Read Makko Chapter 16 Online
Read Makko Chapter 16 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Makko in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Makko and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Makko 16
Essuula 16
1. Awo ssabbiiti bwe yaggwaako, Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yakobo, ne Saalome ne bagula eby'akaloosa, bajje bamusiige.
2. Awo bwe bwakya enkya ku lunaku olusooka mu wiiki, enjuba bwe yali yaakavaayo ne bajja ku ntaana.
3. Awo baali beebuuzaganya bokka nti Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw'entaana?
4. Awo bwe baatunuulira, ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa ku bbali; kubanga lyali ddene nnyo.
5. Awo bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omulenzi ng'atudde ku luuyi olwa ddyo, ng'ayambadde olugoye olutukuvu; ne bawuniikirira.
6. N'abagamba nti Temuwuniikirira: munoonya Yesu, Omunazaaleesi, eyakomererwa: azuukidde; tali wano: laba, ekifo we baamussa.
7. Naye mugende, mubuulire abayigirizwa be ne Peetero nti Abakulembedde okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.
8. Ne bava ku ntaana nga baddukana mangu; kubanga okukankana n'okusamaalirira byali bibakutte: so ne batabuulirako muntu kigambo, kubanga baatya.
9. Awo bwe yamala okuzuukira mu makya ku lunaku olw'olubereberye ku nnaku omusanvu n'asooka okulabikira Malyamu Magudaleene gwe yagobako dayimooni omusanvu.
10. Oyo n'agenda n'abuulira abaayitanga naye, nga banakuwala nga bakaaba.
11. Awo bo, bwe baawulira nga mulamu, ng'alabiddwa ye, ne batakkiriza.
12. Ebyo bwe byaggwa n'alabikira bannaabwe babiri mu kifaananyi kirala, nga batambula nga bagenda mu kyalo.
13. Awo abo ne bagenda ne babuulira bali abalala, so ne batabakkiriza.
14. Oluvannyuma n'alabikira ekkumi n'omu nga batudde ku mmere; n'abanenya olw'obutakkiriza n'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza abaamulaba ng'amaze okuzuukira:
15. N'abagamba nti Mugende mu nsi zonna, mubuulire enjiri eri ebitonde byonna.
16. Akkiriza n'abatizibwa, alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga.
17. Era obubonero buno bunaagendanga n'abo abakkiriza: banaagobanga emizimu mu linnya lyange; banaayogeranga ennimi empya;
18. banaakwatanga ku misota, bwe banaanywanga ekintu ekitta, tekiibakolenga kabi n'akatono; banassangako emikono abalwadde, nabo banaawonanga.
19. Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n'atwalibwa mu ggulu, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
20. Bali ne bafuluma, ne babuulira wonna wonna, Mukama waffe ng'akoleranga wamu nabo era ng'anyweza ekigambo mu bubonero obwakiddiriranga. Amiina.
About Makko Chapter 16
Read Makko Chapter 16 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Makko in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Makko
Chapter: 16
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Makko. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Makko Chapter 16 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Makko Chapter 16?
Makko Chapter 16 is part of the Book of Makko in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Makko Chapter 16 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 11
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 2
- Ebikolwa Chapter 28
Explore More from makko
- Makko Chapter 14
- Makko Chapter 7
- Makko Chapter 5
- Makko Chapter 9
- Makko Chapter 13
- Makko Chapter 12
- Makko Chapter 8