2 Ebyomumirembe Chapter 19

For English

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 19 Online

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 19 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Ebyomumirembe and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Ebyomumirembe 19

Essuula 19

1. Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n'akomawo mu nnyumba ye mirembe e Yerusaalemi.

2. Yeeku mutabani wa Kanani omulabi n'afuluma okumusisinkana n'agamba kabaka Yekosafaati nti Kirungi ggwe okuyamba ababi n'obaagala abo abakyawa Mukama? olw'ekigambo ekyo obusungu bukuliko obuva mu maaso ga Mukama.

3. Naye mu ggwe mulabise ebirungi, kubanga waggyawo Baaserosi mu nsi, n'okakasa omutima gwo okunoonya Katonda.

4. Awo Yekosafaati n'abeeranga e Yerusaalemi: n'afuluma nate mu bantu okuva e Beeruseba okutuuka mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, n'abakomyawo eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.

5. N'assaawo abalamuzi mu nsi okubuna ebibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda, buli kibuga kinnakimu,

6. n'agamba abalamuzi nti Mulowooze bye mukola: kubanga temulamulira bantu wabula Mukama; era ye ali wamu nammwe mu kusala emisango.

7. Kale nno entiisa ya Mukama ebeere ku mmwe; mwekuume mukole bwe mutyo: kubanga tewali butali butuukirivu eri Mukama Katonda waffe newakubadde okusosola mu bantu newakubadde okulya enguzi.

8. Era mu Yerusaalemi Yekosafaati mwe yassa ku Baleevi ne bakabona ne ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri olw'okulamula kwa Mukama n'olw'empaka. Ne bakomawo e Yerusaalemi.

9. Awo n'abakuutira ng'ayogera nti Bwe mutyo bwe muba mukola mu ntiisa ya Mukama n'obwesigwa era n'omutima ogwatuukirira.

10. Era baganda bammwe abali mu bibuga byabwe bwe banaaleetanga gye muli okukaayana kwonna, eruuyi omusaayi n'eruuyi omusaayi, eruuyi etteeka n'eruuyi ekiragiro, eruuyi ebyakuutirwa n'eruuyi emisango, munaabalabulanga baleme okuzza omusango eri Mukama, obusungu ne bujja bwe butyo ku mmwe ne ku baganda bammwe: mukolenga bwe mutyo obutabaako musango.

11. Era, laba, Amaliya kabona omukulu yabafuga mu bigambo byonna ebya Mukama; ne Zebadiya mutabani wa Isimaeri, omukulu w'ennyumba ya Yuda, mu bigambo byonna ebya kabaka: era n'Abaleevi banaabanga baami mu maaso gammwe. Mube n'amaanyi mukole, era Mukama ayambenga abakozi b'obulungi.

About 2 Ebyomumirembe Chapter 19

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 19 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Ebyomumirembe
Chapter: 19
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Ebyomumirembe. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Ebyomumirembe Chapter 19 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Ebyomumirembe Chapter 19?

2 Ebyomumirembe Chapter 19 is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Ebyomumirembe Chapter 19 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2 Ebyomumirembe

  1. 2 Ebyomumirembe Chapter 34
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 9
  3. 2 Ebyomumirembe Chapter 10
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 6
  5. 2 Ebyomumirembe Chapter 22
  6. 2 Ebyomumirembe Chapter 15
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 20

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Zabbuli Chapter 67
  2. Yeremiya Chapter 4
  3. Omubuulizi Chapter 5
  4. Ebyabaleevi Chapter 11
  5. Zabbuli Chapter 125
  6. Okuva Chapter 35
  7. Zabbuli Chapter 40

Related Chapters & Readings

  1. Yokaana Chapter 5
  2. Zabbuli Chapter 74
  3. 1 Abakkolinso Chapter 5
  4. Okuva Chapter 9
  5. Makko Chapter 5
  6. 2 Samwiri Chapter 15
  7. Zabbuli Chapter 52
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *