Olubereberye Chapter 50

For English

Read Olubereberye Chapter 50 Online

Read Olubereberye Chapter 50 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

A+ A A-

Olubereberye 50

Essuula 50

1. Yusufu n'agwa ku maaso ga kitaawe, n'amukaabirako, n'amunywegera:

2. Yusufu n'alagira abaddu be abasawo okukalirira kitaawe: abasawo ne bakalirira Isiraeri.

3. Ne bamala ennaku ana nga bamukalirira; kubanga bwe zityo ennaku ez'okukaliriramu bwe zenkana okuzimala: Abamisiri ne bamala ennaku nsanvu nga bakumye olumbe ku bubwe.

4. Awo ennaku ez'okumukaabira bwe zaggwa, Yusufu n'agamba ennyumba ya Falaawo nti Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso gammwe, mbeegayiridde, mwogerere mu matu ga Falaawo nti

5. Kitange yandayiza ng'ayogera nti Laba, nfa: mu ntaana gye nneesimira mu nsi ya Kanani mw'olinziika. Kale kaakano nkwegayiridde, nnyambuke, nziike kitange, era ndikomawo.

6. Falaawo n'ayogera nti Yambuka oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.

7. Yusufu n'ayambuka okuziika kitaawe: ne wagenda naye abaddu bonna aba Falaawo, abakadde ab'ennyumba ye n'abakadde bonna ab'ensi y'e Misiri,

8. n'ennyumba yonna eya Yusufu, ne baganda be n'ennyumba ya kitaawe: abaana baabwe abato, n'endiga zaabwe n'ente zaabwe ebyo byokka bye baaleka mu nsi y'e Goseni.

9. Ne wayambuka naye amagaali era n'abeebagadde ku mbalaasi: ne kiba ekibiina ekinene ennyo.

10. Ne batuuka ku gguliro lya Atadi, eriri emitala wa Yoludaani, ne bakubira eyo ebiwoobe bingi binene nnyo: n'amala ennaku musanvu, ng'akaabira kitaawe.

11. N'abo abaatuulanga mu nsi, Abakanani, bwe baalaba nga bakaabira mu gguliro lya Atadi, ne boogera nti Okukaaba kuno kungi eri Abamisiri: kyeryava lituumibwa erinnya Aberumiziraimu, ekiri emitala wa Yoludaani.

12. Abaana be ne bamukolera nga bwe yabalagira:

13. bwe kityo abaana be ne bamusitula ne bamutwala mu nsi ya Kanani, ne bamuziika mu mpuku ey'omu nnimiro ya Makupeera, Ibulayimu gye yagula awamu n'ennimiro, okuba obutaka okuziikangamu, eri Efulooni Omukiiti, eri mu maaso ga Mamule.

14. Yusufu n'addayo mu Misiri ye ne baganda be ne bonna abaagenda naye okuziika kitaawe, bwe yamala okuziika kitaawe.

15. Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe yafa, ne boogera nti Mpozzi Yusufu agenda okutukyawa, n'okutuwalanirako ddala obubi bwonna bwe twamukola.

16. Ne batumira Yusufu nga boogera nti Kitaawo yalagira bwe yali nga tannafa ng'ayogera nti

17. Bwe mutyo bwe muligamba Yusufu nti Nkwegayiridde kaakano, sonyiwa okwonoona kwa baganda bo n'ekibi kyabwe, kubanga baakukola bubi: ne kaakano, tukwegayiridde, sonyiwa okwonoona kw'abaddu ba Katonda wa kitaawo. Yusufu n'akaaba amaziga bwe baayogera naye.

18. Ne baganda be n'okugenda ne bagenda ne bavuunama mu maaso ge; ne boogera nti Laba, tuli baddu bo.

19. Yusufu n'abagamba nti Temutya: nze ndi mu kifo kya Katonda?

20. Nammwe, mwali mwagala okundeetako ebibi; naye Katonda yali ayagala okundeetako ebirungi, nga era bwe kibadde, okuwonya abantu abangi baleme okufa.

21. Kale kaakano temutya: nnaabaliisanga mmwe n'abaana bammwe abato. Naabasanyusa, nnaabagamba eby'ekisa.

22. Yusufu n'atuulanga mu Misiri ye n'ennyumba ya kitaawe: Yusufu n'awangaala emyaka kikumi mu kkumi.

23. Yusufu n’alaba abaana ba Efulayimu bannakabirye: era n'abaana ba Makiri omwana wa Manase baazaalirwa ku maviivi ga Yusufu.

24. Yusufu n'agamba baganda be nti Nfa: naye Katonda telirema kubajjira n'okubaggya mu nsi eno okubatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.

25. Yusufu n'alayiza abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Katonda talirema kubajjira, nammwe mulitwala amagumba gange nga mugaggya muno.

26. Bw'atyo Yusufu n'afa, nga yaakamaze emyaka kikumi mu kkumi: ne bamukalirira; ne bamuteeka mu ssanduuko ey'okuziikamu mu Misiri.

About Olubereberye Chapter 50

Read Olubereberye Chapter 50 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Olubereberye
Chapter: 50
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Olubereberye Chapter 50 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Olubereberye Chapter 50?

Olubereberye Chapter 50 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 50 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from Olubereberye

  1. Olubereberye Chapter 47
  2. Olubereberye Chapter 10
  3. Olubereberye Chapter 35
  4. Olubereberye Chapter 28
  5. Olubereberye Chapter 21
  6. Olubereberye Chapter 25
  7. Olubereberye Chapter 13

Related Chapters & Readings

  1. 1 Bassekabaka Chapter 1
  2. Isaaya Chapter 23
  3. Lukka Chapter 18
  4. Zabbuli Chapter 115
  5. Zabbuli Chapter 73
  6. Abaggalatiya Chapter 1
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 11
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *