Read Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 4 Online
Read Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Oluyimba lwa Sulemaani in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Oluyimba lwa Sulemaani and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Oluyimba lwa Sulemaani 4
Essuula 4
1. Laba, oli mulungi, gwe njagala; laba, oli mulungi; Amaaso go mayiba ennyuma w'olugoye lw'ogabisseeko: Enviiri zo ziri ng'eggana ly'embuzi, Ezigalamidde ku mbiriizi z'olusozi Gireyaadi.
2. Amannyo go gali ng'eggana ly'endiga ezaakajja zisalibweko ebyoya, Ezirinnye okuva mu kunaazibwa; Buli emu ku zo ng'ezadde abaana abalongo, So tekuli ku zo efiiriddwa n'emu.
3. Emimwa gyo giri ng'ewuzi ey'olugoye olutwakaavu, N'akamwa ko kalungi: Ekyenyi kyo kiri ng'ekitundu ky'ekkomamawanga Ennyuma w'olugoye lw'obisse ku maaso.
4. Ensingo yo eri ng'ekigo kya Dawudi ekyazimbibwa okuterekamu ebyokulwanyisa, Omuwanikibwa engabo olukumi, Engabo zonna ez'abasajja ab'amaanyi.
5. Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri abaana b'empeewo, Abaliira mu malanga.
6. Okutuusa obudde nga bukedde, ebisiikirize ne biddukira ddala, Neegendera eri olusozi olwa mooli. N'eri akosozi ak'omugavu.
7. Oli mulungi wenna, gwe njagala; So ku ggwe tekuli bbala.
8. Jjangu tugende ffembi okuva ku Lebanooni, mugole wange, Ffembi okuva ku Lebanooni: Lengera ng'oyima ku ntikko ya Amana, Ku ntikko ya Seniri ne Kerumooni, Ng'oyima awali empuku ey'empologoma, Ku nsozi ez'engo.
9. Osanyusizza omutima gwange mwannyinaze, mugole wange Osanyusizza omutima gwange n'eriiso lyo erimu, N'omukuufu ogumu ogw'omu bulago bwo.
10. Okwagala kwo nga kulungi mwannyinaze, mugole wange Okwagala kwo nga kusinga nnyo omwenge; N'amafuta go ag'omugavu nga gasinga nnyo eby'akaloosa eby'engeri zonna okuwunya obulungi!
11. Emimwa gyo, ai mugole wange, gitonnya ng'ebisenge by'enjuki: Omubisi gw'enjuki n'amata biri wansi w'olulimi lwo; N'okuwunya kw'ebyambalo byo kuli ng'okuwunya kwa Lebanooni.
12. Mwannyinaze, mugole wange, lwe lusuku olwasibibwa; Lwe luzzi olwasibibwa, ye nsulo eyateekebwako akabonero.
13. Ebimera byo lusuku lwa mikomamawanga, olulina ebibala eby'omuwendo omungi; Kofera n'emiti egy'omugavu:
14. Omugavu ne kalikomu, Kalamo ne kinamomo, n'emiti gyonna egy'omugavu; Mooli ne akalosi, wamu n'eby'akaloosa byonna ebisinga obulungi.
15. Ggwe nsulo y'ennimiro, Oluzzi olw'amazzi amalamu, Era emigga egikulukuta egiva ku Lebanooni.
16. Muzuukuke, mmwe embuyaga eziva obukiika obwa kkono; nammwe mujje, ez’obukiika obwa ddyo: Mukuntire ku nnimiro yange, eby’akaloosa ebyamu bikulukute. Muganzi wange ajje mu nnimiro ye; Alye ebibala bye eby'omuwendo omungi.
About Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 4
Read Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Oluyimba lwa Sulemaani in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Oluyimba lwa Sulemaani
Chapter: 4
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Oluyimba lwa Sulemaani. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 4?
Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 4 is part of the Book of Oluyimba lwa Sulemaani in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from oluyimba-lwa-sulemaani
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 3
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 5
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 7
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 8
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 1
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 6
- Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 2