Amosi Chapter 2

For English

Read Amosi Chapter 2 Online

Read Amosi Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Amosi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Amosi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Amosi 2

Essuula 2

1. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Mowaabu bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo; kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu n'agafuula evvu:

2. naye ndiweereza omuliro ku Mowaabu, era gulyokya amayumba ag'e Keriyoosi; era Mowaabu alifa, nga basasamala nga baleekaana nga bafuuwa ekkondeere:

3. era ndimalawo omulamuzi okuva wakati mu kyo, era ndittira abakungu baamu bonna wamu naye, bw'ayogera Mukama.

4. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Yuda bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga bagaanyi amateeka ga Mukama, so tebakutte biragiro bye, n'eby'obulimba byabwe bibawabizza, bajjajjaabwe bye baagobereranga mu kutambuia kwabwe:

5. naye ndiweereza omuliro ku Yuda, era gulyokya amayumba ag'e Yerusaalemi.

6. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Isiraeri bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga batunze omutuukirivu olw'effeeza n'eyeetaaga olw'omugogo gw'engatto:

7. abawankirawankira enfuufu ey'oku nsi ey'oku mutwe gw'abaavu, ne bakyamya olugendo olw'abawombeefu: n'omusajja ne kitaawe baliyingira eri omuwala omu, okwonoona erinnya lyange ettukuvu:

8. era bagalamira ku mabbali ga buli kyoto ku ngoye ze basingirwa, ne mu nnyumba ya Katonda waabwe mwe banywera omwenge gw'abo be batanze.

9. Era naye nazikiriza Omwamoli mu mberi yaabwe, obuwanvu bwe bwali ng'obuwanvu obw'emivule, era yali wa maanyi ng'emyera; era naye nazikiriza ebibala bye engulu n'emmizi gye wansi.

10. Era nabalinnyisa nga mbaggya mu nsi y'e Misiri ne mbaluŋŋamiza emyaka amakumi ana mu ddungu, okulya ensi ey'Omwamoli.

11. Ne ngolokosa ku batabani bammwe okuba bannabbi, ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge. Si bwe kiri bwe kityo, ai mmwe abaana ba Isiraeri? bw'ayogera Mukama.

12. Naye ne muwa Abawonge omwenge okunywa; ne mulagira bannabbi nga mwogera nti Temulagula.

13. Laba, ndibanyigiriza mu kifo kyammwe, ng'eggaali erijjudde ebinywa bwe linyigiriza.

14. Awo okudduka kulibula ow'embiro, so n'ow'amaanyi talyongera maanyi ge, so n'omuzira talyewonya:

15. so n'oyo akwata omutego taliyimirira; era n'omuddusi w'embiro talyewonya wadde n'oyo eyeebagala embalaasi talyewonya:

16. n'oyo alina obugumu mu b'amaanyi alidduka ng'ali bwereere ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama.

About Amosi Chapter 2

Read Amosi Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Amosi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Amosi
Chapter: 2
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Amosi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Amosi Chapter 2 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Amosi Chapter 2?

Amosi Chapter 2 is part of the Book of Amosi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Amosi Chapter 2 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from amosi

  1. Amosi Chapter 1
  2. Amosi Chapter 3
  3. Amosi Chapter 2
  4. Amosi Chapter 8
  5. Amosi Chapter 5
  6. Amosi Chapter 4
  7. Amosi Chapter 9

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 31
  2. Engero Chapter 3
  3. Okukungubaga Chapter 3
  4. Ekyamateeka Chapter 3
  5. Okubala Chapter 30
  6. Zabbuli Chapter 74
  7. Zabbuli Chapter 2

Related Chapters & Readings

  1. Ekyamateeka Chapter 20
  2. Ebikolwa Chapter 20
  3. Okubala Chapter 15
  4. Olubereberye Chapter 30
  5. Ebyabaleevi Chapter 14
  6. Yokaana Chapter 9
  7. 1 Ebyomumirembe Chapter 19
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *