamu n'agamba nti Mazima mbagamba nti sibamanyi:

13. Kale mutunule, kubanga temumanyi lunaku newakubadde ekiseera.

14. Kubanga buli ng'omuntu eyali agenda okutambula mu nsi endala, n'ayita abaddu be, n'abalekera ebintu bye.

15. N'awa omu ettalanta ttaano, omulala bbiri, omulala emu; buli muntu ng'obuyinza bwe bwe bwali; n'agenda,

16. Amangu ago oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'agenda n'azisuubuzisa n'aviisaamu ettalanta ttaano endala.

17. Bw'atyo n'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'aviisaamu bbiri endala.

18. Naye oli eyaweebwa emu n'agenda n'asima mu ttaka, n'akweka effeeza ya mukama we.

19. Awo ebiro bingi bwe byayita, mukama w'abaddu bali n'ajja, n'abala nabo omuwendo.

20. N'oli eyaweebwa ettalanta ettaano n'ajja n'aleeta ettalanta ettaano endala, n'agamba nti Mukama wange, wandekera ettalanta ttaano: laba, naviisaamu ettalanta ttaano endala.

21. Mukama we n'amugamba nti Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa: wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo.

22. N'oli eyaweebwa ettalanta ebbiri n'ajja n'agamba nti Mukama wange, wandekera ettalanta bbiri: laba, naviisaamu ettalanta bbiri endala.

23. Mukama we n'amugamba nti Weebale, oli muddu mulungi mwesigwa; wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo.

24. N'oli eyaweebwa ettalanta emu n'ajja n'agamba nti Mukama wange, nakumanya ng'oli muntu mukakanavu ng'okungulira gy’otaasigira, ng'okuŋŋaanyiza gy’otaayiyira:

25. ne ntya, ne ŋŋenda, ne ngikweka mu ttaka ettalanta yo: laba, eyiyo oli nayo.

26. Naye mukama we n'addamu n'amugamba nti Oli muddu mubi mugayaavu, wamanya nti nkungulira gye ssaasigira, nkuŋŋaanyiza gye ssaayiyira;

27. kale kyakugwanira okugiwa abasuubuzi effeeza yange, nange bwe nnandizze nandiweereddwa eyange n'amagoba gaamu.

28. Kale mumuggyeeko ettalanta, mugiwe oli alina ettalanta ekkumi.

29. Kubanga buli muntu alina aliweebwa, era aliba na bingi: naye atalina, aliggibwako na kiri ky'ali nakyo.

30. N'omuddu oyo ataliiko ky'agasa mumusuule mu kizikiza eky'ebweru: mwe muliba okukaaba n'okuluma obujiji.

31. Naye Omwana w'omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye:

32. n'amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge; naye alibayawulamu ng'omusumba bw'ayawulamu endiga n'embuzi:

33. endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo, naye embuzi ku mukono ogwa kkono.

34. Awo Kabaka aligamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi:

35. kubanga nnalina enjala ne mumpa ekyokulya: nnalina ennyonta ne munnywesa: nnali mugenyi ne munsuza;

36. nnali bwereere ne munnyambaza: nnali mulwadde ne munnambula: nnali mu nvuba, ne mujja mundaba.

37. Awo abatuukirivu balimuddamu nga bagamba nti Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala ne tukuliisa? oba ng'olina ennyonta ne tukunywesa?

38. Era twakulaba ddi ng'oli mugenyi ne tukusuza? oba ng'oli bwereere ne tukwambaza?

39. Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba mu nvuba, ne tujja tukulaba?

40. Ne Kabaka aliddamu alibagamba nti Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze.

41. Awo libagamba n'abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti Muveewo we ndi, mmwe abaakolimirwa, mugende mu muliro ogutaggwaawo ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be:

42. kubanga nnalina enjala, temwampa kyakulya: nnalina ennyonta, temwannywesa:

43. nnali mugenyi, temwansuza: nnali bwereere, temwannyambaza: mulwadde, ne mu nvuba, temwannambula.

44. Awo nabo baliddamu, nga bagamba nti Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala, oba ng'olina ennyonta, oba mugenyi, oba bwereere, oba mulwadde, oba mu nvuba, ne tutakuweereza?

45. Awo alibaddamu, ng'agamba nti Mazima mbagamba nti Nga bwe mutaakola omu ku abo abasinga obuto, temwakikola nze.

46. Ne bano baligenda mu kibonerezo ekitaggwaawo; naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.

About Matayo Chapter 25

Read Matayo Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Matayo
Chapter: 25
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Matayo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Matayo Chapter 25 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Matayo Chapter 25?

Matayo Chapter 25 is part of the Book of Matayo in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Matayo Chapter 25 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 11
  5. Ebikolwa Chapter 27
  6. Ebikolwa Chapter 8
  7. Ebikolwa Chapter 2

Explore More from matayo

  1. Matayo Chapter 21
  2. Matayo Chapter 14
  3. Matayo Chapter 3
  4. Matayo Chapter 26
  5. Matayo Chapter 7
  6. Matayo Chapter 11
  7. Matayo Chapter 12

Related Chapters & Readings

  1. Amosi Chapter 8
  2. Isaaya Chapter 50
  3. 2 Bassekabaka Chapter 15
  4. Koseya Chapter 5
  5. Ezekyeri Chapter 3
  6. Zekkaliya Chapter 8
  7. 2 Samwiri Chapter 18
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *