Nekkemiya Chapter 1

For English

Read Nekkemiya Chapter 1 Online

Read Nekkemiya Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Nekkemiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Nekkemiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Nekkemiya 1

Essuula 1

1. Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya. Awo olwatuuka mu mwezi Kisulevu mu mwaka ogw'amakumi abiri, bwe nnali nga ndi mu Susani olubiri,

2. Kanani omu ku baganda bange n'ajja, ye n'abasajja abamu abaava mu Yuda; ne mbabuuza ebigambo by'Abayudaaya abaawona, abaali basigadde mu busibe, n'ebigambo by'e Yerusaalemi.

3. Ne baŋŋamba nti Ekitundu ekifisseewo abasigadde mu busibe eyo mu ssaza balabye ennaku nnyingi n'okuvumibwa: era bbugwe wa Yerusaalemi amenyesemenyese, n'emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro.

4. Awo olwatuuka bwe nnawulira ebigambo ebyo ne ntuula ne nkaaba amaziga, ne nnakuwalira ennaku ezimu; ne nsiiba ne nsaba mu maaso ga Katonda w'eggulu,

5. ne njogera nti Nkwegayiridde, ai Mukama Katonda w'eggulu, Katonda omukulu ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne bakwata ebiragiro bye:

6. okutu kwo kuwulire nno, n'amaaso go gazibuke, owulire okusaba kw'omuddu wo kwe nsaba mu maaso go mu biro bino emisana n'ekiro, olw'abaana ba Isiraeri abaddu bo, nga njatula ebibi eby'abaana ba Isiraeri bye twakwonoona: weewaawo, nze n'ennyumba ya kitange twayonoona.

7. Twakola eby'obukyamu ennyo gy'oli, so tetwakwata biragiro newakubadde amateeka newakubadde emisango bye walagira omuddu wo Musa.

8. Nkwegayiridde, jjukira ekigambo kye walagira omuddu wo Musa ng'oyogera nti Bwe munaasobyanga, naabasaasaanyizanga ddala mu mawanga:

9. naye bwe munaakomangawo gye ndi ne mukwatanga ebiragiro byange ne mubikolanga, newakubadde ng'abammwe abaagobebwa nga banaabanga ku nkomerero y'eggulu, naye naabakuŋŋaanyanga okubaggyayo, ne mbaleetanga mu kifo kye nneeroboza okutuuza omwo erinnya lyange.

10. Kale bano be baddu bo era be bantu bo be wanunula n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogw'amaanyi.

11. Ai Mukama, nkwegayiidde okutu kwo kuwulire nno okusaba kw’omuddu wo n’okusaba kw’abaddu bo abasanyukira okutya erinnya lyo: owe omuddu wo omukisa leero, omuwe okusaasirwa mu maaso g'omusajja ono. (Era nali ndi musenero wa kabaka.)

About Nekkemiya Chapter 1

Read Nekkemiya Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Nekkemiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Nekkemiya
Chapter: 1
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Nekkemiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Nekkemiya Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Nekkemiya Chapter 1?

Nekkemiya Chapter 1 is part of the Book of Nekkemiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Nekkemiya Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from nekkemiya

  1. Nekkemiya Chapter 8
  2. Nekkemiya Chapter 2
  3. Nekkemiya Chapter 7
  4. Nekkemiya Chapter 3
  5. Nekkemiya Chapter 13
  6. Nekkemiya Chapter 10
  7. Nekkemiya Chapter 5

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 9
  2. Isaaya Chapter 41
  3. Zabbuli Chapter 10
  4. Ekyabalamuzi Chapter 8
  5. 1 Ebyomumirembe Chapter 29
  6. Yeremiya Chapter 18
  7. Mikka Chapter 1
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *