Read Ebikolwa Chapter 18 Online
Read Ebikolwa Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebikolwa in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ebikolwa and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Ebikolwa 18
Essuula 18
1. Awo oluvannyuma lw'ebyo n'ava mu Asene n'atuuka e Kkolinso.
2. N'alaba omuntu Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalirwa mu Ponto, yali kyajje ave mu Italiya, ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulwawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Ruumi: n'ajja gye baali;
3. era kubanga baalina omulimu gumu n'abeeranga nabo ne bakolanga omulimu; kubanga omulimu gwabwe baali bakozi ba weema.
4. N'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro buli ssabbiiti, n'asendasendanga Abayudaaya n'Abayonaani.
5. Naye Siira ne Timoseewo bwe baava e Makedoni, Pawulo n'awalirizibwa ekigambo, ng'ategeeza Abayudaaya nga Yesu ye Kristo.
6. Bwe baamutangira ne bamuvuma, n’akunkumula engoye ze n'abagamba nti Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe: nze ndi mulongoofu: okutanula kaakano nnaagenda eri ab'amawanga.
7. N'avaayo, n'ayingira mu nnyumba y'omuntu erinnya lye Tito Yusito, atya Katonda, ennyumba ye eriraanye ekkuŋŋaniro.
8. Era Kulisupo, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'akkiriza Mukama waffe n'ennyumba ye yonna; n'Abakkolinso bangi bwe baawulira ne bakkiriza ne babatizibwa.
9. Mukama waffe n'agamba Pawulo ekiro mu kwolesebwa nti Totya naye yogeranga, tosirikanga,
10. kubanga nze ndi wamu naawe; so tewali muntu anaakulumbanga okukukola obubi: kubanga nnina abantu bangi mu kibuga muno.
11. N'amalayo mwaka n'emyezi mukaaga ng'ayigirizanga ekigambo kya Katonda mu bo.
12. Naye Galiyo bwe yali nga ye wessaza ly'e Akaya, Abayudaaya ne balumba Pawulo n’omwoyo gumu ne bamuleeta awasalirwa emisango,
13. nga bagamba nti Ono asendasenda abantu okusinza Katonda ng'amateeka bwe gatalagira.
14. Naye Pawulo bwe yali agenda okwasama akamwa ke, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti Singa wabaddewo okusobya oba kwonoona okubi, mmwe Abayudaaya, nandibagumiikirizza:
15. naye oba nga waliwo okubuuzagana okw'ebigambo: n'amannya n'amateeka agali mu mmwe, ekyo kyammwe: nze saagala kusala musango gw'ebyo.
16. N'abagoba awasalirwa emisango.
17. Bonna ne bakwata Sossene omukulu w'ekkuŋŋaaniro ne bamukubira awasalirwa emisango. Era Galiyo teyafaayo mu bigambo ebyo.
18. Pawulo n'amalayo ennaku nnyingi endala nate, n'asiibula ab'oluganda n'avaayo n'awanika amatanga okugenda e Busuuli, era wamu naye Pulisikira ne Akula; bwe yamala okumwera enviiri mu Kenkereya; kubanga yeerayirira.
19. Ne batuuka mu Efeso, bali n'abaleka eyo; naye ye yennyini n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'awakana n'Abayudaaya.
20. Bwe baamwagala okweyongera okutuula n'atakkiriza;
21. naye n'abasiibula n'agamba nti Ndikomawo nate gye muli Katonda ng'ayagadde, n'awanika amatanga n'avaayo mu Efeso.
22. N'agoba e Kayisaliya, n'alinnya n'alamusa ab'ekkanisa, n'aserengeta okutuuka Antiyokiya.
23. Bwe yamalayo ebiro si bingi n'avaayo, n'ayitira mu nsi y'e Ggalatiya n’e Fulugiya, ng'ava kumu, ng'agumya abayigirizwa bonna.
24. Awo omuntu Omuyudaaya erinnya lye Apolo eyazaalirwa mu Alegezandereya, omuntu eyayigirizibwa, oyo n'atuuka mu Efeso, eyali omugezi mu byawandiikibwa.
25. Oyo yali ng'abuuliddwa ekkubo lya Mukama waffe, ng'ayaka mu mwoyo n'ayogera n'ayigiriza nnyo ebigambo bya Yesu, ng'amanyi okubatiza kwa Yokaana kwokka:
26. oyo n'atanula okwogera n'obugumu mu kkuŋŋaaniro. Naye Pulisikira ne Akula bwe baawulira ne bamutwala gye bali, ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda.
27. Bwe yayagala okuwunguka okutuuka Akaya, ab'oluganda ne bamugumya ne bawandiikira abayigirizwa okumusembeza: bwe yatuuka n'abayambanga nnyo abakkiriza olw'ekisa:
28. kubanga yasinganga Abayudaaya amaanyi amangi mu maaso g'abantu, ng'ategeezanga mu byawandiikibwa nga Yesu ye Kristo.
About Ebikolwa Chapter 18
Read Ebikolwa Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebikolwa in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Ebikolwa
Chapter: 18
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ebikolwa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Ebikolwa Chapter 18 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Ebikolwa Chapter 18?
Ebikolwa Chapter 18 is part of the Book of Ebikolwa in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Ebikolwa Chapter 18 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from ebikolwa
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 2
- Ebikolwa Chapter 11
- Ebikolwa Chapter 28
Explore More from Endagaano Empya
- Okubikkulirwa Chapter 10
- Abaggalatiya Chapter 1
- Makko Chapter 16
- 1 Peetero Chapter 2
- Yokaana Chapter 17
- 2 Abasessaloniika Chapter 2
- 1 Yokaana Chapter 3