Yeremiya Chapter 15

For English

Read Yeremiya Chapter 15 Online

Read Yeremiya Chapter 15 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yeremiya 15

Essuula 15

1. Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Musa ne Samwiri newakubadde nga bayimiridde mu maaso gange, era emmeeme yange teyandiyinzizza kutunuulira bantu bano: bagobe mu maaso gange, baveewo.

2. Awo olulituuka bwe balikugamba nti Tunadda wa nga tuvuddewo? kale n'obagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ab'okuttibwa bagende eri okuttibwa; n'ab'ekitala eri ekitala; n'ab'enjala eri enjala; n'ab'okusibibwa eri okusibibwa.

3. Era ndibateekerawo engeri nnya, bw'ayogera Mukama: ekitala okutta, n'embwa okutaagula, n'ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsi, okulya n'okuzikiriza.

4. Era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu bwakabaka bwonna obw'ensi, olwa Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda olw'ekyo kye yakolera mu Yerusaalemi.

5. Kubanga ani alikusaasira, ggwe Yerusaalemi? oba ani alikukungubagira? oba ani alikyama okubuuza ebifa gy'oli?

6. Oŋŋaanyi, bw'ayogera Mukama, ozze ennyuma; kyenvudde nkugololerako omukono gwange ne nkuzikiriza; nkooye okwejjusa.

7. Era n'abawujjira n'ekiwujjo mu miryango egy'ensi: mbaggyeeko abaana, nzikirizza abantu bange; tebaddanga okuva mu makubo gaabwe.

8. Bannamwandu baabwe beeyongedde gye ndi okusinga omusenyu ogw'ennyanja: ndeese ku bo ku nnyina w'abalenzi omunyazi mu ttuntu: mugwisizzaako obubalagaze n'ebitiisa nga tamanyiridde.

9. Eyazaala omusanvu ayongobera; atadde obulamu; enjuba ye egudde nga bukyali bwa misana; akwatiddwa ensonyi, aswadde: n'abalifikkawo ku bo ndibagabula eri ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, bw'ayogera Mukama.

10. Zinsanze, nnyabo, kubanga wanzaala nga ndi musajja wa nnyombo era ow'empaka eri ensi zonna siwolanga lwa magoba, so n'abantu tebampolanga lwa magoba; naye buli muntu ku bo ankolimira,

11. Mukama yayogera nti Mazima ndikuwa amaanyi olw'obulungi; mazima ndikwegayiriza omulabe mu biro eby'okulabiramu ennaku ne mu biro eby'okubonyaabonyezebwamu.

12. Omuntu ayinza okumenya ekyuma, ekyuma ekiva obukiika obwa kkono, n'ekikomo?

13. Ebintu byo n'obugagga bwo ndibiwaayo okuba omunyago awatali muwendo, olw'ebibi byo byonna, mu nsalo zo zonna.

14. Era ndibiyisa wamu n'abalabe bo okugenda mu nsi gy'otomanyi: kubanga omuliro gukutte olw'obusungu bwange ogulibaakirako.

15. Ai Mukama, ggwe omanyi: njijukira onjijire, ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya; tonzigirawo ddala olw'okugumiikiriza kwo: manya nga nvumiddwa okunnanga ggwe.

16. Ebigambo byo byalabika ne mbirya; n'ebigambo byo byali gye ndi ssanyu n'okusanyuka kw'omutima gwange: kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ai Mukama Katonda ow'eggye.

17. Saatuula mu kkuŋŋaaniro ly'abo ab'ebinyumu, so saasanyuka: natuula nzekka olw'omukono gwo; kubanga onjijuzizza okunyiiga.

18. Obulumi bwange bubeerera ki obw'olubeerera, n'ekiwundu kyange kibeerera ki ekitawonyezeka, ekigaana okulogebwa? kazzi oliba gye ndi ng'akagga akalimba, ng'amazzi agaggwaawo?

19. Mukama kyava ayogera bw'ati nti Bw'olikomawo, kale ndikuzza olyoke oyimirire mu maaso gange; era bw'olyawula eby'omuwendo omungi okubiggya mu ebyo ebitagasa, oliba ng'akamwa kange: balidda gy'oli naye ggwe toddanga gye bali.

20. Era ndikufuula eri abantu bano bbugwe ow'ekikomo aliko enkomera; era balirwana naawe, naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe okukulokola n'okukuwonya, bw'ayogera Mukama.

21. Era ndikuwonya mu mukono gw'ababi, era ndikununula okukuggya mu mukono gw'ab'entiisa.

About Yeremiya Chapter 15

Read Yeremiya Chapter 15 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yeremiya
Chapter: 15
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yeremiya Chapter 15 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yeremiya Chapter 15?

Yeremiya Chapter 15 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 15 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from Yeremiya

  1. Yeremiya Chapter 24
  2. Yeremiya Chapter 35
  3. Yeremiya Chapter 11
  4. Yeremiya Chapter 36
  5. Yeremiya Chapter 34
  6. Yeremiya Chapter 17
  7. Yeremiya Chapter 37

Related Chapters & Readings

  1. Abaefeeso Chapter 1
  2. Eseza Chapter 1
  3. Ebyabaleevi Chapter 7
  4. Yobu Chapter 19
  5. 2 Samwiri Chapter 16
  6. Zabbuli Chapter 129
  7. Matayo Chapter 9
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *