2 Samwiri Chapter 4

For English

Read 2 Samwiri Chapter 4 Online

Read 2 Samwiri Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Samwiri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Samwiri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Samwiri 4

Essuula 4

1. Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira Abuneeri ng'afiiridde e Kebbulooni, emikono gye ne giyongobera, Abaisiraeri bonna ne beeraliikirira.

2. Era Isubosesi mutabani wa Sawulo yalina abasajja babiri abaami b'ebibiina: omu erinnya lye Baana n'ow'okubiri erinnya lye Lekabu, batabani ba Limmoni Omubeerosi ow'oku baana ba Benyamini: (kubanga ne Beerosi kibalirwa Benyamini:

3. ab'e Beerosi ne baddukira e Gittayimu ne babeera eyo na guno gujwa.)

4. Era Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina omwana eyalemala ebigere. Yali yaakamaze emyaka etaano ebigambo bwe byatuuka okuva mu Yezuleeri ebya Sawulo ne Yonasaani, omulezi we n'amusitula n'adduka: awo olwatuuka bwe yayanguwa okudduka n'agwa n'alemala. N'erinnya lye lyali Mefibosesi.

5. Awo batabani ba Limmoni Omubeerosi, Lekabu ne Baana, ne bagenda ne batuuka mu nnyumba ya Isubosesi omusana nga gukazizza, bwe yali ng'awummudde mu ttuntu:

6. Ne bajjayo wakati mu nnyumba ng'abaagala okukima eŋŋaano; ne bamufumita olubuto: Lekabu ne Baana muganda we ne bawona.

7. Awo bwe baatuuka mu nnyumba, ng'agalamidde ku kitanda kye mu nju ye, ne bamufumita ne bamutta, ne bamusalako omutwe, ne batwala omutwe gwe, ne batambula mu kkubo erya Alaba ne bakeesa obudde.

8. Ne bamuleetera Dawudi omutwe gwa Isubosesi e Kebbulooni, ne bagamba kabaka nti Laba omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo eyanoonya obulamu bwo: era Mukama awalanye eggwanga lya mukama wange kabaka leero ku Sawulo ne ku zzadde lye.

9. Awo Dawudi n'addamu Lekabu ne Baana muganda we, batabani ba Limmoni Omubeerosi, n'abagamba nti Mukama nga bw'ali omulamu eyanunula emmeeme yange mu kulaba ennaku kwonna,

10. omuntu bwe yambuulira nti Laba, Sawulo afudde, ng'alowooza okuleeta ebigambo ebirungi, awo ne mmukwata ne mmuttira e Zikulagi, ye mpeera gye nnamuwa olw'ebigambo bye.

11. Kale, abantu ababi nga battidde omuntu omutuukirivu mu nnyumba ye ku kitanda kye, sirisinga nnyo kaakano kuvunaana musaayi gwe mu mukono gwammwe, ne mbaggya ku nsi?

12. Awo Dawudi n'alagira abalenzi be, ne babatta ne babasalako engalo n'ebigere ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba e Kebbulooni. Naye ne batwala omutwe gwa Isubosesi ne baguziika mu ntaana ya Abuneeri e Kebbulooni.

About 2 Samwiri Chapter 4

Read 2 Samwiri Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Samwiri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Samwiri
Chapter: 4
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Samwiri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Samwiri Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Samwiri Chapter 4?

2 Samwiri Chapter 4 is part of the Book of 2 Samwiri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Samwiri Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2-samwiri

  1. 2 Samwiri Chapter 24
  2. 2 Samwiri Chapter 15
  3. 2 Samwiri Chapter 12
  4. 2 Samwiri Chapter 21
  5. 2 Samwiri Chapter 18
  6. 2 Samwiri Chapter 16
  7. 2 Samwiri Chapter 14

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Zabbuli Chapter 70
  2. Zabbuli Chapter 30
  3. Ezekyeri Chapter 33
  4. Nekkemiya Chapter 3
  5. Ebyabaleevi Chapter 13
  6. Okuva Chapter 12
  7. Zekkaliya Chapter 10

Related Chapters & Readings

  1. Yeremiya Chapter 43
  2. Zabbuli Chapter 33
  3. Isaaya Chapter 3
  4. Okubala Chapter 26
  5. Olubereberye Chapter 13
  6. Yoswa Chapter 2
  7. Okubala Chapter 31
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *