Zekkaliya Chapter 2

For English

Read Zekkaliya Chapter 2 Online

Read Zekkaliya Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zekkaliya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zekkaliya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zekkaliya 2

Essuula 2

1. Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira; era, laba, omuntu ng'alina omugwa ogugera mu ngalo ze.

2. Ne njogera nti Ogenda wa ggwe? N'aŋŋamba nti Okugera Yerusaalemi, ndabe obugazi bwakyo bwe buli n'obuwanvu bwakyo bwe buli.

3. Era, laba, malayika eyali ayogera nange n'avaayo ne malayika omulala n'avaayo okumusisinkana

4. n'amugamba nti Ddukanako; mugambe omuvubuka oyo nti Yerusaalemi kiribaamu abantu balifikka mu bbugwe kubanga abantu bangi n'eby'omu bisibo bingi wakati mu kyo.

5. Kubanga nze ndiba ku kyo bbugwe ow'omuliro enjuyi zonna era ndiba kitiibwa wakati mu kyo, bw'ayogera Mukama.

6. Mukale, mukale, mudduke muve mu nsi ey'obukiika obwa kkono, bw'ayogera Mukama; kubanga ng'empewo ennya ez'eggulu bwe ziri, bwe mbasaasaanyizza, bw'ayogera Mukama.

7. Kale, Sayuuni, dduka owone, ggwe atuula n'omuwala wa Babulooni.

8. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oluvannyuma lw'ekitiibwa antumye eri amawanga agaabanyaga; kubanga abakomako mmwe akoma ku mmunyi y'eriiso lye.

9. Kubanga, laba, ndibakunkumulirako omukono gwange ne baba mwandu gw'abaddu baabwe; nammwe munaamanya nga Mukama w'eggye ye yantuma.

10. Yimba, sanyuka, ggwe omuwala wa Sayuuni: kubanga, laba, njija nange naabeeranga wakati mu ggwe, bw'ayogera Mukama.

11. Ku lunaku olwo amawanga mangi agalyegatta ne Mukama ne gafuuka bantu bange: nange naabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeeranga nga Mukama w'eggye yantuma gy'oli.

12. Era Mukama alisikira Yuda, okuba omugabo gwe mu nsi entukuvu, era alyeroboza nate Yerusaalemi.

13. Musirike, abalina omubiri mwenna mu maaso ga Mukama; kubanga azuukuse mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera.

About Zekkaliya Chapter 2

Read Zekkaliya Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zekkaliya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zekkaliya
Chapter: 2
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zekkaliya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zekkaliya Chapter 2 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zekkaliya Chapter 2?

Zekkaliya Chapter 2 is part of the Book of Zekkaliya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zekkaliya Chapter 2 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from zekkaliya

  1. Zekkaliya Chapter 6
  2. Zekkaliya Chapter 13
  3. Zekkaliya Chapter 9
  4. Zekkaliya Chapter 5
  5. Zekkaliya Chapter 14
  6. Zekkaliya Chapter 10
  7. Zekkaliya Chapter 8

Related Chapters & Readings

  1. Ekyabalamuzi Chapter 12
  2. Ebyabaleevi Chapter 5
  3. Okubikkulirwa Chapter 3
  4. 2 Bassekabaka Chapter 5
  5. Zabbuli Chapter 18
  6. Isaaya Chapter 45
  7. Ebikolwa Chapter 17
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *