Okuva Chapter 15

For English

Read Okuva Chapter 15 Online

Read Okuva Chapter 15 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okuva and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Okuva 15

Essuula 15

1. Musa n'abaana ba Isiraeri ne balyoka bamuyimbira Mukama oluyimba luno ne boogera nti Ndimuyimbira Mukama, kubanga yawangulidde ddala: Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanga.

2. Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange, Anfuukidde obulokozi bwange: Ono ye Katonda wange, nange ndimutendereza; Ye Katonda wa kitange, nange ndimugulumiza.

3. Mukama ye muzira okulwana: Mukama lye linnya lye,

4. Amagaali ga Falaawo n'eggye lye yabisudde mu nnyanja: N'abakungu be be yalonda basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu.

5. Obuziba bubasaanikidde: Basse mu buziba ng'ejjinja.

6. Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gulina ekitiibwa mu maanyi, Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gubetenta omulabe.

7. Era mu bukulu obw'okusinga kwo obasuula abakulumba: Otuma obusuugu bwo, ne bubasiriiza ng'ebisasiro.

8. Era n'omukka ogw'omu nnyindo zo amazzi gaalinnyisibwa. Ebitaba ne biyimirira entuumo; Obuziba ne bukwata mu mutima ogw'ennyanja.

9. Omulabe n'ayogera nti Naagoberera, naatuuka, naagereka omunyago: Okwegomba kwange kunakkusibwa ku bo; Naasowola ekitala kyange, omukono gwange gulibazikiriza.

10. Wakunsa omuyaga gwo, ennyanja n'ebasaanikira: Baasaanawo nga lisasi mu mazzi ag'amaanyi.

11. Ani afaanana nga ggwe, Mukama, mu bakatonda? Ani afaanana nga ggwe alina ekitiibwa mu butukuvu, Ow'entiisa mu kutenderezebwa, akola amagero?

12. Wagolola omukono gwo ogwa ddyo, Ensi n'ebamira.

13. Ggwe mu kisa kyo wabakulembera abantu be wanunula: N'obaleeta mu maanyi go okutuuka mu kifo kyo ekitukuvu.

14. Amawanga gaawulira, ne gakankana: Obulumi bwabakwata abatuula mu Bufirisuuti.

15. Abakungu ab'omu Edomu ne balyoka beewuunya; Ab'amaanyi ab'omu Mowaabu, okukankana kubakwata: Abatuula mu Bukanani bonna bayenjebuka.

16. Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko; Mu bukulu obw'omukono gwo batudde ng'ejjinja; Okutuusa abantu bo lwe balisomoka, Mukama, Okutuusa abantu lwe balisomoka be weefunira.

17. Olibayingiza, olibasimba ku lusozi olw'obusika bwo, Ekifo kye weerongooseza, Mukama, okutuula omwo, Awatukuvu wo, Mukama, emikono gyo we gyanyweza.

18. Mukama alifuga emirembe n'emirembe.

19. Kubanga embalaasi za Falaawo ne ziyingira wamu n'amagaali ge n'abeebagala mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi ag'omu nnyanja ku bo; naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja.

20. Miryamu, nabbi, mwannyina Alooni, n'atwala ensaasi mu mukono gwe; abakazi bonna ne bafuluma ne bamugoberera nga balina ensaasi nga bazina.

21. Miryamu n'abaddamu nti Mumuyimbire Mukama, kubanga yawangulidde ddala; Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanja.

22. Musa n'atambuza Isiraeri okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne bavaamu ne batuuka mu ddungu lya Ssuuli; ne bagenda ennaku ssatu mu ddungu ne batalaba mazzi.

23. Bwe baatuuka e Mala, ne batayinza kunywa ku mazzi ge Mala, kubanga gaali gakaawa : kyekyava kiyitibwa erinnya lyakyo Mala.

24. Abantu ne bamwemulugunyiza Musa, nga boogera nti Tunaanywa ki?

25. N'akaabira Mukama; Mukama n'amulaga omuti, n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gafuuka amalungi. Awo we yabalagirira etteeka n'e mpisa, n'abakemera awo;

26. n'ayogera nti Oba nga oliwulira nnyo eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maaso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonna, sirikuteekako ggwe endwadde zonna ze nnateeka ku Bamisiri: kubanga nze Mukama akuwonya.

27. Ne batuuka Erimu, awali ensulo z'amazzi ekkumi n'ebbiri, n'enkindu ensanvu: ne basula awo awali amazzi.

About Okuva Chapter 15

Read Okuva Chapter 15 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Okuva
Chapter: 15
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okuva. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Okuva Chapter 15 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Okuva Chapter 15?

Okuva Chapter 15 is part of the Book of Okuva in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Okuva Chapter 15 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 23

Explore More from okuva

  1. Okuva Chapter 26
  2. Okuva Chapter 29
  3. Okuva Chapter 23
  4. Okuva Chapter 4
  5. Okuva Chapter 33
  6. Okuva Chapter 36
  7. Okuva Chapter 25

Related Chapters & Readings

  1. Abaebbulaniya Chapter 2
  2. Olubereberye Chapter 45
  3. Ekyabalamuzi Chapter 17
  4. Lukka Chapter 3
  5. Mikka Chapter 6
  6. Isaaya Chapter 6
  7. Ezekyeri Chapter 39
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *