Read Yeremiya Chapter 43 Online
Read Yeremiya Chapter 43 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yeremiya 43
Essuula 43
1. Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera n'abantu bonna ebigambo byonna ebya Mukama Katonda waabwe, Mukama Katonda waabwe bye yali amutumye gye bali, bye bigambo ebyo byonna,
2. awo Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanani mutabani wa Kaleya n'abasajja bonna ab'amalala ne boogera nga bagamba Yeremiya nti Olimba: Mukama Katonda waffe takutumye okwogera nti Temuyingiranga mu Misiri okubeera omwo:
3. naye Baluki mutabani wa Neriya ye akutuweeredde okutugabula mu mukono gw'Abakaludaaya balyoke batutte batutwale e Babulooni nga tuli basibe.
4. Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole n'abantu bonna ne batagondera ddoboozi lya Mukama okubeera mu nsi ya Yuda.
5. Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole ne batwala ekitundu kyonna ekya Yuda abaafikkawo abaali bakomyewo okuva mu mawanga gonna gye baali babagobedde okubeera mu nsi ya Yuda;
6. abasajja n'abakazi n'abaana abato n'abawala ba kabaka na buli muntu Nebuzaladaani omukulu wa bambowa gwe yalekera Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, ne Yeremiya nnabbi ne Baluki mutabani wa Neriya;
7. ne bayingira mu nsi y'e Misiri; kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama: ne batuuka n'e Tapanesi.
8. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya e Tapanesi nga kyogera nti
9. Ddira amayinja amanene mu mukono gwo ogakweke mu ttaka ery'omu matoffaali agali awayingirirwa mu nnyumba ya Falaawo e Tapanesi, abasajja ba Yuda nga balaba
10. obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndituma ne nzirira Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni omuddu wange, ne nteeka entebe ye ku mayinja gano ge nkwese; era alitimba eweema ye eya kabaka ku go.
11. Era alijja n'akuba ensi y'e Misiri; ab'okuttibwa baliweebwawo eri okuttibwa, n’ab'obusibe eri obusibe, n'ab'ekitala eri ekitala.
12. Era ndikuma omuliro mu nnyumba za bakatonda b'e Misiri; era alibookya n'abatwala nga basibe: era alyambala ensi y'e Misiri ng'omusumba bw'ayambala ekyambalo kye; era alivaayo mirembe.
13. Era alimenya empagi ez'e Besusemeesi ekiri mu nsi y'e Misiri; n'ennyumba za bakatonda b'e Misiri alizookya omuliro.
About Yeremiya Chapter 43
Read Yeremiya Chapter 43 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yeremiya
Chapter: 43
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yeremiya Chapter 43 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yeremiya Chapter 43?
Yeremiya Chapter 43 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 43 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Yeremiya
- Yeremiya Chapter 50
- Yeremiya Chapter 33
- Yeremiya Chapter 7
- Yeremiya Chapter 18
- Yeremiya Chapter 5
- Yeremiya Chapter 3
- Yeremiya Chapter 9