Abaruumi Chapter 4

For English

Read Abaruumi Chapter 4 Online

Read Abaruumi Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaruumi in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abaruumi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Abaruumi 4

Essuula 4

1. Kale kiki kye tunaayogera Ibulayimu jjajjaffe mu mubiri kye yalaba.

2. Kubanga Ibulayimu singa yaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa, singa alina ekimwenyumirizisa; naye talina mu maaso ga Katonda.

3. Kubanga ebyawandiikibwa byogera bitya? Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu.

4. Kale, omukozi empeera ye temubalirwa lwa kisa, naye ng'ebbanja.

5. Naye atakola, kyokka n'akkiriza oyo awa obutuukirivu abatatya Katonda, okukkiriza kwe kumubalirwa okuba obutuukirivu.

6. Era nga Dawudi bw'ayogera omukisa gw'omuntu, Katonda gw'abalira obutuukirivu awatali bikolwa, nti

7. Baweereddwa omukisa abaggibwako ebyonoono byabwe, Ebibi byabwe byabikkibwako.

8. Aweereddwa omukisa omuntu Mukama gw'atalibalira kibi.

9. Kale omukisa ogwo guli ku bakomole bokka, oba nantiki ku abo abatali bakomole? Kubanga tugambye nti okukkiriza kwe kwabalirwa Ibulayimu okuba obutuukirivu.

10. Kale kwabalwa kutya? bwe yali ng'akomoleddwa, nantiki bwe yali nga tannakomolebwa? si bwe yali ng'akomoleddwa, naye nga tannakomolebwa:

11. n'aweebwa ekyokulabirako eky'okukomolebwa, akabonero k'obutuukirivu obw'okukkiriza kwe yalina nga tannakomolebwa: alyoke abeerenga jjajjaabwe bonna abakkiriza nga si bakomole, babalirwenga obutuukirivu;

12. era ne jjajja w'abakomole, so si w'abo abakomole obukomozi, naye, abatambulira mu bigere by'okukkiriza kwa jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.

13. Kubanga okusuubiza tekwaweerwa Ibulayimu newakubadde ezzadde lye mu mateeka, nti alibeera musika wa nsi zonna, wabula mu butuukirivu obw'okukkiriza.

14. Kubanga ab'omu mateeka singa be basika, okukkiriza singa kudibye, era n'okusuubiza singa kuggiddwawo:

15. kubanga amateeka galeeta obusungu; naye awatali mateeka, era tewabaawo kwonoona.

16. Kyekuva kuva mu kukkiriza, kulyoke kubeerenga kwa kisa, okusuubiza kulyoke kunywere eri ezzadde lyonna, si eri ab'omu mateeka bokka, naye era n'eri ab'omu kukkiriza kwa Ibulayimu, ye jjajjaffe fenna

17. (nga bwe kyawandiikibwa nti Nkufudde jjajja w'amawanga amangi) mu maaso g'oyo gwe yakkiriza, ye Katonda, azuukiza abafu, era ayita ebitaliiwo ng'ebiriwo.

18. Eyakkiriza mu ssuubi awatasuubirikika, alyoke abeerenga jjajja w'amawanga amangi, nga bwe kyayogerwa nti Ezzadde lyo liriba bwe lityo.

19. N'atanafuwa mu kukkiriza bwe yalowooza omubiri gwe ye nga gufudde (nga yaakamala emyaka nga kikumi), n'olubuto lwa Saala nga lufudde:

20. naye mu kusuubiza kwa Katonda teyabuusabuusa mu butakkiriza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda,

21. era ng'ategeerera ddala nga bye yasuubiza era ayinza n'okubikola.

22. Era kyekwava kumubalirwa okuba obutuukirivu.

23. Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti kwamubalirwa;

24. naye era ne ku lwaffe, abagenda okubalirwa, abakkiriza oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu,

25. eyaweebwayo olw'ebyonoono byaffe n'azuukira olw'okutuweesa obutuukirivu.

About Abaruumi Chapter 4

Read Abaruumi Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaruumi in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Abaruumi
Chapter: 4
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abaruumi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Abaruumi Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Abaruumi Chapter 4?

Abaruumi Chapter 4 is part of the Book of Abaruumi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Abaruumi Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from abaruumi

  1. Abaruumi Chapter 11
  2. Abaruumi Chapter 2
  3. Abaruumi Chapter 1
  4. Abaruumi Chapter 6
  5. Abaruumi Chapter 3
  6. Abaruumi Chapter 16
  7. Abaruumi Chapter 15

Explore More from Endagaano Empya

  1. Makko Chapter 4
  2. Okubikkulirwa Chapter 5
  3. Abaggalatiya Chapter 3
  4. Makko Chapter 11
  5. Lukka Chapter 6
  6. 2 Peetero Chapter 3
  7. Makko Chapter 12

Related Chapters & Readings

  1. Isaaya Chapter 50
  2. Okuva Chapter 35
  3. Olubereberye Chapter 3
  4. Okuva Chapter 24
  5. Olubereberye Chapter 23
  6. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 4
  7. Abaruumi Chapter 1
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *