Read Abaruumi Chapter 14 Online
Read Abaruumi Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaruumi in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abaruumi and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Abaruumi 14
Essuula 14
1. Naye atali munywevu mu kukkiriza mumusembezenga, naye si lwa kusala musango gwa mpaka.
2. Omulala akkiriza n'okulya n'alya byonna: naye atali munywevu alya nva.
3. Alya tanyoomanga atalya; era atalya tasaliranga musango alya: kubanga Katonda yamusembeza.
4. Ggwe ani asalira omusango omuweereza wa beene? eri mukama we yekka ayimirira oba agwa. Naye aliyimirira; kubanga Mukama waffe ayinza okumuyimiriza.
5. Omuntu omulala alowooza olunaku olumu okusinga olulala, omulala alowooza ennaku zonna okwenkanankana. Buli muntu ategeererenga ddala mu magezi ge yekka.
6. Alowooza olunaku, alulowooza ku bwa Mukama waffe: n'oyo alya, alya ku bwa Mukama waffe, kubanga yeebaza Katonda; n'oyo atalya, talya ku bwa Mukama waffe, era yeebaza Katonda.
7. Kubanga tewali muntu mu ffe eyeebeerera omulamu ku bubwe yekka, era tewali eyeefiira ku bubwe yekka.
8. Kubanga bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama waffe: oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama waffe: kale, bwe tuba abalamu, oba bwe tufa, tuba ba Mukama waffe.
9. Kubanga Kristo kyeyava afa n'abeera omulamu, alyoke abeerenga Mukama w'abafu era n'abalamu.
10. Naye ggwe kiki ekikusaliza omusango muganda wo? oba naawe kiki ekikunyoomesa muganda wo? kubanga fenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ey'emisango eya Katonda.
11. Kubanga kyawandiikibwa nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, buli vviivi lirinfukaamirira, Na buli lulimi lulyatula Katonda.
12. Kale bwe kityo buli muntu mu ffe alibalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda.
13. Kale tulemenga okusalira bannaffe emisango nate fekka na fekka: naye waakiri musale omusango guno, obutaleeteranga wa luganda ekyesittaza oba nkonge.
14. Mmanyi era ntegeeredde ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kintu kya muzizo mu buwangwa bwakyo: wabula eri oyo akirowooza nga kya muzizo, kiba kya muzizo.
15. Kuba oba nga muganda wo anakuwala olw'emmere, nga tokyatambulira mu kwagala. Tomuzikirizanga lwa mmere yo oyo Kristo gwe yafiirira.
16. Kale ekirungi kyammwe kiremenga okuvumibwa:
17. kubanga obwakabaka bwa Katonda si kwe kulya n'okunywa, wabula butuukirivu na mirembe na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu:
18. Kubanga aweereza Kristo bw'ati asanyusa nnyo Katonda, n'abantu bamusiima.
19. Kale bwe kityo tugobererenga eby'emirembe, n'eby'okuzimbagananga fekka na fekka.
20. Toyonoonanga mulimu gwa Katonda lwa mmere. Byonna birungi; naye kinaabanga kibi eri oyo alya nga yeesittala.
21. Kirungi obutalyanga nnyama newakubadde okunywanga omwenge, newakubadde okukolanga byonna ebyesitazza muganda wo oba ebimunyiiza oba ebimunafuya.
22. Okukkiriza kw'olina, beeranga nakwo wekka mu maaso ga Katonda. Oyo alina omukisa ateesalira musango mu kigambo ky'asiima.
23. Naye oyo abuusabuusa azza musango bw'alya, kubanga talya mu kukkiriza; na buli ekitava mu kukkiriza, kye kibi.
About Abaruumi Chapter 14
Read Abaruumi Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaruumi in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Abaruumi
Chapter: 14
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abaruumi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Abaruumi Chapter 14 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Abaruumi Chapter 14?
Abaruumi Chapter 14 is part of the Book of Abaruumi in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Abaruumi Chapter 14 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from abaruumi
- Abaruumi Chapter 6
- Abaruumi Chapter 1
- Abaruumi Chapter 9
- Abaruumi Chapter 3
- Abaruumi Chapter 2
- Abaruumi Chapter 11
- Abaruumi Chapter 16
Explore More from Endagaano Empya
- 2 Abasessaloniika Chapter 1
- Lukka Chapter 7
- Lukka Chapter 13
- Yokaana Chapter 10
- Makko Chapter 11
- Matayo Chapter 18
- Yuda Chapter 1