Ekyamateeka Chapter 25

For English

Read Ekyamateeka Chapter 25 Online

Read Ekyamateeka Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyamateeka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ekyamateeka 25

Essuula 25

1. Bwe wabangawo empaka n'abantu, ne bajja okusalirwa omusango, ne bagubasalira; banaasaliranga omutuukirivu okugusinga, n’omubi okusingibwa;

2. awo olunaatuukanga, omubi bw'abanga azzizza ogunaamukubya, omulamuzi anaamugalamizanga, anaamukubiranga mu maaso ge, ng'obubi bwe bwe buli, emiggo emibale.

3. Ayinza okumusalira emiggo ana, tasussangawo: muganda wo alemenga okufaanana atali wa muwendo gy'oli, bw'abanga asussizzaawo ng'amukubye emiggo mingi okusinga egyo.

4. Togisibanga kamwa ente ng'ewuula.

5. Ab'oluganda bwe banaabeeranga awamu, omu ku bo n’afa, nga talina mutabani, omukazi w'oyo afudde tafumbirwanga walala atali wa luganda: muganda wa bba ayingire gy'ali, amuwase, amukolere ebigwanira muganda wa bba

6. Awo olunaatuukanga, omubereberye gw'alizaala y'anaasikiranga erinnya lya muganda we eyafa, erinnya lye liremenga okusangalibwa okuva mu Isiraeri.

7. Era omusajja bw'abanga tayagala kuwasa mukazi wa muganda we, mukazi wa muganda we ayambukenga mu mulyango eri abakadde, ayogere nti Muganda wa baze agaana okuyimusiza muganda we erinnya mu Isiraeri, tayagala kunkolera ebigwanira muganda wa baze.

8. Kale abakadde b'omu kibuga kyabwe bamuyitenga, bamugambe; kale bw'anaayimiriranga n'ayogera nti Saagala kumuwasa;

9. kale mukazi wa muganda we ajjenga gy'ali mu maaso g'abakadde, anaanule engatto mu kigere kye, awande amalusu mu maaso ge; addemu ayogere nti Bwe kityo bwe kinaakolerwanga, omusajja atazimba nnyumba ya muganda we.

10. Era erinnya lye liyitibwenga mu Isiraeri nti Nnyumba y'oyo eyanaanulirwa engatto.

11. Abasajja bwe babanga balwana bokka na bokka, mukazi w'omu n'asembera okulokola bba mu mukono gw'oyo amukuba, n'agolola omukono gwe, n'amukwata wamberi:

12. omutemangako omukono, eriiso lyo terisaasiranga.

13. Tobanga na bya kupima ebitali bimu, ekinene n'ekitono, mu nsawo yo.

14. Tobanga na bigero ebitali bimu, ekinene n'ekitono; mu nnyumba yo.

15. Obenga n'eky'okupima ekituukirivu ekitasoba; obenga n'ekigero ekituukirivu ekitasoba: ennaku zo zibenga nnyingi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.

16. Kubanga bonna abakola ebiri ng'ebyo, bonna abakola ebitali bya butuukirivu, muzizo eri Mukama Katonda wo.

17. Jjukira Amaleki bwe yakukolera mu kkubo bwe mwali nga muva mu Misiri;

18. bwe yakusanga mu kkubo, n'atta abasembi ennyuma wo, abanafu bonna ab'ennyuma, bwe wazirika era ng'okooye; n'atatya Katonda.

19. Awo olulituuka, Mukama Katonda wo bw'aliba ng'akuwadde okuwummula eri abalabe bo bonna enjuyi zonna, mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika okugirya; kyoliva osangula okujjukizibwa kwa Amaleki wansi w'eggulu: teweerabiranga.

About Ekyamateeka Chapter 25

Read Ekyamateeka Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ekyamateeka
Chapter: 25
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyamateeka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ekyamateeka Chapter 25 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ekyamateeka Chapter 25?

Ekyamateeka Chapter 25 is part of the Book of Ekyamateeka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ekyamateeka Chapter 25 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Ekyamateeka

  1. Ekyamateeka Chapter 27
  2. Ekyamateeka Chapter 12
  3. Ekyamateeka Chapter 10
  4. Ekyamateeka Chapter 1
  5. Ekyamateeka Chapter 16
  6. Ekyamateeka Chapter 8
  7. Ekyamateeka Chapter 4

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Malaki Chapter 2
  2. Zabbuli Chapter 111
  3. 2 Samwiri Chapter 13
  4. Zabbuli Chapter 108
  5. Ekyabalamuzi Chapter 14
  6. Zabbuli Chapter 128
  7. Isaaya Chapter 52

Related Chapters & Readings

  1. Ekyabalamuzi Chapter 18
  2. 1 Samwiri Chapter 4
  3. Ekyamateeka Chapter 13
  4. Nekkemiya Chapter 12
  5. Luusi Chapter 1
  6. Ekyabalamuzi Chapter 12
  7. Zabbuli Chapter 31
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *