Abaebbulaniya Chapter 6

For English

Read Abaebbulaniya Chapter 6 Online

Read Abaebbulaniya Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaebbulaniya in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abaebbulaniya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Abaebbulaniya 6

Essuula 6

1. Kale tuleke okwogera ku bigambo eby'olubereberye ebya Kristo, tuyitirire okutuuka mu bukulu; obutateekawo mulundi gwa kubiri musingi, kwe kwenenya ebikolwa ebifu, n'okukkiriza eri Katonda,

2. okuyigiriza okw'okubatiza, n'okuteekako emikono, n'okuzuukira kw'abafu, n'omusango ogutaggwaawo.

3. Era bwe tunaakola bwe tutyo Katonda bw'anaayagala.

4. Kubanga abo abamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu,

5. ne balega ku kigambo ekirungi ekya Katonda ne ku maanyi ag'emirembe egigenda okujja,

6. ne bagwa okubivaamu, tekiyinzika bo okubazza obuggya olw'okwenenya; nga beekomererera bokka omulundi ogw'okubiri Omwana wa Katonda, ne bamukwasa ensonyi mu lwatu.

7. Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emirundi emingi, n'ebala enva ezibasaanira abo b'erimirwa, efuna omugabo gw'omukisa eri Katonda:

8. naye bw'ebala amaggwa ne ssere, tesiimibwa era eri kumpi n'okukolimirwa; enkomerero yaayo kwokebwa.

9. Naye, abaagalwa, twetegerezza ku mmwe ebigambo ebisinga ebyo obulungi era ebiri okumpi n'obulokozi, newakubadde nga twogedde bwe tutyo:

10. kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n'okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.

11. Era twagala nnyo buli muntu ku mmwe okulaganga obunyiikivu obwo olw'okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero:

12. mulemenga okubeera abagayaavu, naye abagoberera abo olw'okukkiriza n'okugumiikiriza abasikira ebyasuubizibwa.

13. Kubanga, Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, bwe watali gw'ayinza kulayira amusinga obukulu, ne yeerayira yekka

14. ng'ayogera nti Mazima okuwa omukisa nnaakuwanga omukisa, n'okwaza nnaakwazanga.

15. Bw'atyo bwe yamala okugumiikiriza n'aweebwa ekyasuubizibwa.

16. Kubanga abantu balayira asinga obukulu: ne mu mpaka zaabwe zonna ekirayiro kye kisalawo okukakasa.

17. Katonda kyeyava ateeka wakati ekirayiro, ng'ayagala okubooleseza ddala ennyo abasika ab'ekyasuubizibwa okuteesa kwe bwe kutajjulukuka:

18. olw'ebigambo ebibiri ebitajjulukuka, Katonda by'atayinza kulimbiramu, tulyoke tubeerenga n'ekitugumya ekinywevu ffe abadduka okunoonya ekyekwekero okunyweza essuubi eryateekebwa mu maaso gaffe;

19. lye tulina ng'essika ery'obulamu, essuubi eritabuusibwabuusibwa era erinywevu era eriyingira munda w'eggigi.

20. Yesu mwe yayingira omukulembeze ku lwaffe, bwe yafuuka kabona asinga obukulu emirembe gyonna ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.

About Abaebbulaniya Chapter 6

Read Abaebbulaniya Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaebbulaniya in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Abaebbulaniya
Chapter: 6
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abaebbulaniya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Abaebbulaniya Chapter 6 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Abaebbulaniya Chapter 6?

Abaebbulaniya Chapter 6 is part of the Book of Abaebbulaniya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Abaebbulaniya Chapter 6 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from abaebbulaniya

  1. Abaebbulaniya Chapter 3
  2. Abaebbulaniya Chapter 2
  3. Abaebbulaniya Chapter 5
  4. Abaebbulaniya Chapter 13
  5. Abaebbulaniya Chapter 4
  6. Abaebbulaniya Chapter 12
  7. Abaebbulaniya Chapter 10

Explore More from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 15
  2. Abaruumi Chapter 9
  3. Lukka Chapter 8
  4. Okubikkulirwa Chapter 22
  5. Matayo Chapter 19
  6. Makko Chapter 9
  7. 1 Abakkolinso Chapter 9

Related Chapters & Readings

  1. Ezekyeri Chapter 13
  2. 2 Bassekabaka Chapter 23
  3. Yeremiya Chapter 14
  4. Yeremiya Chapter 8
  5. 2 Ebyomumirembe Chapter 20
  6. Nekkemiya Chapter 9
  7. Olubereberye Chapter 8
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *