Read Abafiripi Chapter 2 Online
Read Abafiripi Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abafiripi in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abafiripi and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Abafiripi 2
Essuula 2
1. Kale oba nga waliwo okukubagiza kwonna mu Kristo, oba ng'okusanyusa kwonna okw'okwagala, oba ng'okussa ekimu kwonna okw'Omwoyo, oba ng'okusaasira n'ekisa,
2. mutuukirize essanyu lyange mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala kumu, omwoyo gumu nga mulowooza bumu;
3. temukolanga kintu kyonna olw'okuyomba newakubadde olw'ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka;
4. temutunuuliranga buli muntu ebibye yekka, era naye buli muntu n'eby'abalala.
5. Mmwe mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu;
6. oyo bwe yasooka, okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda,
7. naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'abeera mu kifaananyi ky'abantu;
8. era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba.
9. Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna;
10. buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery'eby'omu ggulu n'eby'oku nsi n'ebya wansi w'ensi,
11. era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
12. Kale, abaagalwa bange, nga bwe mwawuliranga ennaku zonna, si nga nze lwe mbeerawo lwokka, naye kaakano okusinga ennyo nga ssiriiyo, mutuukirizenga obulokozi bwammwe bennyini n'okutya n'okukankana;
13. kubanga Katonda yakoza mu mmwe okwagala n'okukola, olw'okusiima kwe okulungi.
14. Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga n'empaka;
15. mulemenga okubaako kye munenyezebwa newakubadde ettima, abaana ba Katonda abatalina mabala wakati w'emirembe egyakyama emikakanyavu, gye mulabikiramu ng'ettabaaza z'omu nsi,
16. nga mwolesa ekigambo eky'obulamu; ndyoke mbeere n'okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, kubanga ssaddukira bwereere, so ssaafubira bwereere.
17. Naye newakubadde nga nfukibwa ku ssaddaaka n'okuweereza okw'okukkiriza kwammwe, nsanyuka era nsanyukira wamu nammwe mwenna:
18. era nammwe bwe mutyo musanyuke era musanyukire wamu nange.
19. Naye nsuubira mu Mukama waffe Yesu, okubatumira amangu Timoseewo, nange ndyoke ngume omwoyo, bwe ndimala okutegeera ebifa gye muli.
20. Kubanga sirina muntu mulala alina emmeeme eyenkana n'ey'oyo, aligenderera ebyammwe mu mazima.
21. Kubanga abo bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, si bya Yesu Kristo.
22. Naye ekimutegeezesa mukimanyi, nga yaweerezanga wamu nange olw'enjiri, ng'omwana eri kitaawe.
23. Kale oyo nsuubira okumutuma amangu, kyokka bwe ndimala okulaba ebifa gye ndi:
24. naye nsuubira mu Mukama waffe nti nange ndijja mangu.
25. Naye nnalaba nga kigwanye okubatumira Epafuloddito muganda wange, era mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ye mutume wammwe era omuweereza w'ebintu bye nneetaaga;
26. kubanga yabalumirwa omwoyo mmwe mwenna, ne yeeraliikirira nnyo, kubanga mwawulira nga yalwala:
27. kubanga okulwala yalwala yali kumpi n'okufa: naye Katonda yamusaasira; so si ye yekka, naye era nange, ennaku endala zireme okweyongera ku nnaku ze nnina.
28. Kyenva njagala ennyo okumutuma, bwe mulimulaba nate mulyoke musanyuke, nange nkendeeze ku kunakuwala kwange.
29. Kale mumwanirizanga mu Mukama waffe n'essanyu lyonna; era abafaanana ng'oyo mubassengamu ekitiibwa:
30. kubanga yabulako katono afe olw'omulimu gwa Kristo, bwe yasingawo obulamu bwe alyoke atuukirize ekyabulako mu kuweereza kwammwe gye ndi.
About Abafiripi Chapter 2
Read Abafiripi Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abafiripi in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Abafiripi
Chapter: 2
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abafiripi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Abafiripi Chapter 2 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Abafiripi Chapter 2?
Abafiripi Chapter 2 is part of the Book of Abafiripi in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Abafiripi Chapter 2 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Abafiripi
Explore More from Endagaano Empya
- 2 Abakkolinso Chapter 5
- Abaggalatiya Chapter 5
- 1 Yokaana Chapter 2
- Abaruumi Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 6
- Matayo Chapter 26
- Abaefeeso Chapter 4