2 Peetero Chapter 3

For English

Read 2 Peetero Chapter 3 Online

Read 2 Peetero Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Peetero in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Peetero and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Peetero 3

Essuula 3

1. Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa ey'okubiri gye mbawandiikira; mu ezo zombi mbakubiriza amagezi gammwe agataliimu bukuusa nga mbajjukiza;

2. okujjukiranga ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu, n'ekiragiro ky'abatume bammwe ekya Mukama waffe era Omulokozi:

3. nga mumaze okusooka okutegeera kino, nga mu nnaku ez'oluvannyuma abasekerezi balijja n'okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo

4. ne boogera nti Okusuubiza kw'okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa.

5. Kubanga beerabira kino nga balaba, ng'edda waaliwo eggulu, n'ensi eyava mu mazzi era yali wakati mu mazzi, olw'ekigambo kya Katonda,

6. ensi ey'edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n'ezikirira:

7. naye eggulu erya kaakano n'ensi olw'ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw'omusango n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda.

8. Naye kino kimu temukyerabiranga, abaagalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi giri ng'olunaku olumu.

9. Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.

10. Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n'okuwuuma okunene n'ebintu eby'obuwangwa birisaanuuka olw'okwokebwa okungi, n'ensi n'ebikolwa ebigirimu birisirikka.

11. Ebyo byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n'okutyanga Katonda,

12. nga musuubira nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisa eggulu nga lyokebwa, n'ebintu eby'obuwangwa ne biseebengerera olw'ebbugumu eringi?

13. Naye nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n'ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.

14. Kale, abaagalwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga temulina bbala newakubadde omusango mu maaso ge.

15. Era mulowoozenga ng'okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi, era nga muganda waffe omwagalwa Pawulo mu magezi ge yaweebwa bwe yabawandiikira;

16. era nga mu bbaluwa ze zonna, ng'ayogera ku ebyo mu zo; omuli ebimu ebizibu okutegeera, abatamanyi n'abatali banywevu bye banyoola, era nga n'ebyawandiikibwa ebirala, olw'okuzikirira kwabwe bo.

17. Kale, abaagalwa, kubanga musoose okutegeera, mwekuumanga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw'ababi.

18. Naye mukulire mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano era n'okutuusa ku lunaku olw'emirembe n'emirembe. Amiina.

About 2 Peetero Chapter 3

Read 2 Peetero Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Peetero in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Peetero
Chapter: 3
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Peetero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Peetero Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Peetero Chapter 3?

2 Peetero Chapter 3 is part of the Book of 2 Peetero in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Peetero Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2 Peetero

  1. 2 Peetero Chapter 1
  2. 2 Peetero Chapter 2

Explore More from Endagaano Empya

  1. Okubikkulirwa Chapter 22
  2. 1 Abasessaloniika Chapter 2
  3. Okubikkulirwa Chapter 4
  4. Makko Chapter 14
  5. Okubikkulirwa Chapter 15
  6. Yokaana Chapter 7
  7. Lukka Chapter 5

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 82
  2. Ebikolwa Chapter 27
  3. Nekkemiya Chapter 3
  4. Yeremiya Chapter 29
  5. Zabbuli Chapter 115
  6. 2 Ebyomumirembe Chapter 35
  7. Zabbuli Chapter 67
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *