Read 1 Abasessaloniika Chapter 5 Online
Read 1 Abasessaloniika Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Abasessaloniika in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Abasessaloniika and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
1 Abasessaloniika 5
Essuula 5
1. Naye eby'entuuko n'ebiro, ab'oluganda, temwetaaga kubiwandiikirwa.
2. Kubanga mwekka mumanyidde ddala ng'olunaku lwa Mukama waffe lujja ng'omubbi ekiro, bwe lutyo.
3. Bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi, okuzikiriza okw'amangu ne kulyoka kubajjira, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n'akatono.
4. Naye mmwe, ab'oluganda, temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng'omubbi:
5. kubanga mmwe mwenna muli baana ba kutangaala, era muli baana ba musana: tetuli ba kiro newakubadde ab'ekizikiza;
6. kale nno tulemenga okwebaka ng'abalala, naye tutunulenga tulemenga okutamiira.
7. Kubanga abeebaka beebaka kiro; n'abatamiira batamiira kiro.
8. Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira, nga twambadde eky'omu kifuba eky'okukkiriza n'okwagala, n'enkuufiira, essuubi ly'obulokozi.
9. Kubanga ffe Katonda teyatuteekerawo busungu, wabula okuweebwa obulokozi ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo,
10. eyatufiirira ffe, bwe tutunula oba bwe twebaka tulyoke tubeere abalamu wamu naye.
11. Kale musanyusaganenga, era muzimbaganenga buli muntu munne, era nga bwe mukola.
12. Naye tubeegayirira, ab'oluganda, okumanyanga abafuba okukola emirimu mu mmwe, ababafuga mu Mukama waffe, abababuulirira;
13. n'okubassaagamu ekitiibwa ennyo nnyini mu kwagala olw'omulimu gwabwe. Mubeerenga n'emirembe mu mmwe.
14. Era tubabuulirira, ab'oluganda, munenyenga abatatambula bulungi, mugumyenga abalina omwoyo omunafu, muyambenga abatalina maanyi, mugumiikirizenga eri bonna.
15. Mulabe omuntu yenna alemenga okuwalana ekibi olw'ekibi; naye ennaku zonna mugobererenga ekirungi mwekka na mwekka n'eri bonna.
16. Musanyukenga ennaku zonna;
17. musabenga obutayosa;
18. mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli.
19. Temuzikizanga Mwoyo;
20. temunyoomanga bunnabbi;
21. mugezengako ku bigambo byonna; munywerezenga ddala ekirungi;
22. mwewalenga buli ngeri ya bubi.
23. Era Katonda ow'emirembe yennyini abatukulize ddala; era omwoyo gwammwe n'obulamu n'omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
24. Abayita mwesigwa, n'okukola ye alikola.
25. Ab'oluganda, mutusabirenga.
26. Mulamuse ab'oluganda bonna n'okunywegera okutukuvu.
27. Mbalayiza Mukama waffe okusomera ebbaluwa eno ab'oluganda bonna.
28. Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu nammwe.
About 1 Abasessaloniika Chapter 5
Read 1 Abasessaloniika Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Abasessaloniika in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 1 Abasessaloniika
Chapter: 5
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Abasessaloniika. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 1 Abasessaloniika Chapter 5 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 1 Abasessaloniika Chapter 5?
1 Abasessaloniika Chapter 5 is part of the Book of 1 Abasessaloniika in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 1 Abasessaloniika Chapter 5 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 1 Abasessaloniika
- 1 Abasessaloniika Chapter 4
- 1 Abasessaloniika Chapter 3
- 1 Abasessaloniika Chapter 2
- 1 Abasessaloniika Chapter 1
Explore More from Endagaano Empya
- Abaefeeso Chapter 4
- 2 Abakkolinso Chapter 6
- 1 Timoseewo Chapter 6
- Ebikolwa Chapter 5
- Lukka Chapter 20
- 2 Peetero Chapter 3
- Abaefeeso Chapter 2