Yeremiya Chapter 27

For English

Read Yeremiya Chapter 27 Online

Read Yeremiya Chapter 27 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yeremiya 27

Essuula 27

1. Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyajje atanule okufuga, ekigambo kino ne kijja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti

2. Bw'ati Mukama bw'aŋŋamba nti Weekolere ebisiba n'emiti egy'ekikoligo obiteeke mu bulago bwo;

3. obiweereze kabaka wa Edomu ne kabaka wa Mowaabu ne kabaka w'abaana ba Amoni ne kabaka w'e Ttuulo ne kabaka w'e Sidoni mu mukono gw'ababaka abajja e Yerusaalemi eri Zeddekiya kabaka wa Yuda;

4. obalagire ebigambo eby'okutwalira bakama baabwe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isireari nti Bwe muti bwe muligamba bakama bammwe nti

5. Nze nakola ensi, omuntu n'ensolo ebiri ku nsi, n'obuyinza bwange obungi n'omukono gwange ogugoloddwa; era nze ngiwa gwe nsiima.

6. Era kaakano mpadde ensi zino zonna mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni omuddu wange; era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko okumuweerezanga.

7. N'amawanga gonna galimuweereza ye ne mutabani we n'omwana wa mutabani we okutuusa ebiro eby'ensi ye lwe birituuka: kale amawanga mangi ne bakabaka abakulu ne balyoka bamufuula omuddu.

8. Awo olulituuka eggwanga n'obwakabaka abatalikkiriza kuweerezanga Nebukadduneeza oyo kabaka w'e Babulooni, era abatalikkiriza kuteeka nsingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni, eggwanga eryo ndiribonereza, bw'ayogera Mukama, n'ekitala n'enjala ne kawumpuli okutuusa lwe ndimala okubazikiriza n'omukono gwe.

9. Naye mmwe temuwuliranga bannabbi bammwe newakubadde abafumu bammwe newakubadde ebirooto byammwe newakubadde abalogo bammwe newakubadde abasamize bammwe ababagamba nti Temuliweereza kabaka w'e Babulooni:

10. kubanga babalagula kya bulimba okubatwala ewala n'ensi yammwe; era ndyoke mbagobemu ne muzikirira.

11. Naye eggwanga eririteeka ensingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni ne limuweereza, eggwanga eryo ndirireka libeere mu nsi yaabwe bo, bw'ayogera Mukama; era baligirima ne batuula omwo.

12. Awo ne ŋŋamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali nga njogera nti Muteeke ensingo zammwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni, mumuweereze ye n'abantu be mubeere abalamu.

13. Mwagalira ki okufa, ggwe n'abantu bo, n'ekitala n'enjala ne kawumpuli, nga Mukama bw'ayogedde: eby'eggwanga eritalikkiriza kuweereza kabaka w'e Babulooni?

14. So temuwuliranga bigambo bya bannabbi aboogera nammwe nti Temuliweereza kabaka w’e Babulooni: kubanga babalagula kya bulimba.

15. Kubanga sibatumanga, bw'ayogera Mukama, naye balagulira mu linnya lyange obulimba; ndyoke mbagobemu ne muzikirira, mmwe ne bannabbi ababalagula.

16. Era ne ŋŋamba ne bakabona n'abantu bano bonna nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temuwuliranga bigambo bya bannabbi bammwe ababalagula nga boogera nti Laba, ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama binaatera okukomezebwawo nate okuva mu Babulooni: kubanga babalagula kya bulimba.

17. Temubawuliranga; muweereze kabaka w’e Babulooni mubeere abalamu: ekibuga kino kiki ekinaaba kikifuusa amatongo.

18. Naye oba nga bannabbi, n'ekigambo kya Mukama oba nga kiri nabo, beegayirire nno Mukama w'eggye ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme okugenda e Babulooni.

19. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mu kama w'eggye eby'empagi n'eby'ennyanja n'eby'entebe n'eby'ebintu ebifisseewo ebisigadde mu kibuga kino,

20. Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni by'ataatwala bwe yatwala nga musibe Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'amuggya e Yerusaalemi n'amutwala e Babulooni n'abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi

21. weewaawo, bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, eby'ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti

22. Biritwalibwa e Babulooni, era biribeera eyo okutuusa ku lunaku lwe ndibajjira bw'ayogera Mukama; kale ne ndyoka mbaggyayo ne mbikomyawo mu kifo kino.

About Yeremiya Chapter 27

Read Yeremiya Chapter 27 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yeremiya
Chapter: 27
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yeremiya Chapter 27 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yeremiya Chapter 27?

Yeremiya Chapter 27 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 27 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Yeremiya

  1. Yeremiya Chapter 35
  2. Yeremiya Chapter 33
  3. Yeremiya Chapter 31
  4. Yeremiya Chapter 49
  5. Yeremiya Chapter 39
  6. Yeremiya Chapter 20
  7. Yeremiya Chapter 36

Related Chapters & Readings

  1. 1 Abakkolinso Chapter 1
  2. 1 Ebyomumirembe Chapter 28
  3. Ezekyeri Chapter 21
  4. 1 Samwiri Chapter 26
  5. Zekkaliya Chapter 13
  6. Yobu Chapter 5
  7. 2 Samwiri Chapter 9
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *