Read 2 Ebyomumirembe Chapter 11 Online
Read 2 Ebyomumirembe Chapter 11 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Ebyomumirembe and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
2 Ebyomumirembe 11
Essuula 11
1. Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda ne Benyamini, abasajja abalonde kasiriivu mu obukumi munaana, abalwanyi, okulwana n'ennyumba ya Isiraeri, okumuddiza nate obwakabaka Lekobowaamu.
2. Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti
3. Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka lwa Yuda, ne Isiraeri yenna mu Yuda ne Benyamini, ng'oyogera nti
4. Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe: muddeeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ebigambo bya Mukama ne baddayo ne baleka okutabaala Yerobowaamu.
5. Awo Lekobowaamu n'abeera mu Yerusaalemi n'azimba ebibuga mu Yuda okuba ebigo.
6. N'azimba Besirekemu ne Etamu ne Tekowa
7. ne Besuzuli ne Soko ne Adulamu
8. ne Gaasi ne Malesa ne Zifu,
9. ne Adorayimu ne Lakisi ne Azeka
10. ne Zola ne Ayalooni ne Kebbulooni, ebiri mu Yuda ne mu Benyamini, ebibuga ebiriko enkomera.
11. Ebigo n'abizimbako enkomera, n'abiteekamu abaami n'emmere ey'okuterekebwa n'amafuta n'omwenge.
12. Ne mu buli kibuga kinnakimu n'ateekamu engabo n'amafumu, n'abinyweza nnyo nnyini. Yuda ne Benyamini ne baba babe.
13. Bakabona n'Abaleevi abaali mu Isiraeri yonna ne bagendanga gy'ali okuva mu nsalo zaabwe zonna.
14. Kubanga Abaleevi baaleka ebyalo byabwe eby'oku bibuga n'obutaka bwabwe ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi: kubanga Yerobowaamu ne batabani be baabagoba baleme okuweererezanga mu bwakabona bwabwe eri Mukama:
15. ne yeetekerawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu n'ab'embuzi ennume n'ab'ennyana ze yakola.
16. Awo ne babagoberera bonna abaateeka emitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri ab'omu bika byonna ebya Isiraeri, ne bajja e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
17. Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, ne bamunywereza emyaka esatu Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani: kubanga baatambulira emyaka esatu mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.
18. Awo Lekobowaamu n'afumbirwa omukazi Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, era owa Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese;
19. n'amuzaalira abaana ab'obulenzi; Yewusi ne Semaliya ne Zakamu.
20. Oluvannyuma lwe n'afumbirwa Maaka muwala wa Abusaalomu; oyo n'amuzaalira Abiya ne Attayi ne Ziza ne Seromisi.
21. Lekobowaamu n'ayagala Maaka muwala wa Abusaalomu okukira bakazi be bonna n'abazaana be bonna; (kubanga yawasa abakazi kkumi na munaana n'abazaana nkaaga, n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu munaana n'ab'o buwala nkaaga).
22. Lekobowaamu n'assaawo Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu, asinga baganda be obukulu: kubanga yayagala okumufuula kabaka.
23. N'akola eby'amagezi, n'asaasaanya batabani be bonna mu nsi zonna eza Yuda ne Benyamini, mu buli kibuga ekiriko olukomera: n'abawa ebyokulya bingi nnyo. N'abanoonyeza abakazi bangi.
About 2 Ebyomumirembe Chapter 11
Read 2 Ebyomumirembe Chapter 11 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 2 Ebyomumirembe
Chapter: 11
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Ebyomumirembe. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 2 Ebyomumirembe Chapter 11 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 2 Ebyomumirembe Chapter 11?
2 Ebyomumirembe Chapter 11 is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 2 Ebyomumirembe Chapter 11 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 2 Ebyomumirembe
- 2 Ebyomumirembe Chapter 34
- 2 Ebyomumirembe Chapter 19
- 2 Ebyomumirembe Chapter 9
- 2 Ebyomumirembe Chapter 15
- 2 Ebyomumirembe Chapter 22
- 2 Ebyomumirembe Chapter 6
- 2 Ebyomumirembe Chapter 14
Explore More from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 1
- Ebyabaleevi Chapter 20
- Ekyamateeka Chapter 11
- Olubereberye Chapter 1
- Yeremiya Chapter 29
- Okuva Chapter 6
- 2 Ebyomumirembe Chapter 21