Olubereberye Chapter 23

For English

Read Olubereberye Chapter 23 Online

Read Olubereberye Chapter 23 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Olubereberye 23

Essuula 23

1. Saala n'awangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu: egyo gye myaka Saala gye yawangaala.

2. Saala n'afiira mu Kiriasualaba (ye Kebbulooni), mu nsi ya Kanani: Ibulayimu n'ajja okukungubagira Saala, n'okumukaabira, amaziga.

3. Ibulayimu n'agolokokai n'ava eri omulambo gwe, n'agamba abaana ba Keesi nti

4. Nze ndi mugenyi era mutambuze gye muli: mumpe ekifo eky'okuziikangamu okuba obutaka mu nsi yammwe, nziike omulambo gwange obutagulabangako.

5. N'abaana ba Keesi ne baddamu Ibulayimu, nga bamu gamba nti

6. Otuwulire, mukama wange: ggwe oli mukungu mukulu mu ffe: ziika omulambo gwo mu ntaana yaffe gy'oneeroboza mu zonna; tewali mu ffe agenda okukumma entaana ye, obutaziika omulambo gwo.

7. Ibulayimu n'agolokoka, n'avunnamira abantu ab'omu nsi, be baana ba Keesi.

8. N'ayogera nabo, ng'agamba nti Bwe mwagala nze okuziika omulambo gwange obutagulabangako, mumpulire, munneegayiririre Efulooni omwana wa Zokali,

9. ampe empuku eya Makupeera, gy'alina, ekomerera mu lusuku lwe; aginguze omuwendo gwayo omulamba wakati mu mmwe okuba obutaka okuba entaana.

10. Efulooni yali atudde wakati mu baana ba Keesi; Efulooni Omukiiti n'addamu Ibulayimu abaana ba Keesi nga bamuwulira, be bonna abaayingira mu mulyango gw'ekibuga, ng'ayogera nti

11. Nedda, mukama wange, ompulire: olusuku ndukuwadde, n'empuku erulimu ngikuwadde; mu maaso g`abaana b'abantu bange ngikuwadde: ziika omulambo gwo.

12. Ibulayimu n'avuunama mu maaso g'abantu ab'omu nsi.

13. N'agamba Efulooni abantu ab'omu nsi nga bamuwulira, ng'ayogera nti Naye bw'onooyagala, nkwegayirira, ompulire: nnaasasula omuwendo gw'olusuku; gukkirize nkuwe, nange naaziika omwo omulambo gwange.

14. Efulooni n'addamu Ibulayimu, ng'amugamba nti

15. Mukama wange, ompulire: akasuku omuwendo gwako essekeri eza ffeeza ebina kintu ki eri nze naawe? kale ziika omulambo gwo.

16. Ibulayimu n'awulira Efulooni; Ibulayimu n'agerera Efulooni effeeza gye yali agambye abaana ba Keesi nga bamuwulira, essekeri eza ffeeza bina, nga effeeza eya bulijjo ey'omuguzi bwe yali.

17. Awo olusuku lwa Efulooni, olwali mu Makupeera, etunuulira Mamule, olusuku n'empuku eyalimu, n'emiti gyonna egyali mu lusuku, egyali mu nsalo yaalwo yonna okwetooloola,

18. byanywezebwa eri Ibulayimu okuba obutaka bwe mu maaso g'abaana ba Keesi, mu maaso ga bonna abaayingira mu mulyango gw'ekibuga kye.

19. Oluvannyuma lw'ebyo Ibulayimu n'aziika Saala mukazi we mu mpuku ey'omu lusuku olwa Makupeera etunuulira Mamule (ye Kebbulooni), mu nsi y'e Kanani.

20. N'olusuku n'empuku erulimu ne binywezebwa abaana ba Keesi eri Ibulayimu okuba obutaka bwe okuba ekifo eky'okuziikangamu.

About Olubereberye Chapter 23

Read Olubereberye Chapter 23 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Olubereberye
Chapter: 23
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Olubereberye Chapter 23 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Olubereberye Chapter 23?

Olubereberye Chapter 23 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 23 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from Olubereberye

  1. Olubereberye Chapter 32
  2. Olubereberye Chapter 21
  3. Olubereberye Chapter 26
  4. Olubereberye Chapter 38
  5. Olubereberye Chapter 41
  6. Olubereberye Chapter 47
  7. Olubereberye Chapter 50

Related Chapters & Readings

  1. Abaefeeso Chapter 2
  2. Yoweeri Chapter 3
  3. Zabbuli Chapter 38
  4. Olubereberye Chapter 50
  5. Zabbuli Chapter 55
  6. Okubala Chapter 21
  7. Yeremiya Chapter 13
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *