Read Olubereberye Chapter 15 Online
Read Olubereberye Chapter 15 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Olubereberye 15
Essuula 15
1. Oluvannyuma lw'ebyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa, nga kyogera nti Totya, Ibulaamu: nze ngabo yo, n'empeera yo ennene ennyo.
2. Ibulaamu n'ayogera nti Ai Mukama Katonda, onompa ki, kubanga ntambula nga sirina mwana, naye alirya ennyumba yange ye Ddamesiko Erieza?
3. Ibulaamu n'ayogera nti Laba, nze tompadde zadde: era, laba, eyazaalirwa mu nnyumba yange ye musika wange.
4. Era, laba, ekigambo kya Mukama ne kimujjira, nga kyogera nti Omuntu oyo taliba musika wo; naye aliva mu ntumbwe zo ggwe ye aliba omusika wo.
5. N'amufulumya ebweru, n'ayogera nti Tunuulira eggulu kaakano, obale emmunyeenye, bw'onooyinza okuzibala: n'amugamba nti Ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.
6. N'akkiriza Mukama; n'akumubalira okuba obutuukirivu.
7. N'amugamba nti Nze, Mukama eyakuggya mu Uli eya Abakaludaaya, okukuwa ensi eno okugisikira.
8. N'ayogera nti Ai Mukama Katonda, kiki ekinantegeeza nga ndigisikira?
9. N'amugamba nti Ontwalire ente enkazi eyaakamaze emyaka esatu, n'embuzi enkazi eyaakamaze emyaka esatu, n'endiga ensajja eyaakamaze emyaka esatu, ne kaamukuukulu, n'ejjiba etto.
10. Ne yeetwalira ebyo byonna, n'abyasaamu wakati, n'ateeka ebitundu bibiri bibiri nga birabagana: naye ebinyonyi n'atabyaasaamu.
11. N'amasega ne gagwa ku mirambo, Ibulaamu n'agagoba.
12. Awo enjuba bwe yali ng'egwa, otulo otungi ne tugwa ku Ibulaamu; era, laba, entiisa ey'ekizikiza ekikutte n'emugwako.
13. N'agamba Ibulaamu nti Tegeerera ddala ng'ezzadde lyo liriba ggenyi mu nsi eteri yaabwe, era balibaweereza; era balibabonyezabonyeza emyaka bina;
14. era n'eggwanga eryo, lye baliweereza, ndirisalira omusango: ne balyoka bavaamu nga balina ebintu bingi.
15. Naye ggwe oligenda awali bajjajja bo n'emirembe; oliziikibwa bw'olimala okuwangaala obulungi.
16. Ne mu mirembe egy'okuna balikomawo nate wano: kubanga obutali butuukirivu obw'Omwamoli tebunnatuukirira.
17. Awo, enjuba bwe yamala okugwa, ekizikiza nga kikutte, laba, ekikoomi ekinyooka n'omumuli ogwaka ne biyita wakati awali ebitundu ebyo.
18. Ku lunaku olwo Mukama n'alagaana ne Ibulaamu, ng'ayogera nti Ezzadde lyo ndiwadde ensi eno, okuva ku mugga ogw'e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati:
19. Omukeeni, n'Omukenizi, n'Omukadumooni,
20. n'Omukiiti, n'Omuperizi, n'Abaleefa,
21. n'Omwamoli, n'Omukanani, n'Omugirugaasi, n'Omuyebusi.
About Olubereberye Chapter 15
Read Olubereberye Chapter 15 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Olubereberye
Chapter: 15
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Olubereberye Chapter 15 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Olubereberye Chapter 15?
Olubereberye Chapter 15 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 15 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
Explore More from Olubereberye
- Olubereberye Chapter 24
- Olubereberye Chapter 8
- Olubereberye Chapter 49
- Olubereberye Chapter 27
- Olubereberye Chapter 1
- Olubereberye Chapter 23
- Olubereberye Chapter 36