Ezekyeri Chapter 6

For English

Read Ezekyeri Chapter 6 Online

Read Ezekyeri Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ezekyeri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ezekyeri 6

Essuula 6

1. Era ekigambo lya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti

2. Omwana w'omuntu, osse amaaso ge eri ensozi za Isiraeri, oziragule, oyogere nti

3. Mmwe ensozi za Isiraeri muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensozi n'obusozi, emigga n'ebiwonvu, nti Laba, nze, nze mwene, ndibaleetako ekitala, eri ndizikiriza ebifo byammwe ebigulumivu.

4. N'ebyoto byammwe birirekebwawo, n'ebifaananyi byammwe eby'enjuba birimenyeka: eri ndisuula abasajja bammwe abattibwa mu maaso g'ebifaananyi byammwe.

5. Era ndigalamiza emirambo gy'abaana ba Isiraeri mu maaso g'ebifaananyi byabwe, era ndisaasaanya amagumba gammwe okwetooloola ebyoto byammwe.

6. Mu bifo byonna mwe mubeera ebibuga birizisibwa, n'ebifo ebigulumivu birirekebwawo: ebyoto byammwe bizisibwe era birekebwewo, n'ebifaananyi byammwe bimenyeke biggweewo, n'ebifaananyi byammwe eby'enjuba bitemerwe ddala, n’emirimu gyammwe giggibwewo.

7. Kale abattibwa baligwa wakati mu mmwe, era mulimanya nga nze ndi Mukama.

8. Era naye ndireka ekitundu ekifisseewo, kubanga muliba n'abamu abaliwona ekitala mu mawanga, bwe mulisaasaanyizibwa mu nsi nnyingi.

9. Kale abo abaliwona ku mmwe balinjijukira nga bayima mu mawanga gye balitwalibwa mu basibe, bwe nnamenyeka olw’omutima gwabwe omwenzi, oguvudde ku nze, n'olw'amaaso gaabwe agagenda nga gayenda okugoberera ebifaananyi byabwe: kale balyetamwa mu maaso gaabwe bo olw’obubi bwe bakola mu mizizo gyabwe gyonna.

10. Era balimanya nga nze Mukama: saayogerera bwereere nga ndibakola obubi buno.

11. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kuba n'omukono gwo, era samba n'ekigere kyo, oyogere nti Woowe! olw'emizizo gyonna emibi egy'ennyumba ya Isiraeri: kubanga baligwa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.

12. Ali ewala alifa kawumpuli; n'oyo ali okumpi aligwa n’ekitala; n'oyo asigalawo n’azingizibwa alifa enjala: bwe ntyo bwe ndituukiririza ekiruyi kyange ku bo.

13. Nammwe mulimanya nga nze ndi Mukama, abasajja baabwe abattiddwa bwe baliba mu bifaananyi byabwe okwetooloola ebyoto byabwe, ku buli lusozi oluwanvu, ku ntikko zonna ez'ensozi ne wansi wa buli muti ogwera ne wansi wa buli mwera omuziyivu, ekifo mwe baweerangayo evvumbe eddungi eri ebifaananyi byabwe byonna.

14. Nange ndibagololerako omukono gwange ne ndekesawo ensi ne ngizisa, okuva ku ddungu e Dibula, okubuna ennyumba zaabwe zonna: kale balimanya nga nze ndi Mukama.

About Ezekyeri Chapter 6

Read Ezekyeri Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ezekyeri
Chapter: 6
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ezekyeri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ezekyeri Chapter 6 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ezekyeri Chapter 6?

Ezekyeri Chapter 6 is part of the Book of Ezekyeri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ezekyeri Chapter 6 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Ezekyeri

  1. Ezekyeri Chapter 35
  2. Ezekyeri Chapter 21
  3. Ezekyeri Chapter 15
  4. Ezekyeri Chapter 39
  5. Ezekyeri Chapter 36
  6. Ezekyeri Chapter 44
  7. Ezekyeri Chapter 7

Related Chapters & Readings

  1. Ekyabalamuzi Chapter 18
  2. Zabbuli Chapter 2
  3. 1 Timoseewo Chapter 6
  4. 2 Bassekabaka Chapter 10
  5. Abaebbulaniya Chapter 12
  6. Yobu Chapter 25
  7. 2 Bassekabaka Chapter 1
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *