Read Matayo Chapter 11 Online
Read Matayo Chapter 11 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Matayo and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Matayo 11
Essuula 11
1. Awo olwatuuka Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'avaayo n'agenda okuyigiriza n'okubuulira mu bibuga byabwe.
2. Naye Yokaana bwe yawulirira mu kkomera ebikolwa bya Kristo; n'atuma abayigirizwa be,
3. okumugamba nti Ggwe wuuyo ajja oba tulindirire mulala?
4. Yesu n'addamu n'abagamba nti Muddeeyo mutegeeze Yokaana bye muwulira ne bye mulaba:
5. abazibye amaaso balaba, n'abalema batambula, n'abagenge balongoosebwa, n'abaggavu b’amatu bawulira, n'abafu bazuukizibwa, n'abanaku babuulirwa enjiri.
6. Naye yenna alina omukisa atalinneesittalako.
7. Nabo bwe baagenda, Yesu n'asooka okwogera n’ebibiina ku Yokaana nti Kiki kye nwagenderera mu ddungu okutunuulira? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo?
8. Naye kiki kye mwagenderera okulaba? omuntu ayambadde ezinekaaneka? Laba, abambala ezinekaaneka baba mu nnyumba za bakabaka.
9. Naye kiki kye mwagenderera? okulaba nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi.
10. Oyo ye yawandiikwako nti Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go, Alikukulembera alirongoosa ekkubo lyo.
11. Ddala mbagamba nti Tevanga mu abo abazaalibwa abakazi omuntu asinga Yokaana Omubatiza: naye omuto mu bwakabaka obw'omu ggulu amusinga ye.
12. Okuva ku biro bya Yokaana Omubatiza okutuusa leero obwakabaka obw'omu ggulu buwaguzibwa, n'abawaguza babunyaga lwa maanyi.
13. Kubanga bannabbi bonna n'amateeka baalagula okutuusa ku Yokaana.
14. Era oba mwagala okukkiriza, oyo ye Eriya agenda okujja.
15. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
16. Naye nnaafaananya ki emirembe gino? Gifaanana n'abaana abato abatuula mu butale abayita bannaabwe,
17. nga bagamba nti Twabafuuyira emirere, so nammwe temwazina; twabakubira ebiwoobe, so temwakaaba.
18. Kubanga Yokaana yajja nga talya so nga tanywa, ne boogera nti Aliko dayimooni.
19. Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne boogera nti Laba, omuluvu oyo, era omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi! Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa byago.
20. N'asookera awo okubuulirira ebibuga mwe yakolera eby'amaanyi bye ebingi, kubanga tebyenenya.
21. Zirikusanga ggwe Kolaziini! zirikusanga ggwe Besusayida! kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne Sidoni, singa byenenya dda, singa bali mu bibukutu ne mu vvu.
22. Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango Ttuulo ne Sidoni baliba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga mmwe.
23. Naawe, Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka ku ggulu? olikka e Magombe: kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu ggwe singa byakolerwa mu Sodomu, singa weekiri ne kaakano.
24. Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango ensi y'e Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga ggwe.
25. Mu biro ebyo Yesu yaddamu n'agamba nti Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga wakisa ebigambo bino ab'amagezi n'abakabakaba n'obibikkulira abaana abato:
26. weewaawo, Kitange, kubanga bwe kityo bwe kyasiimibwa mu maaso go.
27. Ebintu byonna byankwasibwa Kitange: so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumubikkulira.
28. Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa nange nnaabawummuza.
29. Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu myoyo gyammwe.
30. Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n'omugugu gwange mwangu.
About Matayo Chapter 11
Read Matayo Chapter 11 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Matayo
Chapter: 11
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Matayo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Matayo Chapter 11 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Matayo Chapter 11?
Matayo Chapter 11 is part of the Book of Matayo in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Matayo Chapter 11 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 11
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 2
- Ebikolwa Chapter 28
Explore More from matayo
- Matayo Chapter 12
- Matayo Chapter 9
- Matayo Chapter 20
- Matayo Chapter 6
- Matayo Chapter 10
- Matayo Chapter 16
- Matayo Chapter 7