Okubikkulirwa Chapter 10

For English

Read Okubikkulirwa Chapter 10 Online

Read Okubikkulirwa Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okubikkulirwa and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Okubikkulirwa 10

Essuula 10

1. Ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi ng'akka okuva mu ggulu, ng'ayambadde ekire; ne musoke ng'ali ku mutwe gwe n'amaaso ge ng'enjuba, n'ebigere bye ng'empagi ez'omuliro;

2. era yalina mu mukono gwe akatabo akabikkuse: n'ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n'ekya kkono ku nsi;

3. n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'empologoma bw'ewuluguma: bwe yayogerera waggulu ebibwatuka omusanvu ne byogera amaloboozi gaabyo.

4. Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali nga ŋŋenda okuwandiika: ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.

5. Malayika gwe nnalaba ng'ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi n'ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu,

6. n'alayira oli aba omulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu n'ebirimu, n'ensi n'ebirimu, n'ennyanja n'ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate:

7. naye mu nnaku z'eddoboozi lya malayika ow'omusanvu, bw'aliba ng'agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng'enjiri bw'eri gye yabuulira abaddu be bannabbi.

8. N'eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne ligamba nti Genda, otwale ekitabo ekibikkuse mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi.

9. Ne ŋŋenda eri malayika, nga mmugamba okumpa akatabo. N'aŋŋamba nti Twala, okamire; era kanaakaaya olubuto lwo, naye mu kamwa ko kanaaba kawoomerevu ng'omubisi gw'enjuki.

10. Ne ntwala akatabo ne nkaggya mu mukono gwa malayika, ne nkamira; ne kaba mu kamwa kange kawoomerevu ng'omubisi gw'enjuki: bwe nnakalya, olubuto lwange ne lukaayizibwa.

11. Ne baŋŋamba nti Kikugwanidde okubuulira nate eri abantu n'amawanga n'ennimi ne bakabaka abangi.

About Okubikkulirwa Chapter 10

Read Okubikkulirwa Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Okubikkulirwa
Chapter: 10
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okubikkulirwa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Okubikkulirwa Chapter 10 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Okubikkulirwa Chapter 10?

Okubikkulirwa Chapter 10 is part of the Book of Okubikkulirwa in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Okubikkulirwa Chapter 10 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 8
  5. Ebikolwa Chapter 11
  6. Ebikolwa Chapter 2
  7. Yakobo Chapter 5

Explore More from okubikkulirwa

  1. Okubikkulirwa Chapter 16
  2. Okubikkulirwa Chapter 15
  3. Okubikkulirwa Chapter 1
  4. Okubikkulirwa Chapter 7
  5. Okubikkulirwa Chapter 9
  6. Okubikkulirwa Chapter 19
  7. Okubikkulirwa Chapter 5

Related Chapters & Readings

  1. Yeremiya Chapter 42
  2. Olubereberye Chapter 37
  3. 1 Abasessaloniika Chapter 3
  4. Matayo Chapter 9
  5. 2 Abakkolinso Chapter 2
  6. Zabbuli Chapter 139
  7. Yeremiya Chapter 22
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *