Read Yokaana Chapter 16 Online
Read Yokaana Chapter 16 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yokaana in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yokaana and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yokaana 16
Essuula 16
1. Ebyo, mbibabuulidde muleme okusittazibwanga.
2. Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro; weewaawo, ekiseera kijja, buli anaabattanga anaalowoozanga ng'aweerezza Katonda.
3. N'ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamutegeera newakubadde nze.
4. Naye ebyo mbibabuulidde, era ekiseera kyabyo bwe kituukanga mujjukire nga nze nnababuulira. N'ebyo okuva ku lubereberye saabibabuulira, kubanga nnali wamu nammwe.
5. Naye kaakano ŋŋenda eri oli eyantuma; era tewali ku mmwe ambuuza nti Ogenda wa?
6. Naye kubanga mbabuulidde ebyo, emitima gyammwe gijjudde ennaku.
7. Naye nze mbagamba amazima; kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, Omubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli.
8. Ye bw'alijja, alirumiriza ensi olw'ekibi, n'olw'obutuukirivu, n'olw'omusango;
9. olw'ekibi, kubanga tebanzikiriza nze;
10. olw'obutuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, so nammwe temukyandaba nate;
11. olw'omusango, kubanga omukulu w'ensi eno asaliddwa omusango.
12. Nkyalina bingi okubabuulira, naye temuyinza kubigumiikiriza kaakano.
13. Naye bw'alijja oyo Omwoyo ow'amazima, anaabaluŋŋamyanga mu mazima gonna: kubanga taayogerenga ku bubwe yekka; naye byonna by'anaawuliranga by'anaayogeranga: ye anaababuuliranga ebigenda okujja.
14. Oyo anangulumizanga nze: kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe.
15. Byonna byonna Kitange by'ali nabyo bye byange: kyenvudde ŋŋamba nti Anaatoolanga ku byange n'abuulira mmwe.
16. Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba nate; era nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba.
17. Abayigirizwa be abamu kyebaava boogera bokka na bokka nti Kiki kino ky'atugamba nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba; nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba; era nti Kubanga ŋŋenda eri Kitange?
18. Kyebaava bagamba nti Kiki kino ky'agamba nti Ekiseera kitono? Tetumanyi ky'agamba.
19. Yesu n'ategeera nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti Mwebuuzaganya mwekka olw'ekyo kye mbagambye nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba, era nate walibaawo ekiseera kitono ne mundaba?
20. Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka: mmwe mulinakuwala, naye ennaku zammwe zirifuuka ssanyu.
21. Omukazi bw'azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw'amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw'essanyu ery'okuzaala omuntu mu nsi.
22. Kale nammwe kaakano munakuwala: naye ndibalaba nate, n'emitima gyammw'e girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewali muntu alibaggyako.
23. Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange.
24. Okutuusa leero temusabanga kigambo mu linnya lyange: musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.
25. Ebyo mbibabuuliridde mu ngero: naye obudde bugenda okujja, mwe siryogerera nammwe mu ngero, naye ndibibabuulira ebya Kitange mu lwatu.
26. Ku lunaku luli mulisaba mu linnya lyange: so sibagamba nti ndibasabira eri Kitange;
27. kubanga Kitange yennyini abaagala, kubanga munjagadde nze, mukkirizza nga nnava eri Kitange.
28. Nnava eri Kitange, ne njija mu nsi: nate ensi ngireka, ŋŋenda eri Kitange.
29. Abayigirizwa be ne bamugamba nti Laba, kaakano oyogera lwatu, toyogera lugero.
30. Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, so teweetaaga muntu yenna okukubuuza; kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.
31. Yesu n'abaddamu nti Kaakano mukkirizza?
32. Laba, ekiseera kijja, era kituuse, mwe munaasaasaanira, buli muntu mu bibye, munandeka nze nzekka: so si nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.
33. Ebyo mbibabuulidde, mube n'emirembe mu nze. Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi.
About Yokaana Chapter 16
Read Yokaana Chapter 16 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yokaana in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yokaana
Chapter: 16
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yokaana. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yokaana Chapter 16 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yokaana Chapter 16?
Yokaana Chapter 16 is part of the Book of Yokaana in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yokaana Chapter 16 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 11
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 2
- Yakobo Chapter 5
Explore More from yokaana
- Yokaana Chapter 21
- Yokaana Chapter 10
- Yokaana Chapter 13
- Yokaana Chapter 8
- Yokaana Chapter 2
- Yokaana Chapter 14
- Yokaana Chapter 1