Read Olubereberye Chapter 14 Online
Read Olubereberye Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Olubereberye 14
Essuula 14
1. Awo mu mirembe gya Amulaferi kabaka w'e Sinali, Aliyoki, kabaka w'e Erasali, Kedolawomeeri, kabaka w'e Eramu, n'egya Tidali, kabaka w'e Goyiyimu,
2. ne balwana ne Bbeera, kabaka w'e Sodoma, ne Bbiruusa, kabaka w'e Ggomola, Sinaabu, kabaka w'e Aduma, ne Semebeeri, kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera (ye Zowaali).
3. Abo bonna ne beegattira mu kiwonvu Sidimu (eyo ye nnyanja ey'omunnyo):
4. Ne baweerereza Kedolawomeeri emyaka kkumi n'ebiri, ne mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ne bajeema.
5. Ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ena Kedolawomeeri n'ajja, ne bakabaka abaali awamu naye, ne bakubira Abaleefa mu Asuterosikalumayimu, n'Abazuuzi mu Kaamu, n'Abemi mu Savekiriyasayimu,
6. n'Abakooli ku lusozi lwabwe Seyiri, ne babagoba okutuusa Erupalaani ekiri okumpi n'eddungu.
7. Ne baddayo ne batuuka e Nuumisupaati (ye Kadesi), ne bakuba ensi yonna eya Abameleki, era n'eya Abamoli, abaatuula mu Kazazonutamali.
8. Ne watabaala kabaka w'e Sodoma, ne kabaka w'e Ggomola, ne kabaka w'e Aduma, ne kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera (ye Zowaali); ne bategeka olutalo okulwanira nabo mu kiwonvu Sidimu;
9. okulwana ne Kedolawomeeri, kabaka w'e Eramu, ne Tidali, kabaka w'e Goyiyimu, ne Amulafeeri, kabaka w'e Sinali, ne Aliyooki kabaka w'e Erasali: bakabaka abana nga balwana n'abataano.
10. Era ekiwonvu Sidimu kyali kijjudde obunnya obw'ebitosi; ne bakabaka b’e Sodoma ne Ggomola ne badduka, ne bagwa omwo, n'abo abaasigalawo ne baddukira ku lusozi.
11. Ne banyaga abintu byonna eby'omu Sodoma ne Ggomola, n'ebyokulya byabwe byonna, ne beegendera.
12. Ne banyaga Lutti, omwana wa muganda wa Ibulaamu, eyatuulanga mu Sodoma, n'ebintu bye, ne bagenda.
13. Ne wajja omu eyawonawo, n'abuulira Ibulaamu Omwebbulaniya: oyo yatuulanga awali emivule gya Mamule Omwamoli, muganda wa Esukoli, era muganda wa Aneri; nabo baali nga balagaanye ne Ibulaamu.
14. Ibulaamu bwe yawulira nga baanyaga muganda we, n'agenda ne basajja be abaayigirizibwa okulwana, abaazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi mu munaana, ne babagoberera okutuusa ku Ddaani.
15. Ne baawukanamu okubalumba ekiro, ye n'abaddu be, ne babakuba, ne babagoberera okutuusa ku Kkoba, ekiri ku mukono ogwa kkono ogw'e Ddamasiko.
16. N'akomyawo ebintu byonna, era n'akomyawo ne muganda we Lutti, n'ebintu bye, era n'abakazi, n'abantu.
17. Ne kabaka w'e Sodoma n'afuluma okumusisinkana, bwe yamala okukomawo ng'asse Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, mu kiwonvu Save (kye kiwonvu kya kabaka).
18. Ne Merukizeddeeki kabaka w'e Ssaalemi n'aleta emmere n'omwenge: era ye yali kabona wa Katonda ali waggulu ennyo.
19. N'amusabira omukisa, n'ayogera nti Ibulaamu aweebwe omukisa, Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi:
20. era Katonda ali waggulu ennyo atenderezebwe akugabidde abalabe bo mu mukono gwo. N'amuwa ekitundu eky'ekkumi ekya byonna.
21. Kabaka w'e Sodoma n'agamba Ibulaamu nti Mpa nze abantu, ebintu obyetwalire ggwe.
22. Ibulaamu n'agamba kabaka w'e Sodoma nti Nnyimusizza omukono gwange eri Mukama Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi,
23. nga ndayira nti siritwala kaggwa newakubadde akakoba k'engatto newakubadde akantu konna k'olina, oleme okwogera nti Mmugaggawazizza Ibulaamu:
24. wabula ebyo abavubuka bye balidde, n'omugabo gw'abasajja abaagenda nange; Aneri, Esukoli; ne Mamule abo batwale omugabo gwabwe.
About Olubereberye Chapter 14
Read Olubereberye Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Olubereberye
Chapter: 14
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Olubereberye Chapter 14 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Olubereberye Chapter 14?
Olubereberye Chapter 14 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 14 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 10
Explore More from Olubereberye
- Olubereberye Chapter 6
- Olubereberye Chapter 7
- Olubereberye Chapter 1
- Olubereberye Chapter 29
- Olubereberye Chapter 8
- Olubereberye Chapter 32
- Olubereberye Chapter 50