Engero Chapter 27

For English

Read Engero Chapter 27 Online

Read Engero Chapter 27 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Engero 27

Essuula 27

1. Teweenyumirizanga bya nkya; Kubanga tomanyi bwe binaaba olunaku bye luyinza okuzaala.

2. Omundi akutenderezenga, so si kamwa ko ggwe; Omugenyi, so si mimwa gyo ggwe.

3. Ejjinja lizitowa, n'omusenyu muzito; Naye okweraliikirira kw'omusirusiru kubisinga byombi obuzito.

4. Obusungu bukambwe, n'ekiruyi mukoka; Naye ani ayinza okuyimirira awali obuggya?

5. Okunenya mu lwatu Kusinga obulungi okwagala okukisibwa.

6. Ebiwundu eby'omukwano byesigwa: Naye okunywegera kw'omulabe kuba kungi nnyo nnyini.

7. Emmeeme ekkuse etamwa ebisenge by'enjuki: Naye emmeeme erumiddwa enjala buli kintu ekikaawa ekiyita kiwoomerevu.

8. Ng'ennyonyi ewaba okuva mu kisu kyayo, Bw'atyo bw'abeera omuntu awaba okuva mu kifo kye.

9. Amafuta ag'omugavu n'eby'akaloosa bisanyusa omutima: Obuwoomerevu bw'omukwano gw'omuntu bwe busanyusa bwe butyo obuva mu kuteesa okw'omu mwoyo gwe.

10. Mukwano gwo ggwe ne mukwano gwa kitaawo tobaabuliranga; So togendanga mu nnyumba ya muganda wo ku lunaku kw'olabira obuyinike: Muliraanwa wo akuli okumpi akira ow'oluganda ali ewala.

11. Mwana wange, beeranga n'amagezi osanyusenga omutima gwange. Ndyokenga nziremu oyo anvuma.

12. Omuntu omutegeevu alaba obubi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayitawo buyisi ne bafiirwa.

13. Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era mubowenga oyo eyeeyimirira omukazi omugenyi.

14. Eyeebaza mukwano gwe n'eddoboozi eddene, ng'agolokoka enkya mu makya, Kinaayitibwanga kikolimo gy'ali.

15. Okutonnya olutata, obudde nga bwa nkuba nnyingi, N'omukazi omuyombi bw'afaanana:

16. Ayagala okumuziyiza aziyiza empewo, N'omukono gwe ogwa ddyo gulwana n'amafuta.

17. Ekyuma kiwagala kyuma; Bw'atyo omuntu awagala amaaso ga mukwano gwe.

18. Buli alima omutiini anaalyanga ku bibala byagwo; N'oyo aweereza mukama we anassibwangamu ekitiibwa.

19. Ng'amaaso bwe goolekera amaaso mu mazzi, Bwe gutyo omutima gw'omuntu bwe gwolekera omuntu.

20. Amagombe n'okuzikirira tebikkutanga ennaku zonna; N'amaaso g'abantu tegakkutanga ennaku zonna.

21. Entamu erongoosa ya ffeeza, n'ekikoomi kya zaabu, N'omuntu akemebwa lwa kumutendereza.

22. Ne bw'osekula omusirusiru mu kinu n'omusekuzo mu kasooli omusekule, Era naye obusirusiru bwe tebuumuvengako.

23. Obeeranga munyiikivu okumanya embuzi zo bwe ziri, Okeberanga nnyo ente zo:

24. Kubanga obugagga si bwa lubeerera; Era engule ebeerera awo okutuusa emirembe gyonna?

25. Omuddo omukalu gutwalibwa n'essubi eggonvu lirabika, N'emiddo egy'oku nsozi bagiyingiza.

26. Abaana b'endiga baba ba kukwambaza, N'embuzi gwe muwendo gw'ennimiro:

27. Era walibaawo amata ag'embuzi; aganaamalanga okukuliisa n'okuliisa ab'omu nnyumba yo, N'ebyokulya eby'abawala bo.

About Engero Chapter 27

Read Engero Chapter 27 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Engero
Chapter: 27
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Engero Chapter 27 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Engero Chapter 27?

Engero Chapter 27 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Engero Chapter 27 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 25
  3. Engero Chapter 19
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from engero

  1. Engero Chapter 5
  2. Engero Chapter 24
  3. Engero Chapter 30
  4. Engero Chapter 31
  5. Engero Chapter 15
  6. Engero Chapter 10
  7. Engero Chapter 26

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 125
  2. 1 Abakkolinso Chapter 8
  3. 2 Ebyomumirembe Chapter 25
  4. Yobu Chapter 18
  5. Olubereberye Chapter 35
  6. 1 Bassekabaka Chapter 19
  7. 1 Samwiri Chapter 7
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *