Read Matayo Chapter 28 Online
Read Matayo Chapter 28 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Matayo and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Matayo 28
Essuula 28
1. Naye olunaku olwa ssabbiiti bwe lwali lugenda okuggwaako, ng'olunaku olw'olubereberye mu nnaku omusanvu lunaatera okukya, Malyamu Magudaleene ne Malyamu ow'okubiri ne bajja okulaba amalaalo.
2. Laba, ne wabaawo ekikankano ekinene ku nsi; kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu, n'ajja n'ayiringisa ejjinja okuliggyawo, n'alituulako.
3. Naye ekifaananyi kye kyali nga kumyansa, n'engoye ze zaali zitukula ng'omuzira:
4. era entiisa ye n'ekankanya abakuumi, ne baba ng'abafudde.
5. Naye malayika n'addamu n'agamba abakazi nti Mmwe temutya: kubanga mmanyi nga munoonya Yesu eyakomererwa.
6. Tali wano; kubanga azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje, mulabe ekifo Mukama we yagalamira.
7. Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti Azuukidde mu bafu; laba, abakulembera okugenda e Ggaliraaya; gye mulimulabira: laba, mbabuulidde.
8. Ne bava mangu ku ntaana, n'entiisa n'essanyu lingi, ne baddukana okubuulira abayigirizwa be.
9. Laba, Yesu n'abasisinkana, n'agamba nti Mirembe. Ne bajja ne bamukwata ebigere, ne bamusinza.
10. Awo Yesu n'abagamba nti Temutya: mugende mubuulire baganda bange bagende e Ggaliraaya, gye balindabira.
11. Naye bwe baali bagenda, laba abakuumi abamu ne bajja mu kibuga, ne babuulira bakabona abakulu byonna ebibaddeyo.
12. Ne bakuŋŋaana wamu n'abakadde, ne bateesa wamu, ne babaweera basserikale effeeza nnyingi,
13. ne bagamba nti Mugambanga nti Abayigirizwa be bajja ekiro, ne bamubba ffe nga twebase.
14. Naye ekigambo kino bwe kiribuulirwa ow'essaza, ffe tulimuwooyawooya, nammwe tulibaggyako omusango.
15. Nabo ne batwala effeeza, ne bakola nga bwe baaweererwa: ekigambo kino ne kibuna mu Bayudaaya, okutuusa leero.
16. Naye abayigirizwa ekkumi n'omu ne bagenda e Ggaliraaya, ku lusozi Yesu gye yabalagira.
17. Bwe baamulaba ne bamusinza: naye abalala ne babuusabuusa.
18. Yesu n'ajja n'ayogera nabo, n'agamba nti Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.
19. Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu;
20. nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe: era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.
About Matayo Chapter 28
Read Matayo Chapter 28 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Matayo
Chapter: 28
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Matayo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Matayo Chapter 28 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Matayo Chapter 28?
Matayo Chapter 28 is part of the Book of Matayo in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Matayo Chapter 28 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 2
- Ebikolwa Chapter 1
- Ebikolwa Chapter 27
- Ebikolwa Chapter 28
Explore More from matayo
- Matayo Chapter 17
- Matayo Chapter 18
- Matayo Chapter 1
- Matayo Chapter 9
- Matayo Chapter 14
- Matayo Chapter 21
- Matayo Chapter 11