Nakumu Chapter 1

For English

Read Nakumu Chapter 1 Online

Read Nakumu Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Nakumu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Nakumu and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Nakumu 1

Essuula 1

1. Omugugu gwa Nineeve. Ekitabo eky'okwolesebwa kwa Nakkumu, Omwerukoosi.

2. Mukama ye Katonda w'obuggya, era awalana eggwanga; Mukama awalana eggwanga, era ow'obusungu obungi; Mukama awalana eggwanga abamukyawa, era aterekera abalabe be obusungu.

3. Mukama tatera kusunguwala, alina amaanyi mangi, so talitaatira n'akatono. Ekkubo lya Mukama liyita mu kikuŋŋunta ne mu kibuyaga, era ebire ze nfuufu z'ebigere bye.

4. Akangavvula ennyanja n'agikaza; era akaza emigga gyonna; Basani ebabuse ne Kalumeeri, era ekimuli eky'oku Lebanooni kibabuse.

5. Ensozi zikankana gy'ali, obusozi ne busaanuuka; era ettaka ne limmuka mu maaso ge; weewaawo, ensi zonna ne bonna abazibeeramu.

6. Mu maaso g'obusungu bwe ani ayinza okuyimirira? ani ayinza okubeerawo obusungu bwe nga bunyiikidde? obukambwe bwe bufukibwa ng'omuliro, n'enjazi zimenyebwamenyebwa ye.

7. Mukama mulungi, kigo ku lunaku olw'okulabiramu ennaku; era amanyi abo abamwesiga.

8. Naye ne mukoka akulukuta alimalirawo ddala ekifo kyakyo, era abalabe be alibagobera mu kizikiza.

9. Kye muteesa ku Mukama kiki? alimalirawo ddala; obunaku tebuliyimuka omulundi ogw'okubiri.

10. Kubanga newakubadde nga bali ng'amaggwa agakwataganye, era nga batobye kwenkana mu kunywa kwabwe, balyokerwa ddala ng'ensambu enkalu.

11. Mu ggwe muvudde omu alowooza akabi ku Mukama, ateesa ebibi.

12. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Newakubadde nga balina amaanyi amakakafu era bangi, era balizikirira, naye alivaawo. Newakubadde nga nakulabisa ennaku, sikyakulabisanga nnaku.

13. Era kaakano naamenya ekikoligo kye kive ku ggwe, era naakutulakutula ebikusiba.

14. Ne Mukama alagidde ku ggwe baleme okweyongera okusiga ku linnya lyo; ndizikiriza ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse bive mu nnyumba ya bakatonda bo; ndisima entaana yo; kubanga oli mugwagwa.

15. Laba, ku nsozi ebigere by'oyo abuulirira ebigambo ebirungi, alangira emirembe! Weekuuma embaga zo, ggwe Yuda, tuukiriza obweyamo bwo; kubanga omubi takyayitanga wakati wo; azikirira ddala.

About Nakumu Chapter 1

Read Nakumu Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Nakumu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Nakumu
Chapter: 1
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Nakumu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Nakumu Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Nakumu Chapter 1?

Nakumu Chapter 1 is part of the Book of Nakumu in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Nakumu Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Nakumu

  1. Nakumu Chapter 2
  2. Nakumu Chapter 3

Related Chapters & Readings

  1. 2 Bassekabaka Chapter 3
  2. Yokaana Chapter 12
  3. Ekyabalamuzi Chapter 5
  4. Zabbuli Chapter 22
  5. Zabbuli Chapter 39
  6. Abaefeeso Chapter 6
  7. Okubikkulirwa Chapter 15
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *