Okubala Chapter 31

For English

Read Okubala Chapter 31 Online

Read Okubala Chapter 31 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubala in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okubala and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Okubala 31

Essuula 31

1. Mukama n'agamba Musa nti

2. Woolera eggwanga ly'abaana ba Isiraeri ku Bamidiyaani; oluvannyuma olyoke okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo.

3. Musa n'agamba abantu nti Muggye mu mmwe abasajja mubawe eby'okulwanyisa olw'entalo, batabaale Midiyaani, okuwoolera eggwanga lya Mukama ku Midiyaani.

4. Munaggya ku buli kika lukumi okubunya ebika byonna ebya Isiraeri, ne mubatuma okutabaala.

5. Awo ne baleeta ku nkumi za Isiraeri, ku buli kika lukumi, kakumi mu enkumi bbiri nga balina eby'okulwanyisa olw'entalo.

6. Musa n'abasindika okutabaala, ku buli kika lukumi, bo ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, okutabaala, awamu n'ebintu eby'omu watukuvu n'amakondeere agalawa mu mukono gwe.

7. Ne balwana ne Midiyaani, nga Mukama bwe yalagira Musa; ne batta buli musajja.

8. Ne batta bakabaka ba Midiyaani wamu n'abalala abattibwa; Evi ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuula, ne Leeba, bakabaka ba Midiyaani abataano: ne Balamu mutabani wa Byoli baamutta n'ekitala.

9. Abaana ba Isiraeri ne banyaga abakazi ba Midiyaani n'abaana baabwe abato; n'ebisibo byabwe byonna, n'embuzi zaabwe zonna, n'ebintu byabwe byonna ne babitwala okuba omunyago.

10. N'ebibuga byabwe byonna mu bifo mwe baasulanga, n'ensiisira zaabwe zonna, ne babyokya omuliro.

11. Ne batwala omunyago gwonna ne bye baafuna byonna, oba nga bantu oba nga nsolo.

12. Ne baleeta omwandu ne bye baafuna n'omunyago eri Musa n'eri Eriyazaali kabona n'eri ekibiina ky'abaana ba Isiraeri, eri olusiisira olwali mu nsenyi za Mowaabu, eziri ku Yoludaani e Yeriko.

13. Awo Musa ne Eriyazaali kabona n'abakulu bonna ab'ekibiina ne bafuluma okubasisinkana ebweru w'olusiisira.

14. Musa n'asunguwalira abaami b'eggye, abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi, abaava mu kuweereza mu lutabaalo.

15. Musa n'abagamba nti Abakazi bonna mubawonyezza okufa?

16. Laba, bano be baasobesa abaana ba Isiraeri ku Mukama, olw'okuteesa kwa Balamu, mu bigambo bya Peoli, bw'atyo kawumpuli n'aba mu kibiina kya Mukama.

17. Kale nno kaakano mutte buli musajja ku baana abato, era mutte buli mukazi eyamanya omusajja ng'asula naye.

18. Naye abaana abato ab'obuwala, abatamanyanga musajja nga basula naye, mubeewonyeze obutafa.

19. Era musiisire ebweru w'olusiisira ennaku musanvu: buli eyatta omuntu yenna, era buli eyakoma ku muntu yenna eyattibwa, mwerongoose ku lunaku olw'okusatu ne ku lunaku olw'omusanvu, mmwe n'omwandu gwammwe.

20. Na buli kyambalo na buli kintu eky'eddiba, n'omulimu gwonna ogw'ebikuzzi by'embuzi, n'ebintu byonna eby'emiti, muneerongoosa.

21. Eriyazaali kabona n'agamba abasajja abatabaazi abaatabaala nti Lino lye tteeka ery'ekiragiro Mukama ky'alagidde Musa:

22. naye zaabu ne ffeeza, ekikomo, ekyuma, ebbaati, n'erisasi,

23. buli kintu ekiyinza omuliro, munaakiyisa mu muliro, ne kiba kirongoofu; naye kinaalongoosebwa n'amazzi ag'okwawula: n'ebyo byonna ebitayinza muliro munaabiyisa mu mazzi.

24. Era mulyoza engoye zammwe ku lunaku olw'omusanvu, ne muba balongoofu, oluvannyuma ne mulyoka muyingira mu lusiisira.

25. Mukama n'agamba Musa nti

26. Bala omuwendo gw'omunyago ogwanyagibwa, abantu era n'ensolo, ggwe ne Eriyazaali kabona n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'ekibiina:

27. mwawulemu omunyago ebitundu bibiri; eky'abasajja abamanyi entalo abaatabaala, n'eky'ekibiina kyonna:

28. omusolooleze Mukama omusolo ku basajja abatabaazi abaatabaala: buli bitaano obulamu bumu, ku bantu ne ku nte ne ku ndogoyi ne ku mbuzi:

29. guggye ku kitundu kyabwe, oguwe Eriyazaali kabona, okuba ekiweebwayo ekisitulibwa ekya Mukama.

30. Ne ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri onoggyako obumu obuggibwa ku buli ataano, ku bantu, ku nte, ku ndogoyi, ne ku mbuzi, ku nsolo zonna, n'obuwa Abaleevi, abakuuma ennyumba ya Mukama gye baateresebwa.

31. Musa ne Eriyazaali kabona ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.

32. N'eby'okugereka ebyafikkawo ku munyago abasajja abatabaazi gwe baanyaga, byali endiga obusiriivu mukaaga mu obukumi musanvu mu enkumi ttaano,

33. n'ente obukumi musanvu mu enkumi bbiri,

34. n'endogoyi obukumi mukaaga mu lukumi,

35. n'abantu obukumi busatu mu enkumi bbiri okugatta bonna, ku bakazi abatamanyanga musajja nga basula naye.

36. N'ekitundu ekyali eky'abo abaatabaala, omuwendo gwakyo kyali endiga obusiriivu busatu mu obukumi busatu mu kasanvu mu bitaano:

37. n'omusolo gwa Mukama ogw'oku ndiga gwali lukaaga mu nsanvu mu ttaano.

38. N'ente zaali obukumi busatu mu kakaaga; ku ezo omusolo gwa Mukama gwali nsanvu mu bbiri.

39. N'endogoyi zaali obukumi busatu mu bitaano; ku ezo omusolo gwa Mukama gwali nkaaga mu emu.

40. N'abantu baali kakumi mu kakaaga; ku abo omusolo gwa Mukama gwali abantu asatu mu babiri.

41. Musa n'awa Eriyazaali kabona omusolo, kye kyali ekiweebwayo ekisitulibwa ekya Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.

42. Musa n'aggya ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri, Musa kye yayawula ng'akiggya ku basajja abaatabaala,

43. (era ekitundu eky'ekibiina kyali endiga obusiriivu busatu mu obukumi busatu mu kasanvu mu bitaano,

44. n'ente obukumi busatu mu kakaaga,

45. n'endogoyi obukumi busatu mu bitaano,

46. n'abantu kakumi mu kakaaga;)

47. ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri Musa n'aggya obulamu bumu obuggibwa ku buli ataano, ku bantu era ne ku nsolo, n'abiwa Abaleevi abaakuumanga ennyumba ya Mukama gye baateresebwa; nga Mukama bwe yalagira Musa.

48. N'abaami abaatwala enkumi ez'omu ggye, abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi, ne basemberera Musa:

49. ne bagamba Musa nti Abaddu bo babaze omuwendo gw'abasajja abatabaazi be tutwala, so tekubuzeeko muntu n'omu ku ffe.

50. Era tuleese ekirabo kya Mukama, buli muntu ky'afunye, eby'obuyonjo ebya zaabu, emikuufu egy'oku magulu, n'emisagga, empeta eziriko obubonero n'ez'omu matu, n'ebikomo, okutangirira obulamu bwaffe mu maaso ga Mukama

51. Musa ne Eriyazaali kabona ne babaggyako ezaabu, eby'obuyonjo byonna ebiweese.

52. Ne zaabu yonna ey'ekiweebwayo ekisitulibwa kye baawaayo eri Mukama; nga bagiggya ku baami b'enkumi ne ku baami b'ebikumi, yali sekeri kakumi mu kakaaga mu lusanvu mu ataano.

53. (Kubanga abasajja abatabaazi; baali beenyagidde ebintu, buli muntu ebibye.)

54. Musa ne Eriyazaali kabona ne batwala ezaabu ey'abaami b'enkumi n'ab'ebikumi, ne bagireeta mu weema ey'okusisinkanirangamu, okuba nga ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama.

About Okubala Chapter 31

Read Okubala Chapter 31 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubala in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Okubala
Chapter: 31
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okubala. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Okubala Chapter 31 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Okubala Chapter 31?

Okubala Chapter 31 is part of the Book of Okubala in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Okubala Chapter 31 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from Okubala

  1. Okubala Chapter 27
  2. Okubala Chapter 8
  3. Okubala Chapter 4
  4. Okubala Chapter 14
  5. Okubala Chapter 32
  6. Okubala Chapter 23
  7. Okubala Chapter 13

Related Chapters & Readings

  1. Isaaya Chapter 17
  2. Zabbuli Chapter 21
  3. Zabbuli Chapter 83
  4. 1 Ebyomumirembe Chapter 24
  5. Zabbuli Chapter 101
  6. 2 Samwiri Chapter 15
  7. Danyeri Chapter 1
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *