Read Olubereberye Chapter 10 Online
Read Olubereberye Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Olubereberye 10
Essuula 10
1. Ne kuno kwe kuzaala kw'abaana ba Nuuwa, Seemu, Kaamu ne Yafeesi: abaana ne babazaalirwa amataba nga gamaze okubaawo.
2. Abaana ba Yafeesi: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi.
3. N'abaana ba Gomeri: Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma.
4. N'abaana ba Yavani: Erisa, ne Talusiisi, Kitimu, ne Dodanimu.
5. Abo be baagabirwa ebizinga eby'amawanga mu nsi zaabwe, buli muntu ng'olulimi lwe bwe lwali; ng'ebika byabwe bwe byali, mu mawanga gaabwe.
6. N'abaana ba Kaamu: Kuusi, ne Mizulayimu, ne Puuti, ne Kanani.
7. N'abaana ba Kuusi: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka: n'abaana ba Laama: Seeba, ne Dedani.
8. Kuusi n'azaala Nimuloodi; n'atanula okuba ow'amaanyi mu nsi.
9. Yali muyizzi wa maanyi mu maaso ga Mukama: kyekiva kyogerwa nti Nga Nimuloodi omuyizzi ow'amaanyi mu maaso ga Mukama.
10. N'okusooka kw'obwakabaka bwe kwali Baberi, ne Ereki, ne Akudi, ne Kalune, mu nsi Sinali.
11. N'ava mu nsi omwo n'agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala,
12. ne Leseni ekiri wakati wa Nineeve ne Kala (ekyo kye kibuga ekinene).
13. Mizulayimu n'azaala Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu,
14. ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti), ne Kafutolimu.
15. Kanani n'azaala Zidoni omubereberye we, ne Keesi,
16. n'Omuyebusi, n'Omwamoli, n'Omugirugaasi;
17. n'Omukiivi, n'Omwaluki, n'Omusiini;
18. n'Omwaluvada, n'Omuzemali, n'Omukamasi; n'ebika eby'Omukanani ne biddirira abo okubuna.
19. N'ensalo ey'Omukanani yava mu Zidoni, ng'ogenda e Gerali, n'etuuka ku Gaza; era yatuuka ku Lasa, ng'ogenda e Sodoma ne Ggomola ne Aduma ne Zeboyimu.
20. Abo be baana ba Kaamu, ebika byabwe nga bwe byali, n'ennimi zaabwe, mu nsi zaabwe, mu mawanga gaabwe.
21. Era ne Seemu, jjajja w'abaana bonna aba Eberi, muganda wa Yafeesi omukulu, naye n'azaalirwa abaana.
22. Abaana ba Seemu: Eramu, ne Asuli, ne Alupakusaadi ne Ludi, ne Alamu.
23. N'abaana ba Alamu: Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri, ne Masi.
24. Ne Alupakusaadi n'azaala Seera; Seera n'azaala Eberi.
25. Eberi n'azaalirwa abaana babiri: erinnya ly'omu Peregi; kubanga mu nnaku ze ensi zonna mwe zaagabirwa; n'erinnya lya muganda we Yokutaani.
26. Yokutaani n'azaala Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera;
27. ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula;
28. ne Obali, ne Abimayeeri, ne Seeba;
29. ne Ofiri, ne Kavira, ne Yobabu: abo bonna baana ba Yokutaani.
30. N'ensi gye baatuulamu yava ku Mesa, ng'ogenda e Serali, olusozi olw'ebuvanjuba.
31. Abo be baana ba Seemu, ebika byabwe nga bwe byali, n'ennimi zaabwe, mu nsi zaabwe, amawanga gaabwe nga bwe gaali.
32. Ebyo bye bika eby'abaana ba Nuuwa, ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, mu mawanga gaabwe: era mu abo mwe gaava amawanga okwawulirwa mu nsi amataba nga gamaze okubaawo.
About Olubereberye Chapter 10
Read Olubereberye Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Olubereberye
Chapter: 10
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Olubereberye Chapter 10 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Olubereberye Chapter 10?
Olubereberye Chapter 10 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 10 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 14
Explore More from Olubereberye
- Olubereberye Chapter 29
- Olubereberye Chapter 8
- Olubereberye Chapter 21
- Olubereberye Chapter 45
- Olubereberye Chapter 37
- Olubereberye Chapter 46
- Olubereberye Chapter 39