1 Samwiri Chapter 11

For English

Read 1 Samwiri Chapter 11 Online

Read 1 Samwiri Chapter 11 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Samwiri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

1 Samwiri 11

Essuula 11

1. Awo Nakkasi Omwamoni n'ayambuka n'asiisira okwolekera Yabesugireyaadi: abasajja bonna ab'e Yabesi ne bagamba Nakkasi nti Lagaana naffe endagaano, naffe tulikuweereza:

2. Nakkasi Omwamoni n'abagamba nti Bwe ntyo bwe nnaalagaana nammwe, amaaso gammwe gonna aga ddyo gaggibwemu; nange ndikiteeka ku Isiraeri yenna okuba ekivume.

3. Abakadde ab'e Yabesi ne bamugamba nti Tuwe ebbanga ery'ennaku musanvu tutume ababaka mu nsalo zonna eza Isiraeri: awo bwe wataliba ow'okutulokola, tulifuluma ne tujja gy'oli.

4. Awo ababaka ne bajja e Gibea ekya Sawulo ne boogerera ebigambo ebyo mu matu g'abantu: awo abantu bonna ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga.

5. Awo, laba, Sawulo n'ajja ng'agoberera ente okuva mu nnimiro; Sawulo n'ayogera nti Abantu babadde batya okukaaba amaziga? Ne bamubuulira ebigambo by'abasajja ab'e Yabesi.

6. Awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Sawulo n'amaanyi, bwe yawulira ebigambo ebyo, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo.

7. Awo n'addira ente bbiri n'azitematema n'aziweereza okubuna ensalo zonna eza Isiraeri mu mikono gy'ababaka ng'ayogera nti Buli atalifuluma okugoberera Sawulo ne Samwiri, bwe zityo ente ze bwe zirikolebwa. Ekitiibwa kya Mukama ne kigwa ku bantu, ne bafuluma ng'omuntu omu.

8. N'ababalira e Bezeki; awo abaana ba Isiraeri baali obusiriivu busatu, n'abasajja ba Yuda baali obukumi busatu.

9. Ne bagamba ababaka abajja nti Bwe mutyo bwe munaagamba abasajja ab'e Yabesugireyaadi nti Enkya, omusana nga gwase, munaafuna obulokozi. Ababaka ne bajja ne babuulira abasajja ab'e Yabesi; ne basanyuka.

10. Abasajja ab'e Yabesi kyebaava boogera nti Enkya tunaafuluma ne tujja gye muli mutukole byonna bye musiima.

11. Awo olwatuuka enkya Sawulo n'ayawulamu abantu ebibiina bisatu; ne batuuka wakati mu lusiisira mu kisisimuka eky'enkya, ne bakuba Abamoni okutuusa omusana lwe gwakaza: awo olwatuuka abaasigalawo ne basaasaana okusigala ne watasigala babiri ku bo abaali awamu.

12. Abantu ne bagamba Samwiri nti Ani oyo eyayogera nti Sawulo alitufuga? leeta abasajja abo tubatte.

13. Sawulo n'ayogera nti Tewaabeewo muntu anattibwa leero: kubanga leero Mukama akoze obulokozi mu Isiraeri.

14. Awo Samwiri n'agamba abantu nti Mujje tugende e Girugaali, tunyweze eyo nate obwakabaka.

15. Abantu bonna ne bagenda e Girugaali; Sawulo ne bamufuulira eyo kabaka mu maaso ga Mukama e Girugaali; ne basalira eyo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama; Sawulo n'abasajja bonna aba Isiraeri ne basanyukira nnyo eyo.

About 1 Samwiri Chapter 11

Read 1 Samwiri Chapter 11 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 1 Samwiri
Chapter: 11
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Samwiri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 1 Samwiri Chapter 11 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 1 Samwiri Chapter 11?

1 Samwiri Chapter 11 is part of the Book of 1 Samwiri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 1 Samwiri Chapter 11 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 1-samwiri

  1. 1 Samwiri Chapter 15
  2. 1 Samwiri Chapter 6
  3. 1 Samwiri Chapter 10
  4. 1 Samwiri Chapter 27
  5. 1 Samwiri Chapter 25
  6. 1 Samwiri Chapter 30
  7. 1 Samwiri Chapter 20

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. 1 Samwiri Chapter 3
  2. Ekyamateeka Chapter 20
  3. Yobu Chapter 19
  4. Ebyabaleevi Chapter 10
  5. Okubala Chapter 14
  6. Ekyabalamuzi Chapter 15
  7. Isaaya Chapter 1

Related Chapters & Readings

  1. Makko Chapter 13
  2. 1 Samwiri Chapter 9
  3. Ezera Chapter 4
  4. 1 Yokaana Chapter 3
  5. Nekkemiya Chapter 8
  6. Ezekyeri Chapter 28
  7. Okuva Chapter 3
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *