Yeremiya Chapter 33

For English

Read Yeremiya Chapter 33 Online

Read Yeremiya Chapter 33 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yeremiya 33

Essuula 33

1. Era nate ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya omulundi ogw'okubiri, bwe yali ng'akyasibibwa mu luggya olw'abambowa, nga kyogera nti

2. Bw'ati bw'ayogera Mukama akikola, Mukama akibumba okukinyweza Mukama lye linnya lye; nti

3. Mpita, nange naakuyitaba ne nkwolesa ebikulu n'ebizibu by'otomanyi.

4. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri eby'ennyumba ez'omu kibuga kino n'eby'ennyumba za bassekabaka ba Yuda ezaabizibwa okulwana ne nkomera n'ekitala, nti

5. Bajja okulwana n'Abakaludaaya, naye kuzijjuza bujjuza mirambo gya bantu be nzise n'obusungu bwange n'ekiruyi kyange, obubi bwabwe bwonna bwe bunkisizisizza amaaso gange ekibuga kino:

6. Laba, ndikireetera obulamu n'okuwonyezebwa, nange ndibawonya; era ndibabikkulira emirembe n'amazima bingi nnyo nnyini.

7. Era ndikomyawo obusibe bwa Yuda n'obusibe bwa Isiraeri, era ndibazimba ng'olubereberye.

8. Era ndibanaazaako obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona; era ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonoona era bwe bansobya.

9. N'ekibuga kino kiriba gye ndi erinnya ery'essanyu, n'ettendo n'ekitiibwa, mu maaso g'amawanga gonna ag'oku nsi agaliwulira obulungi bwonna bwe mbakola, ne batya ne bakankana olw'obulungi bwonna n'olw'emirembe gyonna bye nkifunira.

10. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oliboolyawo ne muwulirwa mu kifo kino kye mwogerako nti Kizise, temuli muntu newakubadde ensolo, mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ezizise nga temuli muntu newakubadde azibeeramu, era nga temuli nsolo,

11. eddoboozi ery'okusanyuka n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, eddoboozi ly'abo aboogera nti Mumwebaze Mukama w'eggye kubanga Mukama mulungi, kubanga okusaasira kwe kwa lubeerera: n'ery'abo abaleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama. Kubanga ndikomyawo obusibe obw'ensi ng'olubereberye, bw'ayogera Mukama w'eggye.

12. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ne mubeera mu kifo kino ekizise, nga temuli muntu era nga temuli nsolo, ne mu bibuga byakyo byonna, olusiisira olw'abasumba abagalamiza ebisibo byabwe.

13. Ebisibo biriyita nate wansi w'emikono gy'oyo abibala mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensenyi ne mu bibuga eby'obukiika obwa ddyo ne mu nsi ya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi ne mu bibuga bya Yuda, bw'ayogera Mukama.

14. Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndituukiriza ekigambo ekyo ekirungi kye nnayogera ku nnyumba ya Isiraeri ne ku nnyumba ya Yuda.

15. Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo ndimereza Dawudi Ettabi ery'obutuukirivu; era oyo alituukiriza eby'obutuukirivu n'eby'ensonga mu nsi.

16. Mu nnaku ezo Yuda alirokoka ne Yerusaalemi kirituula mirembe: na lino lye linnya lye kirituumibwa, nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe.

17. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Dawudi taabulwenga musajja wa kutuula ku ntebe ey'ennyumba ya Isiraeri emirembe gyonna;

18. so ne bakabona, Abaleevi, tebaabulwenga musajja mu maaso gange ow'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okwokya ebitone n'okusalanga ssaddaaka olutata.

19. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kyogera nti

20. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oba nga muyinza okumenya endagaano yange ey'emisana n'endagaano yange ey'ekiro, waleme okubaawo emisana n'ekiro mu ntuuko zaabyo;

21. kale n’endagaano eyinzika okumenyeka eri Dawudi omuddu wange, aleme okuba n'omwana okufugira ku ntebe ye; n'eri Abaleevi, bakabona, abaweereza bange.

22. Ng'eggye ery'omu ggulu bwe litayinzika kubalibwa, so n'omusenyu ogw'ennyanja okugerebwa; bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuddu wange n'Abaleevi abampeereza.

23. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kyogera nti

24. Tolowooza abantu bano bye boogedde! nti Enda zombi Mukama ze yalonda azisudde? bwe batyo bwe banyooma abantu bange baleme okuba nate eggwanga mu maaso gaabwe.

25. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Endagaano yange ey'emisana n'ekiro oba nga tenywera, oba nga sassaawo biragiro by'eggulu n'ensi;

26. kale ndisuula n'ezzadde lya Yakobo n'erya Dawudi omuddu wange, nneme okutwala ku zzadde lye okufuganga ezzadde lya Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo: kubanga ndikomyawo obusibe bwabwe, era ndibasaasira.

About Yeremiya Chapter 33

Read Yeremiya Chapter 33 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yeremiya
Chapter: 33
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yeremiya Chapter 33 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yeremiya Chapter 33?

Yeremiya Chapter 33 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 33 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 23

Explore More from Yeremiya

  1. Yeremiya Chapter 47
  2. Yeremiya Chapter 6
  3. Yeremiya Chapter 22
  4. Yeremiya Chapter 23
  5. Yeremiya Chapter 32
  6. Yeremiya Chapter 19
  7. Yeremiya Chapter 15

Related Chapters & Readings

  1. 1 Ebyomumirembe Chapter 27
  2. 1 Peetero Chapter 1
  3. Engero Chapter 16
  4. Okubikkulirwa Chapter 16
  5. Omubuulizi Chapter 3
  6. Ezekyeri Chapter 47
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 21
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *