Danyeri Chapter 1

For English

Read Danyeri Chapter 1 Online

Read Danyeri Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Danyeri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Danyeri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Danyeri 1

Essuula 1

1. Mu mwaka ogw'okusatu mu mirembe gya Yekoyakimu kabaka wa Yuda; Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'ajja e Yerusaalemi, n'akizingiza.

2. Mukama n'awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda mu mukono gwe, era n'ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebimu: n'abitwala mu nsi Sinaali mu ssabo lya katonda we: n'aleeta ebintu mu ggwanika lya katonda we.

3. Kabaka n'agamba Asupenaazi omukulu w'abalaawe be, ayingize ku baana ba Isiraeri, ab'omu zzadde lya kabaka n'ery'abakungu:

4. abavubuka abataaliko bulema, wabula ab'amaaso amalungi, era abategeevu mu magezi gonna, era abakabakaba mu kutegeera, era abaamanya ebiyigirizibwa, era abasaanira okuyimirira mu nnyumba ya kabaka: era abayigirizenga amagezi ag'Abakaludaaya n'olulimi lwabwe.

5. Kabaka n'abalagira omugabo ogwa bulijjo ogw'oku mmere ya kabaka, n'ogw'oku mwenge gwe yanywanga, era babaliisize emyaka esatu: bwe giriggwaako balyoke bayimirire mu maaso ga kabaka.

6. Ne muba mu abo, ku baana ba Yuda, Danyeri, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya.

7. N'omukulu w'abalaawe n'abatuuma amannya: Danyeri n'amutuuma Berutesazza: ne Kananiya n'amutuuma Saddulaaki: ne Misayeri n'amutuuma Mesaki: ne Azaliya n'amutuuma Abeduneego.

8. Naye Danyeri n'ateesa mu mutima gwe obuteeyonoonyesanga n'emmere ya kabaka, newakubadde n'omwenge gwe yanywanga: kyeyava asaba omukulu w'abalaawe aleme okweyonoonyesanga.

9. Ne Katonda n'alabisa Danyeri ekisa n'okusaasirwa mu maaso g'omukulu w'abalaawe.

10. Omukulu w'abalaawe n'agamba Danyeri nti Ntidde mukama wange kabaka, eyabalagira bye munaalyanga ne bye munaanywanga: kubanga kiki ekiriba kimulabya amaaso gammwe nga tegafaanana bulungi ng'abavubuka abenkana nammwe obukulu? Bwe gutyo omutwe gwange gwandirabye akabi eri kabaka.

11. Danyeri n'alyoka agamba omusigire, omukulu w'abalaawe gwe yafuza Danyeri; Kananiya, Misayeri, ne Azaliya: nti

12. Okemere abaddu bo ennaku kkumi, nkwegayiridde: batuwenga ebijanjaalo okulya, n'amazzi okunywa.

13. Amaaso gaffe galyoke gakeberwe w'oli, n'amaaso g'abavubuka abaalyanga ku mmere ya kabaka: era nga bw'oliraba, okole bw'otyo eri abaddu bo.

14. Awo n'abawulira mu bigambo ebyo, n'abakemera ennaku kkumi.

15. Awo ennaku ekkumi bwe zaggwa, amaaso gaabwe ne gafaanana bulungi, era baali nga bagezze omubiri, okusinga abavubuka bonna abaalyanga ku mmere ya kabaka.

16. Awo omusigire n'abaggyako emmere yaabwe, n'omwenge gwe bandinyweddenga, n'abawa ebijanjaalo.

17. Naye abavubuka abo abana, Katonda n'abawa okumanya n'okutegeera mu kuyiga kwonna n'amagezi: Danyeri n'aba omukabakaba mu kwolesebwa kwonna ne mu birooto.

18. Awo ennaku bwe zaggwa, kabaka ze yagamba okubayingiza, omukulu w'abalaawe n'abayingiza mu maaso ga Nebukadduneeza.

19. Kabaka n'anyumya nabo: ne mu abo bonna ne mutalabika abaali nga Danyeri, Kananiya Misayeri, ne Azaliya: kyebaava bayimirira mu maaso ga kabaka.

20. Ne mu buli kigambo eky'amagezi n'eky'okutegeera, kabaka kye yababuuza, yabalaba nga basinga emirundi kkumi abasawo, n'abafumu bonna abaali mu bwakabaka bwe bwonna.

21. Danyeri n'abeerawo okutuusa ku mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka.

About Danyeri Chapter 1

Read Danyeri Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Danyeri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Danyeri
Chapter: 1
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Danyeri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Danyeri Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Danyeri Chapter 1?

Danyeri Chapter 1 is part of the Book of Danyeri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Danyeri Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from danyeri

  1. Danyeri Chapter 3
  2. Danyeri Chapter 4
  3. Danyeri Chapter 12
  4. Danyeri Chapter 8
  5. Danyeri Chapter 11
  6. Danyeri Chapter 7
  7. Danyeri Chapter 6

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Omubuulizi Chapter 10
  2. Ezekyeri Chapter 18
  3. Nekkemiya Chapter 8
  4. Kaabakuuku Chapter 2
  5. Ekyabalamuzi Chapter 10
  6. Zabbuli Chapter 107
  7. Isaaya Chapter 38

Related Chapters & Readings

  1. Ezekyeri Chapter 41
  2. Olubereberye Chapter 10
  3. 2 Samwiri Chapter 5
  4. 2 Abakkolinso Chapter 6
  5. Zabbuli Chapter 141
  6. Zabbuli Chapter 116
  7. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 1
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *