1 Samwiri Chapter 21

For English

Read 1 Samwiri Chapter 21 Online

Read 1 Samwiri Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Samwiri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

1 Samwiri 21

Essuula 21

1. Awo Dawudi n'atuuka e Nobu eri Akimereki kabona: Akimereki n'ajja okusisinkana Dawudi ng'akankana n'amugamba nti Obeeredde ki omu, so tewali muntu naawe?

2. Dawudi n'agamba Akimereki kabona nti Kabaka yantuma omulimu n'aŋŋamba ati Tewaba muntu anaamanya ekigambo kyonna eky'omulimu gwe nkutuma newakubadde bye nkulagidde: era n'abalagira abalenzi egindi n'egindi.

3. Kale nno kiki ekiri wansi w'omukono gwo? mpa emigaati etaano mu mukono gwange oba kyonna ekiriwo.

4. Awo kabona n'addamu Dawudi n'ayogera nti Tewali mugaati bugaati wansi w'omukono gwange, naye omugaati omutukuvu gwe guliwo; kyokka abalenzi oba nga beekuumye obutakwata ku bakazi.

5. Dawudi n'addamu kabona n'amugamba nti Mazima twaziyizibwa okuba n'abakazi ennaku nga ssatu; bwe nnavaayo, ebintu by'abalenzi byali bitukuvu, newakubadde nga lugendo bugendo; kale leero ebintu byabwe tebirisinga nnyo kuba bitukuvu?

6. Awo kabona n'amuwa emigaati emitukuvu: kubanga teyaliiyo mugaati wabula emigaati egy'okulaga, egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, okussaawo emigaati egibuguma ku lunaku kwe gyaggirwawo.

7. Era omuntu ow'oku baddu ba Sawulo yaliyo ku lunaku olwo, ng'aziyizibwa mu maaso ga Mukama; n'erinnya lye yali Dowegi Omwedomu, omukulu w'abasumba ba Sawulo.

8. Dawudi n'agamba Akimereki nti Era tewali wano ffumu newakubadde ekitala wansi w'omukono gwo? kubanga saaleeta wamu mange kitala kyange newakubadde ebyokulwanyisa byange, kubanga omulimu gwa kabaka gwali gwa kwanguwa.

9. Kabona n'ayogera nti Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, laba, kiri wano nga kizingiddwa mu kiwero ennyuma w'ekkanzu: oba oyagala okutwala ekyo, kitwale; kubanga tewali kirala wano wabula ekyo. Dawudi n'ayogera nti Tewali kikyenkana ekyo; kimpe.

10. Awo Dawudi n'agolokoka n'adduka ku lunaku olwo olw'okutya Sawulo, n'agenda eri Akisi kabaka w'e Gaasi.

11. Abaddu ba Akisi ne bamugamba nti Dawudi oyo si ye kabaka w'ensi? tebaayimbiragana ku ye nga bazina, nga boogera nti Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi obukumi bwe?

12. Dawudi n'atereka ebigambo ebyo mu mutima gwe, n'atya nnyo Akisi kabaka w'e Gaasi.

13. Awo n'awaanyisa empisa ze mu maaso gaabwe, ne yeeralusalalusa mu mikono gyabwe, n’ayagulayagula ku nzigi eza wankaaki, n'akulukusa amalusu mu birevu bye.

14. Awo Akisi n'alyoka agamba abaddu be nti Abaffe, mulabye omusajja ng'aguddemu eddalu: kale mumuleetedde ki gye ndi?

15. Mbuliddwa abalalu n'okuleeta ne muleeta olusajja luno okulalukira mu maaso gange? olusajja luno lunaayingira mu nnyumba yange?

About 1 Samwiri Chapter 21

Read 1 Samwiri Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 1 Samwiri
Chapter: 21
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Samwiri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 1 Samwiri Chapter 21 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 1 Samwiri Chapter 21?

1 Samwiri Chapter 21 is part of the Book of 1 Samwiri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 1 Samwiri Chapter 21 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 1-samwiri

  1. 1 Samwiri Chapter 15
  2. 1 Samwiri Chapter 6
  3. 1 Samwiri Chapter 10
  4. 1 Samwiri Chapter 27
  5. 1 Samwiri Chapter 25
  6. 1 Samwiri Chapter 9
  7. 1 Samwiri Chapter 30

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Olubereberye Chapter 13
  2. Zabbuli Chapter 102
  3. Eseza Chapter 7
  4. Zabbuli Chapter 20
  5. Ekyamateeka Chapter 19
  6. Yoswa Chapter 9
  7. Ezera Chapter 6

Related Chapters & Readings

  1. Ekyabalamuzi Chapter 17
  2. 1 Bassekabaka Chapter 3
  3. Ekyabalamuzi Chapter 2
  4. Zabbuli Chapter 72
  5. 1 Samwiri Chapter 19
  6. Yokaana Chapter 5
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 3
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *