2 Ebyomumirembe Chapter 4

For English

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 4 Online

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Ebyomumirembe and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Ebyomumirembe 4

Essuula 4

1. Era yakola n'ekyoto eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugazi bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugulumivu bwakyo emikono kkumi.

2. Era n'akola n'ennyanja ensaanuuse ey'emikono kkumi okuva ku mugo okutuuka ku mugo, nneekulungirivu n'obugulumivu bwali emikono etaano; n'omugwa ogw'emikono amakumi asatu ne gugyetooloola.

3. Era wansi waayo waaliwo ekifaananyi ky'ente, ekigyetooloolera emikono kkumi, nga kigyetooloola ennyanja enjuyi zonna. Ente zaali embu bbiri, ezaasaanuusibwa yo bwe yasaanuusibwa.

4. Yatuula ku nte kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiika obwa kkono, n'essatu nga zitunuulira ebugwanjuba, n'essatu nga zitunuulira obukiika obwa ddyo, n'essatu nga zitunuulira ebuvanjuba: n'ennyanja ng'eteekeddwa ku zo waggulu, amatako gaazo zonna nga gali munda.

5. N'obugazi bwayo luta; n'omugo gwayo gwakolebwa ng'omugo gw'ekibya, ng'ekimuli ky'amalanga: ensuwa enkumi ssatu ezaayingiramu ne zigyamu.

6. Era n'akola eby'okwolezaamu kkumi, n'ateeka ebitaano ku mukono ogwa ddyo, n'ebitaano ku gwa kkono, okubyolezangamu; ebintu eby'ekiweebwayo ekyokebwa baabyolezanga omwo, naye ennyanja yali ya bakabona okunaabirangamu.

7. N'akola ebikondo kkumi bya zaabu ng'ekiragiro kyabyo bwe kyali; n'abiteeka mu yeekaalu, ku mukono ogwa ddyo bitaano, ne ku gwa kkono bitaano.

8. Era n'akola n'emmeeza kkumi, n'aziteeka mu yeekaalu, ku luuyi olwa ddyo ttaano, ne ku lwa kkono ttaano. N'akola ebibya kikumi bya zaabu.

9. Era nate n'akola oluggya lwa bakabona, n'oluggya olunene, n'enzigi z'oluggya, enzigi zaazo n'azibikkako ebikomo.

10. N'ateeka ennyanja ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo ebuvanjuba, okutunuulira obukiika obwa ddyo.

11. Kulamu n'akola entamu n'ebisena n'ebibya. Awo Kulamu n'amala okukola omulimu gwe yakolera kabaka Sulemaani mu nnyumba ya Katonda:

12. empagi zombi n'embuto, n'emitwe gyombi egyali ku ntikko z'empagi; n'ebitimba byombi eby'okubikka ku bikompe byombi eby'emitwe egyali ku ntikko z'empagi;

13. n'amakomamawanga ebikumi bina ag'oku bitimba byombi; embu bbiri ez'amakomamawanga za ku buli kitimba, okubikka ku bikompe byombi eby'emitwe egyali ku mpagi.

14. Era n'akola n'entebe, n'ebyolezebwamu n'abikola ku ntebe:

15. ennyanja emu n'ente kkumi na bbiri wansi waayo.

16. Era n'entamu n'ebisena n'amakato agakwasa ennyama n'ebintu byonna ebyako Kulamu kitaawe n'abikolera kabaka Sulemaani olw'ennyumba ya Mukama, bya bikomo bizigule.

17. Mu lusenyi lwa Yoludaani kabaka gye yabisaanuusiza, awali ettaka ery'ebbumba wakati wa Sukkosi ne Zereda.

18. Bw'atyo Sulemaani bwe yakola ebintu byonna bingi nnyo nnyini: kubanga ebikomo obuzito bwabyo tebwategeerekeka.

19. Sulemaani n'akola ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya Katonda, era n'ekyoto ekya zaabu, n'emmeeza okwabanga emigaati egy'okulaga;

20. n'ebikondo n'ettabaaza zaabyo, zaakirenga mu maaso g'awayimibwa okwogera ng'ekiragiro bwe kyali, bya zaabu nnungi nnongoofu;

21. n'ebimuli ne ttabaaza ne makaasi, bya zaabu, zaabu ntuukirivu;

22. n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'ebijiiko n'emmumbiro, bya zaabu nnongoofu: n'omulyango gw'ennyumba, enzigi zaayo ez'omunda ez'omu kifo ekitukuvu ennyo n'enzigi z'ennyumba, ye yeekaalu, zaali za zaabu.

About 2 Ebyomumirembe Chapter 4

Read 2 Ebyomumirembe Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Ebyomumirembe
Chapter: 4
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Ebyomumirembe. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Ebyomumirembe Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Ebyomumirembe Chapter 4?

2 Ebyomumirembe Chapter 4 is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Ebyomumirembe Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2 Ebyomumirembe

  1. 2 Ebyomumirembe Chapter 34
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 19
  3. 2 Ebyomumirembe Chapter 9
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 10
  5. 2 Ebyomumirembe Chapter 15
  6. 2 Ebyomumirembe Chapter 6
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 22

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Zekkaliya Chapter 8
  2. Danyeri Chapter 2
  3. 2 Samwiri Chapter 8
  4. Engero Chapter 10
  5. Okuva Chapter 30
  6. Ezekyeri Chapter 19
  7. Zabbuli Chapter 39

Related Chapters & Readings

  1. Abaggalatiya Chapter 5
  2. 1 Samwiri Chapter 21
  3. Yeremiya Chapter 47
  4. Yobu Chapter 14
  5. Okubikkulirwa Chapter 1
  6. Isaaya Chapter 5
  7. Zabbuli Chapter 48
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *