Abaggalatiya Chapter 1

For English

Read Abaggalatiya Chapter 1 Online

Read Abaggalatiya Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaggalatiya in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abaggalatiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Abaggalatiya 1

Essuula 1

1. Pawulo omutume (ataava mu bantu newakubadde okuyita eri omuntu, wabula eri Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu),

2. n'ab'oluganda bonna abali nange tubawandiikidde ekkanisa ez'e Ggalatiya:

3. ekisa kibenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo,

4. eyeewaayo olw'ebibi byaffe, alyoke atuggye mu mirembe gino egiriwo emibi nga bwe yayagala Katonda era Kitaffe:

5. aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.

6. Nneewuunya kubanga musenguka mangu bwe muti eyabayita mu kisa kya Kristo okugenda eri enjiri efaanana obulala;

7. si ndala, wabula abantu ababateganya, abaagala okukyusiza ddala enjiri ya Kristo.

8. Naye oba nga ffe oba malayika ava mu ggulu bw'abuuliranga enjiri wabula nga bwe twababuulira, akolimirwenga.

9. Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo bwe njogera kaakano nate nti Omuntu bw'ababuuliranga enjiri wabula nga bwe mwaweebwa, akolimirwenga.

10. Kubanga kaakano mpembera bantu nantiki Katonda? Nantiki nsala amagezi okusiimibwa abantu? Singa nnali nga nkyasiimibwa abantu, ssandibadde muddu wa Kristo.

11. Kubanga mbategeeza, ab'oluganda, nti enjiri eyabuulirwa nze si ya buntu:

12. kubanga nange ssaagiweebwa muntu so siyigirizibwanga, wabula mu kubikkulirwa kwa Yesu Kristo.

13. Kubanga mwawulira bwe nnabanga edda mu mpisa z'Ekiyudaaya, nga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda awatali kigera ne nginyaga,

14. ne mpitirizanga mu mpisa z'Ekiyudaaya okusinga bangi bwe twakula mu ggwanga lyaffe, nga mbakiranga okubeera n'obuggya obungi ennyo mu mpisa ze nnaweebwa bajjajjange.

15. Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n'ampita olw'ekisa kye,

16. okubikkulira Omwana we mu nze, ndyoke mmubuulirenga mu b'amawanga; amangu ago ssaateesa na mubiri wadde na musaayi:

17. so ssaayambuka Yerusaalemi eri abo abansooka okubeera abatume: naye nagenda mu Buwalabu, ne nkomawo nate mu Ddamasiko.

18. Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne nnyambuka e Yerusaalemi okulaba Keefa, ne mmalayo gy'ali ennaku kkumi na ttaano.

19. Naye ssaalaba mulala ku batume wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe.

20. Kale, bye mpandiika, laba, mu maaso ga Katonda ssirimba.

21. Awo ne ŋŋenda mu njuyi ez'e Busuuli ne Kirukiya.

22. Ne mba nga sinnaba kutegeerebwa mu maaso g'ekkanisa ez'e Buyudaaya eziri mu Kristo:

23. naye ne bawuliranga buwulizi nti Eyatuyigganyanga edda kaakano abuulira okukkiriza kwe yanyaganga edda.

24. ne bagulumiza Katonda ku lwange.

About Abaggalatiya Chapter 1

Read Abaggalatiya Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaggalatiya in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Abaggalatiya
Chapter: 1
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abaggalatiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Abaggalatiya Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Abaggalatiya Chapter 1?

Abaggalatiya Chapter 1 is part of the Book of Abaggalatiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Abaggalatiya Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from abaggalatiya

  1. Abaggalatiya Chapter 3
  2. Abaggalatiya Chapter 2
  3. Abaggalatiya Chapter 6
  4. Abaggalatiya Chapter 4
  5. Abaggalatiya Chapter 5

Explore More from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 27
  2. Abaruumi Chapter 2
  3. Yokaana Chapter 11
  4. Matayo Chapter 23
  5. Ebikolwa Chapter 17
  6. Abaebbulaniya Chapter 3
  7. 2 Abakkolinso Chapter 2

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 131
  2. Zekkaliya Chapter 10
  3. 1 Abakkolinso Chapter 16
  4. Matayo Chapter 9
  5. Zabbuli Chapter 65
  6. Zabbuli Chapter 63
  7. Zabbuli Chapter 141
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *