Olubereberye Chapter 33

For English

Read Olubereberye Chapter 33 Online

Read Olubereberye Chapter 33 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Olubereberye 33

Essuula 33

1. Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, Esawu ng'ajja, n'abasajja bina wamu naye. N'agabira abaana Leeya ne Laakeeri n'abazaana bombi.

2. N'ateeka abazaana n'abaana baabwe mu maaso, n'abaddiriza Leeya n'abaana be, n'aviisaako ennyuma Laakeeri ne Yusufu.

3. Naye ye yennyini n'akulembera mu maaso gaabwe, n'avuunama emirundi musanvu, okutuusa bwe yasemberera muganda we.

4. Esawu n'addukana mbiro okumusisinkana, n'amukwata mu ngalo, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera: ne bakaaba amaziga.

5. N'ayimusa amaaso ge, n’alaba abakazi n’abaana; n'ayogera nti Baani bano abali naawe? N'ayogera nti Abo be baana Katonda be yawa omuddu wo olw'ekisa.

6. Abazaana ne balyoka basembera, bo n'abaana baabwe, ne bavuunama.

7. Era ne Leeya n'abaana be ne basembera, ne bavuunama: Yusufu ne Laakeeri ne balyoka basembera, ne bavunama.

8. N'ayogera nti Ekibiina ekyo kyonna kye nsisinkanye amakulu gaakyo kiki? N'ayogera nti Okulaba ekisa mu maaso ga mukama wange.

9. Esawu n'ayogera nti Bye nnina bimmala; muganda wange, by'olina bibe bibyo.

10. Yakobo n'ayogera nti Nedda, nkwegayiridde, kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, kkiriza ekirabo kyange mu mukono gwange: kubanga ndabye amaaso go, ng'omuntu bw'alaba amaaso ga Katonda, n'onsanyukira.

11. Nkwegayiridde, toola ekirabo kyange kye bakuleetedde; kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, era kubanga bye nnina bimmala. N'amwegayirira, n'akitwala.

12. N'ayogera nti Tukwate ekkubo tugende, nange naakukulembera.

13. N'amugamba nti Mukama wange amanyi ng'abaana tebalina maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange ziyonsa: era bwe balibigoba ennyo ku lunaku olumu, ebisibo byonna birifa.

14. Nkwegayiridde, mukama wange akulembere omuddu we: nange naagenda mpola, ng'okutambula kw'ensolo eziri mu maaso gange era ng'okutambula kw'abaana bwe kuli, ntuuke awali mukama wange mu Seyiri.

15. Esawu n'ayogera nti Ka nkulekere kaakano ku bantu abali nange. N'ayogera nti Si nsonga: ndabe ekisa mu maaso ga mukama wange.

16. Awo Esawu n'addayo ku lunaku olwo ng'agenda e Seyiri.

17. Yakobo n'atambula n'agenda e Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, n'akolera ensolo ze engo; erinnya ly'ekifo kyeriva liyitibwa Sukkosi.

18. Yakobo n'atuuka mirembe mu kibuga kya Sekemu, ekiri mu nsi ya Kanani, bwe yava mu Padanalaamu; n'asiisira mu maaso g'ekibuga.

19. N'agula ekibanja, gye yasimba eweema ye, mu mukono gw'abaana ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu, n'ebitundu by'effeeza kikumi.

20. N'asimbayo ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Ererokeyisiraeri.

About Olubereberye Chapter 33

Read Olubereberye Chapter 33 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Olubereberye
Chapter: 33
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Olubereberye Chapter 33 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Olubereberye Chapter 33?

Olubereberye Chapter 33 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 33 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from Olubereberye

  1. Olubereberye Chapter 9
  2. Olubereberye Chapter 15
  3. Olubereberye Chapter 23
  4. Olubereberye Chapter 12
  5. Olubereberye Chapter 34
  6. Olubereberye Chapter 17
  7. Olubereberye Chapter 47

Related Chapters & Readings

  1. Ebikolwa Chapter 9
  2. Yobu Chapter 25
  3. Okubala Chapter 9
  4. Ezekyeri Chapter 2
  5. Koseya Chapter 1
  6. Zabbuli Chapter 80
  7. Abaebbulaniya Chapter 6
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *