Read Engero Chapter 2 Online
Read Engero Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Engero 2
Essuula 2
1. Mwana wange, bw'onokkirizanga ebigambo byange, N'oterekanga ebiragiro byange ewuwo;
2. N'okutega n'oteganga okutu kwo eri amagezi N'ossangayo omutima gwo eri okutegeera;
3. Weewaawo, bw'onookaabiranga okumanya, N'oliriranga okutegeera.
4. Bw'onooganoonyanga nga ffeeza, N'ogakenneenyanga ng'eby'obugagga ebyakwekebwa;
5. Kale lw'olitegeera okutya Mukama, N'ovumbula okumanya Katonda.
6. Kubanga Mukama awa amagezi; Mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n'okutegeera:
7. Aterekera abagolokofu amagezi amatuufu, Aba ngabo eri abo abatambulira mu butayonoona;
8. Alyoke akuume amakubo ag'omusango, Era awonye okutambula kw'abatukuvu be.
9. Kale lw'olitegeera obutuukirivu n'omusango, N'eby'ensonga, weewaawo buli kkubo eddungi.
10. Kubanga amagezi ganaayingiranga mu mutima gwo, N'okumanya kunaawoomeranga emmeeme yo;
11. Okuteesa kunaakulabiriranga. Okutegeera kunaakukuumanga:
12. Okukuwonyanga mu kkubo ery'obubi, Eri abasajja aboogera eby'ekyejo;
13. Abaleka amakubo ag'obugolokofu, Okutambuliranga mu makubo ag'ekizikiza;
14. Abasanyuka okukola obubi, N'ekyejo eky'omubi kye kibawoomera;
15. Amakubo gaabwe makyamukyamu, N'okugenda kwabwe kwenyoolanyoola:
16. Okukuwonyanga eri omukazi omugenyi, Eri omugenyi anyumiriza n'ebigambo bye;
17. Aleka omukwano ogw'omu buto bwe, Ne yeerabira endagaano ya Katonda we:
18. Kubanga ennyumba ye etwala mu kufa, N'amakubo ge eri abafu:
19. Tewali abagenda gy'ali abadda nate, So tebatuuka mu makubo ag'obulamu:
20. Olyoke otambulirenga mu kkubo ery'abasajja abalungi, N'okwata empenda ez'abatuukirivu.
21. Kubanga abagolokofu banaabeeranga mu nsi, N'abo abatuukirira balisigala omwo.
22. Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, N'abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.
About Engero Chapter 2
Read Engero Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Engero
Chapter: 2
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Engero Chapter 2 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Engero Chapter 2?
Engero Chapter 2 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Engero Chapter 2 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from engero
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 10
- Engero Chapter 8
- Engero Chapter 21
- Engero Chapter 1
- Engero Chapter 7