Read Abaruumi Chapter 12 Online
Read Abaruumi Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaruumi in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abaruumi and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Abaruumi 12
Essuula 12
1. Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaasira: kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi.
2. So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi ebisanyusa, ebituufu.
3. Kubanga njogera, olw'ekisa kye nnaweebwa, eri buli muntu ali mu mmwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'okukkiriza.
4. Kubanga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu naye ebitundu byonna tebirina mulimu gumu:
5. bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya bannaffe fekka na fekka.
6. Era bwe tulina ebitenkanankana ng'ekisa kye twawebwa bwe kiri, oba bunabbi (tubuulirenga) mu kigera ky'okukiriza kwaffe;
7. oba kuweereza, tunyiikirenga mu kuweereza kwaffe;
8. oba ayigiriza, anyiikirenga mu kuyigiriza kwe; oba abuulirira, mu kubuulirira kwe: agaba, agabenga awatali bukuusa; afuga afugenga n'okunyiikira; asaasira asaasirenga n'essanyu.
9. Okwagala kubeerenga kwa mazima. Mukyawenga obubi, mwegattenga n'obulungi.
10. Mu kwagala kw'ab'oluganda mwagalanenga mwekka ne mwekka; mu kitiibwa buli muntu agulumizenga munne;
11. mu kunyiikira si bagayaavu; abasanyufu mu mwoyo; nga mubeeranga baddu ba Mukama waffe;
12. musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba;
13. mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abagenyi.
14. Musabirenga ababayigganya; musabirenga, so temukolimanga.
15. Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n'abo abakaaba.
16. Mulowoozenga bumu mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mugendenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu maaso gammwe mwekka.
17. Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga ebirungi mu maaso g’abantu bonna.
18. Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna.
19. Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama.
20. Naye omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, munywesenga kubanga bw'okola bw'otyo, olimukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe.
21. Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi.
About Abaruumi Chapter 12
Read Abaruumi Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaruumi in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Abaruumi
Chapter: 12
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abaruumi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Abaruumi Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Abaruumi Chapter 12?
Abaruumi Chapter 12 is part of the Book of Abaruumi in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Abaruumi Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from abaruumi
- Abaruumi Chapter 4
- Abaruumi Chapter 2
- Abaruumi Chapter 11
- Abaruumi Chapter 1
- Abaruumi Chapter 16
- Abaruumi Chapter 15
- Abaruumi Chapter 8
Explore More from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 1
- Okubikkulirwa Chapter 15
- Makko Chapter 11
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 14
- Okubikkulirwa Chapter 6
- Okubikkulirwa Chapter 9