Read Yeremiya Chapter 12 Online
Read Yeremiya Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yeremiya 12
Essuula 12
1. Oli mutuukirivu, ai Mukama, bwe mpoza naawe: naye era nandibadde ne kye nkunnyonnyolayoko: ekkubo ery'ababi lirabira ki omukisa? batereerera ki abo bonna abalimbalimba ennyo?
2. Wabasimba, weewaawo, basimbye emmizi; bamera, weewaawo, babala ebibala: oli kumpi mu kamwa kaabwe, oli wala n'emmeeme yaabwe.
3. Naye ggwe, ai Mukama, ommanyi; ondaba n'okema omutima gwange bwe gufaanana gy'oli: basike ng'endiga ez'okusalibwa, obategekere olunaku olw'okuttirako.
4. Ensi erituusa wa okuwuubaala, n'emiddo egy'omu nsi yonna ne giwotoka? olw'obubi bw'abo abagirimu ensolo kyeziva zimalibwawo, n'ennyonyi; kubanga bayogera nti Taliraba nkomerero yaffe ya luvannyuma.
5. Oba ng'oddukidde wamu n'abatambula n'ebigere ne bakukooyesa, kale oyinza otya okuwakana n'embalaasi? era newakubadde nga weegolodde mu nsi ey'emirembe, naye olikola otya mu malala ga Yoludaani?
6. Kubanga era ne baganda bo n'ennyumba ya kitaawo, era nabo bakulimbyelimbye; era nabo balangirizza ennyuma wo: tobakkirizanga ne bwe bakugamba ebigambo ebirungi.
7. Ndese ennyumba yange, nsudde obusika bwange; mpaddeyo oyo emmeeme yange gw'eyagala ennyo nnyini mu mukono gw'abalabe be.
8. Obusika bwange bufuuse gye ndi ng'empologoma mu kibira: ayimusizza eddoboozi lye ku nze; kyenvudde mmukyawa.
9. Obusika bwange buli gye ndi ng'ennyonyi eyigga ey'amabala? ennyonyi eziyigga zimulumbye enjuyi zonna? mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez'omu nsiko, muzireete zirye.
10. Abasumba bangi boonoonye olusuku lwange olw'emizabbibu, balinnyiridde omugabo gwange n'ebigere, omugabo gwange ogusanyusa bagufudde ddungu omutali muntu.
11. Bagufudde matongo; guwuubaala gye ndi nga gulekeddwayo; ensi yonna efuuse matongo, kubanga tewali muntu agissaako mwoyo.
12. Abanyazi batuuse ku nsozi zonna ez'obweru mu ddungu: kubanga ekitala kya Mukama kirya okuva ku nkomerero y'ensi okutuuka ku nkomerero y'ensi: tewali kintu ekirina omubiri ekirina emirembe.
13. Basiga eŋŋaano, bakungudde amaggwa; beerumya bo bennyini, so tebaliiko kye bagasizza: era mulikwatibwa ensonyi olw'ebibala byammwe olw'ekiruyi kya Mukama.
14. Bw'ati bw'ayogera Mukama eri baliraanwa bange bonna ababi abakoma ku busika bwe nnasisa abantu bange Isiraeri nti Laba, ndibasimbula mu nsi yaabwe, era ndisimbula ennyumba ya Yuda wakati mu bo.
15. Awo olulituuka bwe ndiba nga mmaze okubasimbula, ndikomawo ne mbakwatirwa ekisa; era ndibakomyawo buli muntu mu busika bwe na buli muntu mu nsi y'ewaabwe.
16. Awo olulituuka bwe balinyiikira okuyiga amakubo g'abantu bange, okulayira erinnya lyange nti Nga Mukama bw'ali omulamu; era nga bwe baayigirizanga abantu bange okulayira Baali; kale balizimbibwa wakati mu bantu bange.
17. Naye bwe batalikkiriza kuwulira, awo ndisimbula eggwanga eryo, nga nsimbula era nga ndizikiriza, bw'ayogera Mukama.
About Yeremiya Chapter 12
Read Yeremiya Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yeremiya
Chapter: 12
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yeremiya Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yeremiya Chapter 12?
Yeremiya Chapter 12 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Yeremiya
- Yeremiya Chapter 43
- Yeremiya Chapter 29
- Yeremiya Chapter 18
- Yeremiya Chapter 13
- Yeremiya Chapter 23
- Yeremiya Chapter 14
- Yeremiya Chapter 24