1 Samwiri Chapter 4

For English

Read 1 Samwiri Chapter 4 Online

Read 1 Samwiri Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Samwiri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

1 Samwiri 4

Essuula 4

1. Ekigambo kya Samwiri ne kijjira Israeri yenna. Awo Abaisiraeri ne batabaala okulwana n'Abafirisuuti ne basiisira ku bbali lya Ebenezeri: Abafirisuuti ne basiisira mu Afeki.

2. Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulwana n'Abaisiraeri: awo bwe baatuukaganako, Isiraeri n'akubibwa mu maaso g'Abafirisuuti: ne battira awo ku ggye lyabwe abasajja ng'enkumi nnya.

3. Awo abantu bwe baatuuka mu lusiisira, abakadde ba Isiraeri ne boogera nti Mukama atukubidde ki leero mu maaso g'Abafirisuuti? Tukime essanduuko ey'endagaano ya Mukama nga tugiggya mu Siiro tugireete we tuli, etuuke mu ffe etulokole mu mukono gw'abalabe baffe.

4. Awo abantu ne batuma e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey'endagaano ya Mukama ow'eggye, atuula ku bakerubi: ne batabani ba Eri bombi Kofuni ne Finekaasi baali eyo awali essanduuko ey'endagaano ya Katonda.

5. Awo essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yatuuka mu lusiisira, Abaisiraeri bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'okuwuuma ensi n’ewuumira ddala.

6. Awo Abafirisuuti bwe baawulira eddoboozi ery'okwogerera waggulu, ne boogera nti Eddoboozi eryo lye boogerera waggulu ennyo mu lusiisira lw'Abaebbulaniya amakulu gaalyo ki? Ne bategeera ng'essanduuko ya Mukama etuuse mu lusiisira.

7. Awo Abafirisuuti ne batya kubanga baayogera nti Katonda atuuse mu lusiisira. Ne boogera nti Zitusanze! kubanga obw'edda tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo.

8. Zitusanze! ani alitulokola mu mukono gwa bakatonda abo ab'amaanyi? Be bakatonda abo abaabonyezabonyeza Abamisiri mu ddungu n'ebibonoobono ebitali bimu.

9. Muddeemu amaanyi, mwerage obusajja, mmwe Abafirisuuti, muleme okuba abaddu b'Abaebbulaniya, nga bo bwe baabanga abammwe: mwerage obusajja, mulwane.

10. Awo Abafirisuuti ne balwana, Isiraeri n'akubibwa, ne baddukira buli muntu mu weema ye: ne waba olutta lunene nnyo; kubanga ku Baisiraeri ne kugwa abasajja abatambula n'ebigere obukumi busatu.

11. Ssanduuko ya Mukama n’enyagibwa; batabani ba Eri bombi Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.

12. Omusajja wa Benyamini n’ava mu ggye n'adduka n'atuuka e Siiro ku lunaku olwo, engoye ze nga ziyulise n'ettaka nga liri ku mutwe gwe.

13. Awo bwe yajja, laba, Eri ng'atudde ku ntebe ye ku mabbali g'ekkubo ng'atunuulira: kubanga omutima gwe gwali gukankanira sanduuko ya Katonda. Awo omusajja bwe yatuuka mu kibuga n'akibuulira, ekibuga kyonna ne kyogerera waggulu.

14. Awo Eri bwe yawulira eddoboozi ery'okwogerera waggulu, n'ayogera nti Eddoboozi ery'oluyoogaano luno amakulu gaalyo ki? Omusajja n'ayanguwa n'ajja n'abuulira Eri.

15. Era Eri yali nga yaakamaze emyaka kyenda mu munaana; n'amaaso ge gaali gayimbadde n'atayinza kulaba.

16. Omusajja n'agamba Eri nti Nze nzuuyo eyavudde mu ggye, ne nziruka leero okuva mu ggye. N'ayogera nti Byali bitya, mwana wange?

17. Awo oyo eyaleeta ebigambo n'addamu n'ayogera nti Abaisiraeri badduse mu maaso g'Abafirisuuti, era wabaddewo olutta olunene mu bantu, era ne batabani bo bombi Kofuni ne Finekaasi bafudde, ne ssanduuko ya Katonda enyagiddwa.

18. Awo olwatuuka bwe yayogera ku ssanduuko ya Katonda, n'agwa bugazi okuva ku ntebe ye ku mabbali g'omulyango, obulago bwe ne bukutukako n'afa: kubanga yali mukadde n'obuzito muzito. Era yali alamulidde Isiraeri emyaka ana.

19. Awo muka mwana we, mukazi wa Finekaasi, yali lubuto ng'alitera okuzaala: awo bwe yawulira ebigambo nga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa, era nga ssezaala we ne bba bafudde, n'akutama n'azaala: kubanga obulumi bwe bwamutuukako.

20. Awo ng'anaatera okufa abakazi abaayimirira wali ne bamugamba nti Totya; kubanga ozadde omwana wa bulenzi. Naye n'ataddamu so teyassaayo mwoyo.

21. N'atuuma omwana Ikabodi ng'ayogera nti Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri: kubanga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa, ne kulwa ssezaala we ne bba

22. N'ayogera nti Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri; kubanga ssanduuko ya Katonda enyagiddwa.

About 1 Samwiri Chapter 4

Read 1 Samwiri Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 1 Samwiri
Chapter: 4
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Samwiri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 1 Samwiri Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 1 Samwiri Chapter 4?

1 Samwiri Chapter 4 is part of the Book of 1 Samwiri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 1 Samwiri Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 1-samwiri

  1. 1 Samwiri Chapter 29
  2. 1 Samwiri Chapter 24
  3. 1 Samwiri Chapter 3
  4. 1 Samwiri Chapter 31
  5. 1 Samwiri Chapter 30
  6. 1 Samwiri Chapter 28
  7. 1 Samwiri Chapter 26

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Ezekyeri Chapter 48
  2. Zabbuli Chapter 45
  3. 2 Samwiri Chapter 15
  4. Zekkaliya Chapter 9
  5. Isaaya Chapter 1
  6. 2 Ebyomumirembe Chapter 12
  7. Okubala Chapter 23

Related Chapters & Readings

  1. 1 Ebyomumirembe Chapter 17
  2. Yoswa Chapter 15
  3. Eseza Chapter 5
  4. Yeremiya Chapter 44
  5. Ebikolwa Chapter 26
  6. Omubuulizi Chapter 3
  7. Omubuulizi Chapter 1
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *