1 Samwiri Chapter 16

For English

Read 1 Samwiri Chapter 16 Online

Read 1 Samwiri Chapter 16 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Samwiri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

1 Samwiri 16

Essuula 16

1. Awo Mukama n'agamba Samwiri nti Olituusa wa okunakuwalira Sawulo nze nga mmaze okumugaana okuba kabaka wa Isiraeri? jjuza ejjembe lyo amafuta ogende, naakutuma eri Yese Omubesirekemu: kubanga neerabidde kabaka mu batabani be.

2. Samwiri n'ayogera nti Nnyinza ntya okugenda? Sawulo bw'alikiwulira, alinzita. Mukama n'ayogera nti Twala ente enduusi ogende nayo oyogere nti Nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama.

3. N'oyita Yese ajje ku ssaddaaka, nange ndikulaga bw'olikola: era olinfukira amafuta ku oyo gwe ndikwatulira erinnya.

4. Awo Samwiri n'akola ekyo Mukama kye yayogera n'ajja e Besirekemu. Abakadde b'ekibuga ne bajja okumusisinkana nga bakankana ne boogera nti Ozze mirembe?

5. N'ayogera nti Mirembe: nzize okuwaayo ssaddaaka eri Mukama: mwetukuze mujje nange tugende ku ssaddaaka. N'atukuza Yese ne batabani be n'abayita okujja ku ssaddaaka.

6. Awo olwatuuka nga batuuse n'atunuulira Eriyaabu n'ayogera nti Mazima Mukama gw'afukako amafuta ali mu maaso ge.

7. Naye Mukama n'agamba Samwiri nti Totunuulira maaso ge newakubadde embala Ye bw'eri empanvu; kubanga mugaanyi: kubanga Mukama talaba ng'abantu bwe balaba; kubanga abantu batunuulira okufaanana okw'okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.

8. Awo Yese n’alyoka ayita Abinadaabu n'amuyisa mu maaso ga Samwiri. N'ayogera nti So n'oyo Mukama tamulonze.

9. Awo Yese n'ayisaawo Samma. N'ayogera nti So n'oyo Mukama tamulonze.

10. Yese n'ayisa mu maaso ga Samwiri musanvu ku batabani be. Samwiri n'agamba Yese nti Mukama talonze abo.

11. Samwiri n'agamba Yese nti Abaana bo bonna bali wano? N'ayogera nti Ekyasigaddeyo omuto, era, laba, alunda endiga. Samwiri n'agamba Yese nti Tuma bamukime: kubanga tetuutuule okutuusa lw'anajja eno.

12. N'atuma n'amuyingiza. Era yali mumyufu n'amaaso ge nga malungi era eyeegombebwa okutunuulirwa. Mukama n'ayogera nti Golokoka omufukeko amafuta: kubanga ye wuuyo.

13. Awo Samwiri n'alyoka addira ejjembe ery'amafuta, n'amufukako amafuta wakati mu baganda be: omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Dawudi n'amaanyi okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo. Awo Samwiri n'agolokoka n'agenda e Laama.

14. Awo omwoyo gwa Mukama gwali guvudde ku Sawulo, n'omuzimu omubi ogwava eri Mukama ne gumunakuwaza.

15. Awo abaddu ba Sawulo ne bamugamba nti Laba nno; omuzimu omubi oguva eri Katonda gukunakuwaza.

16. Mukama waffe alagire kaakano abaddu bo, abali mu maaso go, okunoonya omusajja omukubi w'ennanga ow’amagezi: awo olunaatunkanga omuzimu omubi oguva eri Katonda bwe gunaabanga ku ggwe, kale anaakubanga ennanga n'engalo ze naawe oliwona.

17. Sawulo n'agamba abaddu be nti Mundabire nno omusajja ayinza okukuba obulungi mumundeetere.

18. Awo omu ku balenzi n'addamu n'ayogera nti Laba, nalaba mutabani wa Yese Omubesirekemu, omukubi w'ennanga ow'amagezi, era omusajja ow'amaanyi omuzira, era omulwanyi, era omutegeevu okwogera, era omuntu omulungi, ne Mukama ali naye.

19. Sawulo kyeyava atumira Yese ababaka n'ayogera nti Mpeereza Dawudi mutabani wo ali n'endiga.

20. Yese n'addira endogoyi n'agitikka emigaati n'ekita eky'omwenge n'omwana gw'embuzi, n'abiweereza Sawulo mu mukono gwa Dawudi mutabani we.

21. Awo Dawudi n’ajja eri Sawulo n'ayimirira mu maaso ge: n'amwagala nnyo; n'atwalanga ebyokulwanyisa bye:

22. Sawulo n'atumira Yese ng'ayogera nti Nkwegayiridde Dawudi ayimirirenga mu maaso gange; kubanga aganze mu maaso gange.

23. Awo olwatuukanga omuzimu omubi ogwava eri Katonda bwe gwabanga ku Sawulo, Dawudi n'addiranga ennanga ye n'akuba n’engalo ze: awo Sawulo n'aweeranga n'awona, omuzimu omubi ne gumuvaako.

About 1 Samwiri Chapter 16

Read 1 Samwiri Chapter 16 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 1 Samwiri
Chapter: 16
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Samwiri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 1 Samwiri Chapter 16 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 1 Samwiri Chapter 16?

1 Samwiri Chapter 16 is part of the Book of 1 Samwiri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 1 Samwiri Chapter 16 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 1-samwiri

  1. 1 Samwiri Chapter 15
  2. 1 Samwiri Chapter 6
  3. 1 Samwiri Chapter 10
  4. 1 Samwiri Chapter 9
  5. 1 Samwiri Chapter 27
  6. 1 Samwiri Chapter 25
  7. 1 Samwiri Chapter 2

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Okuva Chapter 4
  2. Zabbuli Chapter 57
  3. Zabbuli Chapter 148
  4. Yeremiya Chapter 46
  5. Okuva Chapter 32
  6. 2 Bassekabaka Chapter 1
  7. Isaaya Chapter 27

Related Chapters & Readings

  1. 1 Samwiri Chapter 25
  2. Zabbuli Chapter 51
  3. 1 Timoseewo Chapter 5
  4. Isaaya Chapter 7
  5. Ekyabalamuzi Chapter 16
  6. Ezekyeri Chapter 46
  7. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 4
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *