Olubereberye Chapter 39

For English

Read Olubereberye Chapter 39 Online

Read Olubereberye Chapter 39 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Olubereberye 39

Essuula 39

1. Yusufu ne bamuserengesa mu Misiri; Potifali, omwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa, Omumisiri, n'amugula mu mukono gw'Abaisimaeri, abaamuserengesa eyo.

2. Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'aba n'omukisa; n'abeera mu nnyumba ya mukama we Omumisiri.

3. Mukama we n'alaba nga Mukama ali naye, era nga Mukama amuwa buli kye yakola okuba n'omukisa mu mukono gwe.

4. Yusufu n'alaba ekisa mu maaso ge, n'amuweereza: n'amufuula omulabirizi w'ennyumba ye, ne bye yali nabyo byonna n'abiteeka mu mukono gwe.

5. Awo olwatuuka bwe yamala okumufuula omulabirizi w'ennyumba ye, era owa byonna bye yalina, Mukama n'alyoka agiwa ennyumba ey'Omumisiri omukisa ku bwa Yusufu: omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye yalina, eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro.

6. N'aleka byonna bye yalina mu mukono gwa Yusufu; n'atamanya kintu ekyali naye wabula emmere gye yalyanga. Era Yusufu yali mulungi, n'amaaso ge ga kusanyusa.

7. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omukazi wa mukama we n’atunuulira Yusufu; n'ayogera nti Sula nange.

8. Naye n'agaana, n'agamba omukazi wa mukama we nti Laba, mukama wange tamanyi ebiri nange mu nnyumba, era yateeka byonna by'alina mu mukono gwange;

9. tewali ansinga nze obukulu mu nnyumba muno; so teyasigaza kintu obutakimpa nze wabula ggwe, kubanga oli mukazi we: kale nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n'okusobya ku Katonda?

10. Awo olwatuuka bwe yayogera ne Yusufu buli lunaku, n'atamuwuliranga, okusula naye, oba kubeera naye.

11. Awo olwatuuka mu biro ebyo n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye; so nga siwali basajja ba mu nnyumba muli munda.

12. N'amukwatako ekyambalo kye ng'ayogera nti Sula nange: n'aleka ekyambalo kye mu mukono gwe, n'adduka, n'avaayo.

13. Awo olwatuuka, bwe yalaba ng'alese ekyambalo kye mu mukono gwe n'adduka n'avaayo,

14. n'alyoka ayita abasajja ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti Laba, yayingiza Omwebbulaniya okutuduulira; ayingidde gye ndi okusula nange, ne nkoowoola n'eddoboozi ddene:

15. awo olwatuuse, bw'awulidde nga nnyimusa eddoboozi lyange ne nkoowoola, n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi n'adduka n'avaayo.

16. N'atereka ekyambalo kye ewuwe, okutuusa mukama we bwe yakomawo eka.

17. N'amugamba ng'ebigambo bino bwe biri nti Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera yayingira gye ndi okunduulira:

18. awo olwatuuka, bwe nnayimusa eddoboozi lyange ne nkoowoola, n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi, n'adduka n'avaayo.

19. Awo olwatuuka, mukama we bwe yawulira ebigambo bya mukazi we bye yamugamba nti Bw'atyo omuddu wo bwe yankolera; obusungu bwe ne bubuubuuka.

20. Mukama wa Yusufu n'amutwala, n’amussa mu kkomera, ekifo abasibe ba kabaka mwe baasibirwa: n'abeera omwo mu kkomera.

21. Naye Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n’amulaga ebirungi, n'amuwa ekisa mu maaso g'omukuumi w'ekkomera.

22. Omukuumi w'ekkomera n'ateresa Yusufu mu mukono gwe abasibe bonna abaali mu kkomera; ne byonna bye baakola eyo, oyo ye yabikola.

23. Omukuumi w'ekkomera teyatunuulira kintu ekyali wansi w'omukono gwe, kubanga Mukama yali wamu naye; n'ebyo bye yakola, Mukama n'abiwa omukisa.

About Olubereberye Chapter 39

Read Olubereberye Chapter 39 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Olubereberye
Chapter: 39
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Olubereberye Chapter 39 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Olubereberye Chapter 39?

Olubereberye Chapter 39 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 39 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 25
  3. Engero Chapter 19
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Olubereberye

  1. Olubereberye Chapter 6
  2. Olubereberye Chapter 30
  3. Olubereberye Chapter 41
  4. Olubereberye Chapter 43
  5. Olubereberye Chapter 44
  6. Olubereberye Chapter 20
  7. Olubereberye Chapter 47

Related Chapters & Readings

  1. 2 Ebyomumirembe Chapter 19
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. 2 Ebyomumirembe Chapter 29
  4. Zabbuli Chapter 68
  5. 1 Bassekabaka Chapter 6
  6. Zabbuli Chapter 92
  7. Zabbuli Chapter 62
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *