Read 2 Abakkolinso Chapter 10 Online
Read 2 Abakkolinso Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abakkolinso in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Abakkolinso and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
2 Abakkolinso 10
Essuula 10
1. Naye nze kennyini Pawulo mbeegayirira olw'obukkakkamu n'obuwombeefu bwa Kristo, nze gwe mutoowaza bwe mba ssiriiwo mpitibwa muzira;
2. kale mbeegayirira bwegayirizi, lwe ndibaawo nneme okubalaga obuzira obwo bwe ndowooza okuba nabwo eri abalala abalowooza nga ffe tutambuIa okugobereranga omubiri.
3. Kuba newakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana kugobereranga mubiri
4. (kubanga ebyokulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye bya maanyi eri Katonda olw'okumenya ebigo);
5. nga tumenya empaka na buli kintu ekigulumivu ekikulumbazibwa okulwana n'okutegeera kwa Katonda, era nga tujeemula buli kirowoozo okuwulira Kristo;
6. era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku butagonda bwonna, okugonda kwammwe bwe kulituukirira.
7. Mutunuulire ebintu nga bwe biri. Omuntu yenna bwe yeewulira muli nga wa Kristo yeerowooze kino nate yekka nti nga ye bw'ali owa Kristo, era naffe bwe tutyo.
8. Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw'obuyinza bwaffe (Mukama waffe bwe yatuwa olw'okubazimba, so si lwa kubasuula), ssirikwatibwa nsonyi:
9. nneme okufaanana ng'abatiisa n'ebbaluwa zange.
10. Kubanga boogera nti Ebbaluwa ze nzibu, za maanyi; naye bw'abaawo omubiri gwe munafu, n'okwogera kwe si kintu.
11. Ali bw'atyo alowooze kino nti nga bwe tuli mu bigambo mu bbaluwa nga tetuliiyo, era bwe tutyo bwe tuli mu bikolwa nga tuli eyo.
12. Kubanga tetwaŋŋanga kwerowooza nga tuli ku muwendo gw'abalala ku bo abeetendereza bokka newakubadde okwegeraageranya nabo: naye bo bokka nga beegeza bokka na bokka, era nga beegeraageranya bokka na bokka, tebalina magezi.
13. Naffe ffe tetulyenyumiriza okusinga ekigera kyaffe, wabula mu kigera eky'ensalo Katonda gye yatugabira okuba ekigera, era n'okutuuka ne gye muli:
14. Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera ng'abatatuuka gye muli: kubanga era twajja n'okutuuka gye muli mu njiri ya Kristo:
15. nga tetwenyumiriza kusinga kigera kyaffe mu mirimu egy'abalala: naye nga tusuubira, okukkiriza kwammwe bwe kukula okugulumizibwa mu mmwe ng'ensalo yaffe bw'eri okusukkirira,
16. era n'okubuulira enjiri mu bifo ebiri ewala okusinga mmwe, era obuteenyumiriza mu nsalo ey'abalala olw'ebyeteeseteese.
17. Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.
18. Kubanga eyeetendereza yekka si ye asiimibwa, wabula Mukama waffe gw'atendereza.
About 2 Abakkolinso Chapter 10
Read 2 Abakkolinso Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abakkolinso in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 2 Abakkolinso
Chapter: 10
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Abakkolinso. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 2 Abakkolinso Chapter 10 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 2 Abakkolinso Chapter 10?
2 Abakkolinso Chapter 10 is part of the Book of 2 Abakkolinso in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 2 Abakkolinso Chapter 10 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 2-abakkolinso
- 2 Abakkolinso Chapter 6
- 2 Abakkolinso Chapter 8
- 2 Abakkolinso Chapter 1
- 2 Abakkolinso Chapter 11
- 2 Abakkolinso Chapter 12
- 2 Abakkolinso Chapter 9
- 2 Abakkolinso Chapter 7
Explore More from Endagaano Empya
- 2 Timoseewo Chapter 1
- Abaggalatiya Chapter 4
- 1 Yokaana Chapter 2
- Yokaana Chapter 13
- 1 Abakkolinso Chapter 14
- 1 Timoseewo Chapter 1
- 2 Abakkolinso Chapter 4