Read Yoswa Chapter 4 Online
Read Yoswa Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yoswa in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yoswa and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yoswa 4
Essuula 4
1. Awo eggwanga lyonna bwe lyamala okuyitira ddala mu Yoludaani, Mukama n'agamba Yoswa, ng'ayogera nti
2. Mwerondere abasajja kkumi na babiri mu bantu, mu buli kika omu,
3. era mubalagire, nga mwogera nti Mulonde wano wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona mwe byanyweredde, amayinja kkumi n'abiri, mugasomose, mugasse mu kisulo, kye munaasulamu ekiro kino.
4. Awo Yoswa n’ayita abasajja kkumi na babiri, be yateekateeka mu baana ba Isiraeri, mu buli kika omu.
5. Yoswa n'abagamba nti Mukulembere essanduuko ya Mukama Katonda wammwe wakati mu Yoludaani, musitule buli muntu mu mmwe ejjinja ku kibegabega kye, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli:
6. ako kabe akabonero mu mmwe, abaana bammwe bwe banaabuuzanga mu biro ebigenda okujja, nga boogera nti Amayinja gano amakulu gaago ki?
7. mulyoke mubagambe nti Kubanga amazzi ga Yoludaani gaggwaawo mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama; bwe yayita mu Yoludaani, amazzi ne gaggwaawo: era amayinja gano galibeera ekijjuukizo eri abaana ba Isiraeri emirembe egitaggwaawo.
8. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Yoswa bw'abalagidde, ne balonda amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, nga Mukama bwe yagamba Yoswa, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli; ne bagasomosa ne bagatuusa mu kifo mwe baasula, ne bagassaawo.
9. Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano mwe byayimirira: era weegali ne kaakano.
10. Kubanga bakabona abaasitula essanduuko baayimirira wakati mu Yoludaani, ne kituukirira buli kigambo Mukama kye yalagira Yoswa okubuulira abantu, nga byonna bwe byali Musa bye yalagira Yoswa: abantu ne banguwa ne bayita.
11. Awo, abantu bonna bwe baamala okuyita, essanduuko ya Mukama n'eryoka eyita, ne bakabona mu maaso g'abantu.
12. N'abaana ba Lewubeeni; n'abaana ba Gaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase, ne bakulembera abaana ba Isiraeri ne bayita nga balina ekyokulwanyisa, nga Musa bwe yabagamba:
13. abantu ng'obukumi buna abeeteeseteese okulwana ne bayita mu maaso ga Mukama eri olutalo, mu lusenyi olw'e Yeriko:
14. Ku lunaku olwo Mukama n'akuza Yoswa mu maaso ga Baisiraeri bonna: ne bamutya, nga bwe baatyanga Musa; ennaku zonna ez'obulamu bwe.
15. Mukama n'agamba Yoswa ng'ayogera nti
16. Lagira bakabona abasitula essanduuko ey'obujulirwa okulinnya okuva mu Yoludaani:
17. Awo Yoswa n'alagira bakabona ng'ayogera nti Mulinnye muve mu Yoludaani:
18. Awo bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe baamala okulinnya okuva wakati mu Yoludaani, n'ebigere bya bakabona ne birinnyibwa ku lukalu, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gadda mu kifo kyago, ne gayanjaala ku ttale lyagwo lyonna, ng'edda.
19. Abantu ne balinnya ne bava mu Yoludaani ku lunaku olw'ekkumi mu mwezi ogw'olubereberye ne basula mu Girugaali, mu nsalo ey'ebuvanjuba ey'e Yeriko.
20. N'amayinja gali ekkumi n'abiri ge baggya mu Yoludaani, Yoswa n'agasimba mu Girugaali.
21. N'agamba abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Abaana bammwe bwe banaabuuzanga bakitaabwe mu biro ebigenda okujja, nga boogera nti Amakulu g'amayinja gano ki?
22. ne mulyoka mutegeezanga abaana bammwe; nga mwogera nti Abaisiraeri baayita mu Yoludaani muno nga lukalu:
23. Kubanga Mukama Katonda wammwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso gammwe, okutuuka bwe mwamala okuyita; nga Mukama Katonda wammwe bwe yakola Ennyanja Emmyufu, gye yakaliza mu maaso gaffe; okutuuka bwe twamala okuyita:
24. amawanga gonna ag'ensi galyoke gamanye omukono gwa Mukama nga gwa maanyi; batyenga Mukama Katonda wammwe emirembe egitaggwaawo.
About Yoswa Chapter 4
Read Yoswa Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yoswa in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yoswa
Chapter: 4
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yoswa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yoswa Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yoswa Chapter 4?
Yoswa Chapter 4 is part of the Book of Yoswa in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yoswa Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from yoswa
- Yoswa Chapter 8
- Yoswa Chapter 15
- Yoswa Chapter 23
- Yoswa Chapter 9
- Yoswa Chapter 19
- Yoswa Chapter 14
- Yoswa Chapter 5